Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 33

Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani

33 (A)Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira.

Bino bye bitundu ebyo: (B)Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; (C)ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.

(D)Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.

(E)Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.

(F)Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.

(G)Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.

(H)Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.

10 Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.

11 (I)Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.

12 Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.

13 Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.

14 Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.

15 (J)Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.

16 (K)Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.

17 (L)Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.

18 Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.

19 Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.

20 (M)Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.

21 Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.

22 Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.

23 Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.

24 Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.

25 Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.

26 Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.

27 Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.

28 Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.

29 Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.

30 (N)Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.

31 Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.

32 Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.

33 (O)Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.

34 Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.

35 (P)Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.

36 (Q)Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.

37 (R)Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. 38 (S)Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 39 Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.

40 (T)Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.

41 Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.

42 Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.

43 (U)Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.

44 (V)Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.

45 Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.

46 Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.

47 (W)Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.

48 (X)Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. 49 (Y)Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.

50 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, 51 (Z)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; 52 (AA)mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. 53 (AB)Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. 54 (AC)Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.

55 (AD)“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. 56 Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”

Zabbuli 78:1-37

Oluyimba lwa Asafu.

78 (A)Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
    musseeyo omwoyo ku bye njogera.
(B)Ndyogerera mu ngero,
    njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
(C)ebintu bye twawulira ne tumanya;
    ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
(D)Tetuubikisenga baana baabwe,
    naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
    n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
(E)Yawa Yakobo ebiragiro,
    n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
    babiyigirizenga abaana baabwe,
(F)ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
    n’abaana abalizaalibwa,
    nabo babiyigirize abaana baabwe,
(G)balyoke beesigenga Katonda,
    era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
    naye bagonderenga ebiragiro bye.
(H)Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
    omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
    ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

(I)Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
    naye ne badduka mu lutalo,
10 (J)tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
    ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 (K)Beerabira ebyo bye yakola,
    n’ebyamagero bye yabalaga.
12 (L)Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
    mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 (M)Ennyanja yajaawulamu,
    amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 (N)Emisana yabakulemberanga n’ekire,
    n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 (O)Yayasa enjazi mu ddungu,
    n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
    n’akulukusa amazzi ng’emigga.

17 (P)Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
    ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 (Q)Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
    nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 (R)Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
    “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 (S)Weewaawo yakuba olwazi,
    amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
    Anaawa abantu be ennyama?”
21 (T)Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
    omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
    n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 (U)Kubanga tebakkiriza Katonda,
    era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 (V)Naye era n’alagira eggulu;
    n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 (W)N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
    Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
    Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 (X)N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
    era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
    n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
    okwetooloola eweema zaabwe.
29 (Y)Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
    kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 (Z)Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
    nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 (AA)obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
    n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
    abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32 (AB)Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
    newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 (AC)Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
    n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 (AD)Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
    ne beenenya ne badda gy’ali.
35 (AE)Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
    era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 (AF)Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
    nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 (AG)so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
    era nga tebatuukiriza ndagaano ye.

Isaaya 25

25 (A)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
    ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
    ebintu bye wateekateeka edda,
    mu bwesigwa bwo.
(B)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
    ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
    tekirizimbibwa nate.
(C)Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
    n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
(D)Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
    ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
    n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
    guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
    (E)era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
    era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
    n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.

(F)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
    abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
    n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
(G)Ku lusozi luno alizikiriza
    ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
    (H)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
    mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
    mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.

(I)Mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
    twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
    tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

10 (J)Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,
    naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,
    ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 (K)Aligolola emikono gye,
    ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.
Katonda alikkakkanya amalala ge
    newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 (L)Alimenya bbugwe omuwanvu,
    n’amusuula,
alimusuula ku ttaka,
    mu nfuufu.

1 Yokaana 3

Abaana ba Katonda

(A)Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera. (B)Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. (C)Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.

(D)Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. (E)Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. (F)Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.

(G)Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu, (H)naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. (I)Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. 10 Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

Mwagalanenga

11 (J)Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga, 12 (K)si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu. 13 (L)Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga. 14 (M)Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. 15 (N)Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

16 (O)Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. 17 (P)Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? 18 (Q)Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

19 Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge. 20 Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna. 21 (R)Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda. 22 (S)Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa. 23 (T)Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira. 24 (U)Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.