Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 34

Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri

34 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Teekateeka ebipande bibiri eby’amayinja nga biri ebyasooka, nange nnaabiwandiikako ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya. (B)Weetegeke mu makya, ojje mu makya ago olinnye waggulu ku lusozi Sinaayi, olyoke onneeyanjulire eyo ku ntikko y’olusozi. (C)Tewasaana kubaawo muntu ajja naawe, era ku lusozi wonna wonna tewasaana kulabikawo muntu n’omu; era n’amagana n’ebisibo by’endiga tebisaana kuliira mu maaso ga lusozi.”

Bw’atyo Musa n’atema mu mayinja ebipande bibiri nga bifaanana nga biri ebyasooka; n’akeera mu makya n’alinnya ku lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira, ng’asitudde n’ebipande eby’amayinja byombi mu mikono gye. (D)Awo Mukama n’akkira mu kire, n’ayimirira awo ne Musa, n’alangirira erinnya lye, MUKAMA. (E)Mukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo. (F)Akuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.”

Amangwago Musa n’avuunama wansi, n’asinza. (G)N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”

10 (H)Awo Mukama n’addamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna b’oli nabo banaalaba eby’ekitalo Mukama by’anaakolera mu ggwe.

Okulabula ku Kusinza Ebifaananyi

11 (I)“Gondera bye nkulagira leero. Nange, gye mulaga, nzija kugobayo Abamoli, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi. 12 (J)Kirungi weekuume oleme kukola ndagaano n’abatuuze ab’omu nsi gy’olagamu, kubanga bayinza okubafuukira omutego. 13 (K)Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza. 14 (L)Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.

15 (M)“Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. 16 (N)Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

17 (O)“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.

Amateeka ku Mbaga Ennonde

18 (P)“Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri.

19 (Q)“Ebiggulanda byonna byange, n’ennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga. 20 (R)Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.

21 (S)“Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu n’owummula; ne mu biseera eby’okukabala n’ebyokukungula onoowummulanga.

22 (T)“Onookwatanga Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Amakungula g’Ebibala Ebibereberye eby’Eŋŋaano, n’Embaga ey’Okuyingiza Amakungula ku nkomerero y’omwaka. 23 (U)Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka. 24 (V)Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.

25 (W)“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.

26 (X)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.

“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”

27 (Y)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 28 (Z)Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.

Amaaso ga Musa Agamasamasa

29 (AA)Musa bwe yaserengeta okuva ku lusozi Sinaayi ng’akutte mu ngalo ze ebipande byombi eby’Endagaano, teyakimanya ng’obwenyi bwe bwali bumasamasa kubanga yali ayogedde ne Mukama. 30 Era Alooni n’abaana ba Isirayiri bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng’obwenyi bwe bumasamasa; ne batya okumusemberera. 31 Naye Musa n’abayita; bw’atyo Alooni n’abakulembeze b’abantu ne bajja gy’ali, Musa n’ayogera nabo. 32 (AB)Oluvannyuma abaana ba Isirayiri bonna ne basembera, n’abategeeza amateeka gonna Mukama ge yamulagira ku lusozi Sinaayi.

33 (AC)Awo Musa bwe yamala okwogera nabo, n’abikka obwenyi bwe olugoye. 34 Naye Musa bwe yabanga agenda awali Mukama okwogera naye, ng’olugoye olubikka obwenyi bwe alwebikkula okutuusa lwe yavangayo. Bwe yakomangawo okutegeeza abaana ba Isirayiri Mukama by’amulagidde, 35 baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bw’atyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri Mukama okwogera naye.

Yokaana 13

Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere

13 (A)Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. (B)Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, (C)n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

(D)Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”

Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”

10 (E)Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13 (F)Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14 (G)Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15 (H)Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 16 (I)Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 17 (J)Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola. 18 (K)Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ 19 (L)Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize. 20 (M)Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”

21 (N)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”

22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 23 (O)Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24 Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”

25 (P)Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?” 26 Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 27 (Q)Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.

Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!” 28 Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 29 (R)Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 30 (S)Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.

31 (T)Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 32 (U)Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.

33 (V)“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.

34 (W)“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. 35 (X)Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”

36 (Y)Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”

Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”

37 Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”

38 (Z)Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”

Engero 10

Engero za Sulemaani

10 (A)Engero za Sulemaani:

Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
    naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

(B)Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
    naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

(C)Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
    naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.

(D)Emikono emigayaavu gyavuwaza,
    naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
    naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.

(E)Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
    naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.

(F)Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
    naye erinnya ly’omubi linaavundanga.

(G)Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
    naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.

(H)Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
    naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

10 (I)Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
    n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.

11 (J)Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
    naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.

12 (K)Obukyayi buleeta enjawukana,
    naye okwagala kubikka ku bibi bingi.

13 (L)Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
    naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.

14 (M)Abantu ab’amagezi batereka okumanya,
    naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.

15 (N)Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
    naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.

16 (O)Empeera y’omutuukirivu bulamu,
    naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.

17 (P)Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
    naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.

18 Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
    era omuntu akonjera, musirusiru.

19 (Q)Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,
    naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

20 Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
    naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.

21 (R)Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
    naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.

22 (S)Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
    era tagwongerako buyinike.

Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama

23 (T)Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,
    naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.

24 (U)Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
    naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.

25 (V)Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
    naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.

26 (W)Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
    n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.

27 (X)Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
    naye emyaka gy’ababi girisalibwako.

28 (Y)Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
    naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.

29 (Z)Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.

30 (AA)Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
    naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.

31 (AB)Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
    naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.

32 (AC)Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
    naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.

Abaefeso 3

Omulimu gwa Pawulo mu Baamawanga

(A)Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.

(B)Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba. (C)Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okw’ekyama kwe yandaga. (D)Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo. (E)Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi. (F)Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.

(G)Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge. (H)Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika. (I)Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. 10 (J)Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo. 11 Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. 12 (K)Kristo atuwa obuvumu n’obugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olw’okukkiriza nga tetutya. 13 Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.

Okwagala kwa Kristo

14 (L)Nfukaamirira Kitaffe, 15 ebika byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi mwe biggya obulamu. 16 (M)Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we, 17 (N)Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, 18 (O)mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. 19 (P)Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.

20 (Q)Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, 21 (R)agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.