M’Cheyne Bible Reading Plan
Amateeka Ekkumi
20 Awo Mukama n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:
2 (A)“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
3 (B)Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
4 (C)Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 5 (D)Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 6 (E)Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
7 (F)Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
8 (G)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. 9 (H)Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 11 (I)Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
12 (J)Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
13 (K)Tottanga.
14 (L)Toyendanga.
15 (M)Tobbanga.
16 (N)Towaayirizanga muntu munno.
17 (O)Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
18 (P)Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 19 (Q)ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”
20 (R)Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”
Ebiragiro ku Byoto
21 (S)Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali. 22 (T)Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. 23 (U)Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.
24 (V)“ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa. 25 (W)Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange. 26 Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’ ”
Yesu mu Maaso ga Piraato
23 (A)Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato. 2 (B)Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.” 3 Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”
4 (C)Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.”
5 (D)Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”
6 (E)Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?” 7 (F)Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.
8 (G)Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero. 9 (H)N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu. 10 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza. 11 (I)Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12 (J)Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.
Piraato Asalira Yesu ogw’Okufa
13 Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu, 14 (K)n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde. 15 Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa. 16 (L)Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”
17 Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu. 18 (M)Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.” 19 Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.
20 Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo. 21 Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”
22 (N)Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.” 23 Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.
24 Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala. 25 N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.
Yesu Akomererwa ku Musaalaba
26 (O)Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu. 27 (P)Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe. 28 (Q)Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe. 29 (R)Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.
30 (S)“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”
n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’
31 (T)Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”
32 (U)Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 (V)Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
35 (W)Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”
36 (X)N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 (Y)nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”
38 (Z)Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,
Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.
39 (AA)Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 (AB)Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”
42 (AC)N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”
43 (AD)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”
Okufa kwa Yesu
44 (AE)Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda, 45 (AF)kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. 46 (AG)Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.
47 (AH)Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48 (AI)Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi. 49 (AJ)Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.
Okuziikibwa kwa Yesu
50 Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu, 51 (AK)teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda. 52 Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. 53 Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu. 54 (AL)Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.
55 (AM)Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu. 56 (AN)Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.
Mukama Ayogera
38 (A)Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
2 (B)“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
n’ebigambo ebitaliimu magezi?
3 (C)Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
mbeeko bye nkubuuza
naawe onziremu.
4 (D)“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
Mbuulira bw’oba otegeera.
5 (E)Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
Oba ani eyagipima n’olukoba?
6 (F)Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7 Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
8 (G)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
bwe yava mu lubuto lwayo?
9 “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 (H)bwe n’abiteekerawo we bikoma
ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 (I)bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?
12 “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13 (J)eryoke ekwate ensi w’ekoma
eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14 Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15 (K)Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.
16 (L)“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
17 (M)Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
18 (N)Wali otegedde obugazi bw’ensi?
Byogere, oba bino byonna obimanyi.
19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 (O)Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 (P)Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
kubanga wali wazaalibwa dda!
22 (Q)“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 (R)Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 (S)Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 (T)Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
eddungu omutali muntu yenna,
27 (U)n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
n’okulimezaako omuddo?
28 (V)Enkuba erina kitaawe waayo?
Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 (W)Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 (X)amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?
31 (Y)“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 (Z)Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
34 (AA)“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 (AB)Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 (AC)Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
era amafunfugu ne geegattira ddala?
Okugaba kw’Abakristaayo
8 (A)Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. 2 Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. 3 (B)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. 4 (C)Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. 5 Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda. 6 (D)Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa. 7 (E)Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
8 (F)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. 9 (G)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
10 (H)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (I)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (J)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (K)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (L)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
Tito atumibwa e Kkolinso ne banne
16 (M)Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe. 17 (N)Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli. 18 (O)Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olw’enjiri mu kkanisa zonna, 19 (P)naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba, 20 nga twewala omuntu yenna okutunenya olw’ekirabo kino kye tuweereza. 21 (Q)Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso g’abantu.
22 Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu. 23 (R)Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo. 24 (S)Noolwekyo okwagala kwammwe n’okwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.