Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 12

Ekyoto Kimu Kyokka eky’Ebiweebwayo

12 (A)Gano ge mateeka n’ebiragiro bye musaana okukwatanga n’obwegendereza, nga muli mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjaabo gy’akuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi. (B)Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene, (C)bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.

Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola. (D)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; (E)awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. (F)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde, kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa. 10 (G)Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe; 11 (H)kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama. 12 (I)Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe. 13 Weekuumanga n’otaweerayo biweebwayo by’omu buli kifo kyonna ky’onoolabanga. 14 (J)Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.

Ebiragiro ku Biweebwayo ebitali bya bulijjo

15 (K)Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga. 16 (L)Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 17 Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo. 18 (M)Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo. 19 (N)Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi.

20 (O)Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 21 Ekifo, Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 22 (P)Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga. 23 (Q)Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama. 24 Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 25 (R)Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga Mukama.

26 (S)Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo Mukama ky’anaabanga akulondedde. 27 (T)Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya. 28 (U)Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Okulabula ku Kusinza bakatonda abalala

29 (V)Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu, 30 era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” 31 (W)Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

32 (X)Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.

Zabbuli 97-98

97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
    n’embalama eziri ewala zijaguze.
(B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
    obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
(C)Omuliro gumukulembera
    ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
(D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
    ensi n’ekulaba n’ekankana.
(E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
    mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
(F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
    n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

(G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
    abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
    Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

(H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
    n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
    kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
(I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
    ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
    akuuma obulamu bw’abamwesiga,
    n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
    n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
    era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.

Zabbuli.

98 (M)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(N)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(O)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(P)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(Q)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(R)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(S)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(T)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(U)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

Isaaya 40

Ebigambo eby’Essuubi

40 (A)Mugumye, mugumye abantu bange,
    bw’ayogera Katonda wammwe.
(B)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
    entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
    busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
    olw’ebibi bye byonna.

(C)Eddoboozi ly’oyo ayogera
    liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
    mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
(D)Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
    na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
    ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
(E)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
    ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”

(F)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
    “Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”

Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
    “Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
(G)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
    omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
    Mazima abantu muddo.
(H)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
    naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

(I)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
    werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
    yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
    Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 (J)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
    era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
    buli muntu afune nga bw’akoze.
11 (K)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
    akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
    n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 (L)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
    n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
    oba n’apima ensozi ku minzaani,
    n’obusozi ku kipima?
13 (M)Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?
    Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 (N)Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,
    era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?
Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,
    n’okumanya n’okutegeera?
15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
    era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
    apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 (O)N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,
    n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 (P)Amawanga gonna ag’omu nsi
    gabalibwa mu maaso ge,
    gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.

18 (Q)Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
    Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 (R)Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
    n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
    n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 (S)Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
    oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
    okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 (T)Temunnamanya,
    temunnawulira,
temubuulirwanga
    okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 (U)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
    era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
    era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 (V)Afuula abafuzi obutaba kintu,
    afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 (W)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
    biba byakasigibwa,
    biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
    ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 (X)“Kale mulinfaananya ani,
    ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (Y)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
    Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
    byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
    tewali na kimu kibulako.

27 (Z)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
    Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
    eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (AA)Tonnamanya?
    Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
    Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
    era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (AB)Awa amaanyi abazirika,
    n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (AC)Abavubuka bazirika, bakoowa,
    n’abalenzi bagwira ddala.
31 (AD)Naye abo abalindirira Mukama
    baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
    balidduka mbiro ne batakoowa,
    balitambula naye ne batazirika.

Okubikkulirwa 10

Malayika n’Omuzingo gw’Ekitabo Omutono

10 (A)Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro. Yali alina mu ngalo ze omuzingo gw’ekitabo omutono ng’agwanjuluzza, n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku lukalu. (B)N’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nga liri ng’okuwuluguma kw’empologoma. Ne wabaawo n’okubwatuka kwa mirundi musanvu olw’eddoboozi eryo. (C)Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali n’atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”

(D)Awo malayika gwe nalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, (E)n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate. (F)Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”

(G)Eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gw’ekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”

(H)Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” 10 Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ng’omubisi gw’enjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. 11 (I)Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, n’ensi, n’ennimi ne bakabaka bangi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.