Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 8

Enteekateeka y’okufufuggaza ekibuga Ayi

(A)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Totya era tokeŋŋentererwa, ddira abasajja bonna abalwanyi mulumbe ekibuga Ayi kubanga mbawadde obuwanguzi ku kyo. Kabaka, n’abantu be, ne byonna ebiri mu kibuga Ayi mbibawadde. (B)Ayi ne kabaka waakyo mu bayise nga bwe mwakola Yeriko, omunyago gwonna okuva mu Ayi ngubawadde. Mwekukume muteegere emabega w’ekibuga.”

Yoswa n’asituka n’eggye lyonna okulumba Ayi, n’alondamu abasajja abalwanyi abazira nnamige emitwalo esatu n’abasindika kiro okulumba Ayi. N’abakuutira nti, “Mugende mwekukume kumpi n’ekibuga era muteegere abantu baamu emabega waakyo. Temugenda wala nakyo mwenna mube beetegefu. Nze n’abalwanyi abalala tujja kwolekera ekibuga, bwe banaatufubutula ng’olulala, tujja kuddukira ddala tubatwalirize ewala okuva ku kibuga, tubalowoozese nti, tubadduse. Ffe tujja kuddukira ddala tubabuleko. (C)Olwo mulyoke mufubutuke gye mwekwese, muwambe ekibuga kubanga Mukama ajja kukibawa mukiwangule. (D)Kasita mukiyingira nga mukikumako omuliro. Mukole nga Mukama bw’alagidde. Ebyo bye mbakuutidde.” (E)Yoswa n’abasindika ne bagenda beekweka wakati wa Beseri ne Ayi ebugwanjuba w’ekibuga Ayi. Ekiro ekyo Yoswa yakimala n’Abayisirayiri abalala.

Ekibuga Ayi kiwambibwa

10 (F)Yoswa yakeera nnyo mu makya ne yeekebejja abalwanyi be, oluvannyuma ye n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne boolekera Ayi. 11 Abasajja bonna abalwanyi ne basemberera ekibuga era ne bakuŋŋaanira mu maaso g’ekibuga Ayi mu bukiikakkono bwakyo, ng’ekiwonvu kye kibaawula. 12 Yoswa n’addira abalwanyi ng’enkumi ttaano ne bateegera wakati wa Beseri ne Ayi ebuvanjuba w’ekibuga. 13 Ekibinja ky’abalwanyi ekisinga obunene ne kikuŋŋaanira mu bukiikakkono w’ekibuga ate ekibinja ekizibizi ne kikuŋŋaanira ebugwanjuba w’ekibuga. Naye ye Yoswa ekiro ekyo yasula mu kiwonvu.

14 (G)Mu makya kabaka wa Ayi n’abantu be olwalengera Abayisirayiri ne bafubutuka okugenda okubalwanyisa awo okwolekera Alaba, naye tebaamanya nti waaliwo Abayisirayiri abalala abaali babeekwekeredde emabega w’ekibuga. 15 (H)Yoswa n’ekibinja ky’Abayisirayiri be yali nabo ne beefuula ng’abawanguddwa ne badduka nga boolekedde eddungu. 16 (I)Abantu bonna abaali mu kibuga ne bakoowoolwa okugoba Abayisirayiri, ne babagobera ddala era ne babawereekereza wala nnyo n’ekibuga. 17 Tewali musajja n’omu yasigala mu Ayi oba Beseri, ekibuga kyonna baaleka kiggule nga bagenze okugoba Abayisirayiri.

18 (J)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda gwo ng’ogwolekeza Ayi, kubanga ojja kukiwangula.” Bw’atyo Yoswa n’agalula omuwunda gwe eri Ayi. 19 (K)Amangwago ng’agaludde omuwunda abaali beekwese ne bafubutukayo ne besogga ekibuga era amangwago ne bakikoleeza omuliro. 20 (L)Abasajja b’omu Ayi bagenda okukebuka ng’ekibuga kyabwe kinyooka omukka nga tebakyasobola kudda mabega wadde okugenda mu maaso. 21 Yoswa n’abasajja be bwe baalaba nga bannaabwe beesozze ekibuga era ne bakyokya, kwe kukyukira abaali babagoba ne babatta ebitagambika. 22 (M)Abayisirayiri abaayokya ekibuga nabo ne bavaayo ne bafuumbikiriza abasajja b’omu Ayi ne babatta obutalekaawo n’omu. 23 (N)Naye ye kabaka w’e Ayi baamuwamba ne bamuleetera Yoswa.

Okutirimbulwa kwa bannakibuga b’omu Ayi

24 Abayisirayiri bwe baamala okutta abantu b’omu Ayi abaali babagoberedde mu ddungu, ne balyoka bakomawo mu kibuga kya Ayi ne batta abantu bonna abaakirimu. 25 (O)Abasajja n’abakazi abattibwa ku olwo bonna baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri. 26 (P)Yoswa bwe yagalula omuwunda gwe okugwolekeza ekibuga Ayi teyagussa wansi okutuusa ng’abaamu bonna bamaze okuzikirizibwa. 27 (Q)Ente n’ebintu ebirala bye baasanga mu kibuga, Abayisirayiri ne babitwala okuba omunyago gwabwe nga Mukama bwe yakuutira Yoswa.

28 (R)Yoswa n’ayokya Ayi era ne kifuuka kifunvu ne leero. 29 (S)Ate n’atta kabaka wa Ayi n’amuwanika ku muti okutuusa akawungeezi lwe baawanulayo omulambo gwe ne bagusuula awo ku wankaaki w’ekibuga ne bagutuumako entuumu y’amayinja era ekyaliyo ne kaakano.

