Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 15

Oluyimba lwa Musa

15 (A)Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

“Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’omwebagazi waayo.
(B)Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.
Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,
    ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
(C)Mukama mulwanyi;
    MUKAMA, ly’erinnya lye.
(D)Amagaali ga Falaawo n’eggye lye
    abisudde mu nnyanja;
n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu
    basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
(E)Obuziba bubasaanikidde;
    basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.

(F)“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwalina amaanyi n’ekitiibwa;
omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwasesebbula omulabe.
(G)Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,
    wamegga abalabe bo,
wabalaga obusungu bwo,
    ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
(H)Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,
    amazzi ne geetuuma;
    amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.

(I)“Omulabe n’ayogera nti,
    ‘Ka mbagobe, mbakwate.
Nnaagabana omunyago;
    mbeemalireko eggoga.
Nnaasowolayo ekitala kyange,
    ndyoke mbazikirize.’
10 (J)Naye wakunsa embuyaga zo,
    ennyanja n’ebasaanikira.
Bakka ng’ekyuma,
    ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
11 (K)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
    mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
    Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
    akola ebyamagero?

12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
    ensi n’ebamira.
13 (L)Mu kwagala kwo okutaggwaawo,
    abantu be wanunula olibakulembera.
Mu maanyi go,
    olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14 (M)Amawanga galikiwulira ne gakankana,
    ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 (N)Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;
    abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;
abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16     (O)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
    balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
    lwe baliyitawo.
17 (P)Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,
    kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,
ekifo kyo Ekitukuvu,
    kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
18 Mukama anaafuganga
    emirembe n’emirembe.”

Oluyimba lwa Miryamu

19 (Q)Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 (R)Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 (S)Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,

“Muyimbire Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’agyebagadde.”

Amazzi g’e Mala n’aga Erimu

22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 (T)Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 (U)Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

25 (V)Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 (W)ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27 (X)Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

Lukka 18

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

18 (A)Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. (B)Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’

“Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, (C)naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”

(D)Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. (E)Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? (F)Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

(G)Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, 10 (H)“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. 11 (I)Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. 12 (J)Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’

13 (K)“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

14 (L)“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

Yesu n’Abaana Abato

15 Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. 16 Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. 17 (M)Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”

Omukungu Omugagga

18 (N)Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19 Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 20 (O)Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

21 N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”

22 (P)Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

23 Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 24 (Q)Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

27 (R)Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

28 (S)Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”

29 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 30 (T)atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

31 (U)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (V)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (W)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

34 (X)Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza

35 (Y)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36 Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” 37 (Z)Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”

38 (AA)Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 39 (AB)Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

40 Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41 “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” 42 (AC)Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” 43 (AD)Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.

Yobu 33

33 (A)“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
    ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
    ebigambo byange bindi ku lulimi.
(B)Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
    olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
(C)Omwoyo wa Katonda ye yankola,
    era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
(D)Onnyanukule nno bw’oba osobola,
    teekateeka ebigambo byo onjolekere.
(E)Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
    Nange nava mu bbumba.
(F)Tobaako ky’otya,
    sijja kukunyigiriza.
Ddala ddala oyogedde mpulira,
    ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
(G)Ndi mulongoofu sirina kibi,
    siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 (H)Kyokka Katonda anteekako omusango,
    anfudde omulabe we.
11 (I)Asiba ebigere byange mu nvuba,
    antwala okuba omulabe we.

12 (J)“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
    Katonda asinga omuntu.
13 (K)Lwaki omwemulugunyiza nti,
    taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 (L)Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
    wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 (M)Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
    ng’otulo tungi tukutte abantu
    nga beebase ku bitanda byabwe,
16 (N)aggula amatu g’abantu,
    n’abalabula n’ebyekango,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
    n’amalala,
18 (O)aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
    n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.

19 (P)“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
    n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 (Q)obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
    emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 (R)Omubiri gwe gugwako ku magumba,
    n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 (S)emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
    obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 (T)Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
    amuwolereza, omu ku lukumi,
    okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 (U)yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
    ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
    mmusasulidde omutango,’
25 (V)omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
    era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 (W)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
    Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
    Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (X)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
    Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
    naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (Y)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
    kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

29 (Z)“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
    emirundi ebiri oba esatu,
30 (AA)okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
    ekitangaala eky’obulamu kimwakire.

31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
    siriikirira nkubuulire.
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
    yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 (AB)Bwe kitaba kityo, mpuliriza;
    sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”

2 Abakkolinso 3

(A)Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? (B)Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

(C)Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. (D)Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, (E)oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Ekitiibwa ekiri mu ndagaano empya

(F)Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa? (G)Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. 10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. 11 Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

12 (H)Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi, 13 (I)so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako. 14 (J)Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. 15 Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. 16 (K)Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo. 17 (L)Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe. 18 (M)Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.