M’Cheyne Bible Reading Plan
22 (A)Musibe bulungi akaddo k’akakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gw’oluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ez’omwango. Tewabaawo n’omu afuluma ennyumba ye okutuusa ng’obudde bukedde. 23 (B)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.
24 “Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna. 25 Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno. 26 (C)Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 27 (D)Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza. 28 Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
Ebibereberye Bittibwa
29 (E)Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna. 30 (F)Falaawo n’azuukuka mu kiro wakati, ye n’abaweereza be bonna, n’Abamisiri bonna; Misiri yonna n’ejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba n’emu omutaafa muntu.
31 (G)Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba. 32 (H)Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”
33 (I)Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!” 34 Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obw’emigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe. 35 (J)Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu, awamu n’ebyambalo. 36 (K)Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.
Abayisirayiri Basitula Okuva mu Misiri
37 (L)Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa. 38 (M)Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo. 39 (N)Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.
40 (O)Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu. 41 (P)Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi y’e Misiri. 42 (Q)Mukama yali bulindaala ekiro ky’olunaku olwo, n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro ky’olunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.
Ebiragiro by’Embaga ey’Okuyitako
43 (R)Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bino by’ebiragiro by’Okuyitako:
“Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako. 44 (S)Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa; 45 (T)naye omugenyi omugwira, n’omupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.
46 (U)“Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu. 47 Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.
48 (V)“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako. 49 (W)Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa n’Omunnaggwanga abeera mu mmwe.”
50 Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola. 51 (X)Awo ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’e Misiri nga bagendera mu bibinja byabwe.
Olugero lw’Endiga Eyabula
15 (A)Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza. 2 (B)Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.
3 (C)Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti, 4 (D)“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba? 5 Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza. 6 (E)Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’ 7 (F)Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
Olugero lw’Ennoso Eyabula
8 “Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba? 9 (G)Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’ 10 (H)Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
Olugero lw’omwana eyazaawa
11 (I)Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. 12 (J)Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe.
13 (K)“Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto n’asibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, n’agenda mu nsi ey’ewala. Bwe yatuuka eyo n’asaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. 14 Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala. 15 (L)N’agenda abeere ew’omwami omu ow’omu nsi omwo n’amusaba amuwe omulimu, n’amusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. 16 Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta by’embizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna.
17 “Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! 18 (M)Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, 19 era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’ 20 (N)Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe.
“Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. 21 (O)Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’
22 (P)“Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto! 23 Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. 24 (Q)Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga n’etandika.
25 “Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina. 26 N’ayita omu ku baweereza n’amubuuza bwe bibadde. 27 Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’
28 (R)“Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire, 29 naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange. 30 (S)Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’
31 “Kitaawe n’amuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo. 32 (T)Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”
30 (A)“Naye kaakano bansekerera;
abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
2 Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
3 abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
4 Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
5 Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
6 Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
7 Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
ne beekweka mu bikoola by’emiti.
8 Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
baagobebwa mu nsi.
9 (B)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (C)abatanjagala abanneesalako,
banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 (D)Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 (E)Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
bategera ebigere byange emitego,
ne baziba amakubo banzikirize.
13 (F)Banzingiza
ne banzikiriza,
nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 (G)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”
Okubonaabona kwa Yobu
16 (H)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (I)Ansuula mu bitosi,
ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.
20 (J)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (K)Onkyukira n’obusungu;
onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (L)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (M)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
24 (N)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (O)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (P)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (Q)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (R)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (S)Nfuuse muganda w’ebibe,
munne w’ebiwuugulu.
30 (T)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
n’omubiri gwange gwokerera.
31 (U)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”
Okuyamba Abantu ba Katonda
16 (A)Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. 2 (B)Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. 3 (C)Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. 4 Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
Enteekateeka za Pawulo
5 (D)Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. 6 Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. 7 Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. 8 (E)Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. 9 Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
10 (F)Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11 (G)Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
12 (H)Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
Ebikomererayo
13 (I)Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14 Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
15 (J)Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16 muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 17 (K)Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko[a] bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18 (L)Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.
19 (M)Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.
Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
20 (N)Era abooluganda bonna babalamusizza.
Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.
21 (O)Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.
22 (P)Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!
23 (Q)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24 Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.