Ekyoto kizimbwa ku lusozi Ebali

30 (T)Oluvannyuma Yoswa n’azimbira Mukama Katonda wa Isirayiri, ekyoto ku lusozi Ebali. 31 (U)Nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yakuutira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka ga Musa, “Ekyoto eky’amayinja agataabajjibwa muntu ng’akozesa ekyuma.” Bwe kyaggwa ne batandika okukiweerako Mukama ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. 32 (V)Era n’awandiikira eyo ku mayinja mu maaso g’Abayisirayiri bonna, amateeka Musa ge yasooka okuwandiikira abaana ba Isirayiri. 33 (W)Abayisirayiri bonna n’abakulembeze baabwe, abalamuzi, n’abakungu ne bannaggwanga bonna ab’omu Isirayiri ne bayimirira eruuyi n’eruuyi w’Essanduuko okwolekera bakabona Abaleevi abaasitulanga Essanduuko y’Endagaano ya Mukama. Ne beegabanyaamu, ekitundu ekimu ne bayimirira mu maaso g’olusozi Gerizimu, ate abalala ne bayimirira mu maaso g’olusozi Ebali, nga Musa omuddu wa Mukama bwe yabalagira mu kusooka nti, “Kibagwanidde okusabira Abayisirayiri omukisa.”

34 (X)Oluvannyuma Yoswa n’abasomera ebigambo byonna eby’omu mateeka, emikisa n’ebikolimo nga byonna bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky’Amateeka. 35 (Y)Tewali kigambo na kimu Musa kye yalagira, Yoswa ky’ataasomera Bayisirayiri bonna, abaali bakuŋŋaanye abasajja n’abakazi n’abaana abato ssaako ne bannaggwanga be baabeeranga nabo.

Zabbuli 139

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

139 (A)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
    n’otegeera byonna ebiri munda yange.
(B)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
    era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
(C)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
    Omanyi amakubo gange gonna.
(D)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
    okimanya nga sinnaba na kukyogera.
(E)Ondi mu maaso n’emabega,
    era ontaddeko omukono gwo.
(F)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
    era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

(G)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
    Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
(H)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
    bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
    ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (I)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
    omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
    n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (J)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
    ekiro kyakaayakana ng’emisana;
    kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13 (K)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
    ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (L)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
    emirimu gyo gya kyewuunyo;
    era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (M)Wammanya nga ntondebwa,
    bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16     Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
    zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (N)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
    Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
    bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
    oba okyandowoozaako.

19 (O)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
    abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (P)Abantu abo bakwogerako bibi;
    bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (Q)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
    abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
    era mbayita balabe bange.
23 (R)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
    Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24 (S)Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;
    era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.

Yeremiya 2

Isirayiri eva ku Katonda

Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, (A)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
    engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
    mu nsi etali nnime.
(B)Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
    ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
    akabi nga kabatuukako,’ ”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,
    era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.

(C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
    ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
    nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
(D)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
    eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
    mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
(E)Ne mbaleeta mu nsi engimu,
    mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
    ne mufuula omugabo gwange ekivume.
(F)Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”
    Abo abakola ku mateeka tebammanya.
Abakulembeze ne banjeemera.
    Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.

(G)“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”
    bw’ayogera Mukama,
    “Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
10 Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;
    era mutume e Kedali, mwetegereze.
    Mujja kulaba nga tekibangawo.
11 (H)Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
    wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
    n’ebitagasa.
12 Wewuunye ggwe eggulu,
    era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
13 (I)“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
    nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
    ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”

Ebyava mu kubula kwa Isirayiri

14 (J)“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?
    Kale lwaki afuuse omuyiggo?
15 (K)Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
    abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
    ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
16 (L)Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi
    bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
17 (M)Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,
    eyakukulemberanga
    akulage ekkubo?
18 (N)Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
    okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
    bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
19 (O)Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,
    n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.
Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,
    n’oba nga tokyantya,”
    bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (P)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.
21 (Q)Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
    ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
    n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
22 Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,
    naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo
    bisigala bikyalabika,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (R)Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
    sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
    tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
    ngeraga eno n’eri,
24 (S)ng’endogoyi ey’omu nsiko
    eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
    mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
    mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 (T)Tokooya bigere byo,
    era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
    sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
    nteekwa okubanoonya.”

26 (U)Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
    n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
    era ne bannabbi baayo,
27 (V)nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
    era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
    naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 (W)Kale bakatonda be weekolera baluwa?
    Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
    bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.

Okubonerezebwa kutuuse

29 (X)“Lwaki munneemulugunyiza?
    Mwenna mwanneeddiimira,”
    bw’ayogera Mukama.
30 (Y)Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
    tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
    ng’empologoma bw’etta.

31 (Z)Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.

Mbadde nga ddungu gye muli
    ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
    “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
    oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
    Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
    N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 (AA)Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
    n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
    bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35     (AB)ogamba nti, “Sirina musango,
    ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
    olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 (AC)Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
    amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
    nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 (AD)Era n’eyo olivaayo
    ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
    tagenda kukuyamba.

Matayo 16

Okusaba Yesu Akabonero

16 (A)Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.

Naye Yesu n’abaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo. (B)Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro? (C)Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda.

Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo

Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati. (D)Naye Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”

Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati.”

(E)Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’ (F)Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 10 (G)Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 11 Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.” 12 (H)Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.

Peetero Ayatula Kristo

13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”

14 (I)Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.”

15 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?”

16 (J)Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”

17 (K)Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu. 18 (L)Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. 19 (M)Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.” 20 (N)Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo.

21 (O)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.

22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”

23 (P)Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”

24 (Q)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. 25 (R)Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. 26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe? 27 (S)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.

28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.