M’Cheyne Bible Reading Plan
Olugendo lw’e Misiri Olwokubiri
43 (A)Awo enjala bwe yayinga obungi mu nsi, 2 era nga ne mmere gye baggya e Misiri yonna eriiriddwa, kitaabwe n’abagamba nti mugende mutugulire emmere.
3 (B)Naye Yuda n’amuddamu nti, “Omusajja yatukuutirira ddala ng’agamba nti, ‘Temulinyanga ekigere mu maaso gange nga temuzze na muganda wammwe.’ 4 Bw’onokkiriza tuserengete ne muganda waffe okugula emmere, olwo tunaagenda. 5 (C)Naye bw’otomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’ ”
6 Isirayiri kwe kubaddamu nti, “Mwankola ki kino eky’obubalagaze ne mugamba omusajja nti mulina muganda wammwe omulala.” 7 (D)Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.”
8 (E)Era Yuda n’agamba Isirayiri kitaawe nti, “Mpa omulenzi tulyoke tugende tube balamu, tuleme okufa enjala, ffe naawe n’abaana baffe. 9 (F)Nze newaddeyo okumukuuma, olimubuuza nze. Bwe sirikumuddiza, ne mussa mu maaso go mbeereko omusango ennaku zonna. 10 Kubanga singa tetwalwa twandibadde tukomyewo omulundi ogwokubiri.”
11 (G)Awo Isirayiri kitaabwe n’abagamba nti, “Bwe kinaaba bwe kityo, kale mukole bwe muti: mutwale ebimu ku bibala bya muno mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ekirabo: envumbo ntono, n’omubisi, n’omugavu, n’obubaane ne mooli n’ebinyeebwa ne Alumoni. 12 (H)Mutwale n’ensimbi za mirundi ebiri nga mutwala na ziri ezaali ku mimwa gye nsawo zammwe, osanga omuntu yakola nsobi. 13 Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja. 14 (I)Katonda Ayinzabyonna abawe omukisa mu maaso g’omusajja, alyoke aleke muganda wammwe oli awamu ne Benyamini bakomewo. Obanga obulumi bw’okufa kw’abaana bange bulintuukako, kale.”
Baganda ba Yusufu Baddayo e Misiri
15 (J)Awo ne batwala ebirabo n’ensimbi za mirundi ebiri, ne Benyamini ne baserengeta naye e Misiri ne bayimirira mu maaso ga Yusufu. 16 (K)Awo Yusufu bwe yalaba nga bali ne Benyamini n’agamba omuweereza we nti, “Bayingize mu nnyumba, otte ensolo ofumbe ekijjulo, kubanga abasajja abo baakulya nange ekyemisana.”
17 Omusajja n’akola nga Yusufu bwe yamulagira, n’ayingiza abasajja mu nnyumba ya Yusufu. 18 (L)Abasajja ne batya olw’okutwalibwa mu nnyumba ya Yusufu, ne bagamba nti kino kizze lwa nsimbi ezatuddizibwa ne ziteekebwa mu nsawo zaffe omulundi guli, kyetuvudde tuleetebwa wano, anoonye ensonga ku ffe atuvunaane, atufuule abaddu awambe n’endogoyi zaffe.
19 Awo ne bambuka n’omuweereza mu nnyumba ya Yusufu, 20 (M)ne bagamba nti Ayi mukama waffe, twajja omulundi ogwasooka okugula emmere, 21 (N)bwe twatuuka mu kifo we twasula, ne tusumulula ensawo zaffe, nga mu buli kamwa k’ensawo ya buli omu mulimu ensimbi ze ezaali ez’okugula emmere, kyetuvudde tuzizza, 22 era tuleese n’endala olw’okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe. 23 (O)Ye n’abaddamu nti, “Mubeere bagumu temutya. Katonda wammwe era Katonda wa kitammwe ye yabateekera obugagga mu nsawo zammwe; ensimbi zammwe nazifuna.” Awo kwe kubaleetera Simyoni.
24 (P)Omusajja bwe yamala okuyingiza abasajja abo mu nnyumba ya Yusufu, nga bamaze n’okunaaba ebigere, ng’amaze n’okuliisa endogoyi zaabwe, 25 ne bateekateeka ekirabo kya Yusufu bakimuwe mu ttuntu, kubanga baamanya nga bajja kuliira eyo.
Yusufu Alya ne Baganda be
26 (Q)Yusufu bwe yakomawo eka ne bamuleetera ekirabo kye baalina ne bamuvuunamira. 27 (R)N’ababuuza bwe bali, n’ababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?” 28 (S)Ne bamuddamu nti, “Ssebo, kitaffe akyali mulamu era ali bulungi.” Ne bavuunama mu bukkakkamu.
29 (T)Yusufu bwe yayimusa amaaso, n’alaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. N’ababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.”
30 (U)Awo Yusufu n’ayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, n’anoonya ekifo w’anaakabira. N’alinnya mu kisenge kye n’akaabira eyo. 31 (V)N’anaaba amaziga n’afuluma, n’aguma n’alagira emmere egabwe. 32 (W)Ye ne bamuwa eyiye yekka, ne baganda be bokka, n’Abamisiri abalya naye nabo ne bagabulwa bokka, kubanga Abamisiri tebalyanga n’Abaebulaniya, kubanga kyali kivve eri Abamisiri. 33 Awo baganda ba Yusufu ne batuula mu maaso ge nga baddiriŋŋana okuva ku mukulu mu buzaale bwabwe okutuuka ku muto; ne batunulaganako nga beewuunya. 34 (X)Yusufu n’abakoleza ebitole okuva ku mmeeza ye, naye ekitole kya Benyamini ne kisinga ekya baganda be emirundi etaano. Bwe batyo ne balya ne basanyukira wamu ne Yusufu.
Obubonero obw’Enkomerero
13 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
2 (A)Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
3 (B)Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti, 4 “Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”
5 (C)Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga. 6 Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi. 7 Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. 8 Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
9 (D)“Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. 10 Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 11 (E)Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”
12 (F)“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. 13 (G)Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”
14 (H)“Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi. 15 N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye. 16 N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe. 17 (I)Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 18 Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti. 19 (J)Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
20 “Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako. 21 (K)Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga. 22 (L)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda. 23 (M)Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.
24 “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,
“ ‘enjuba eriggyako ekizikiza,
era n’omwezi teguliyaka,
25 (N)era, emmunyeenye zirikunkumuka,
n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ ”
26 (O)“Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene, 27 (P)Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
Omutiini kye Guyigiriza
28 “Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 29 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 30 (Q)Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo. 31 (R)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”
Tewali Amanyi Lunaku wadde Ekiseera
32 (S)“Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe. 33 (T)Mwekuume, mutunule[a] kubanga temumanyi kiseera we kirituukira. 34 (U)Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
35 “Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya, 36 si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase. 37 (V)Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”
Yobu Ayanukula
9 Yobu n’alyoka addamu nti,
2 (A)“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3 (B)Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4 (C)Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5 (D)Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6 (E)Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7 (F)Ayogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8 (G)Ye yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9 (H)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 (I)Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 (J)Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 (K)Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 (L)Katonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 (M)Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 (N)Yandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 (O)Teyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
21 (P)“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22 (Q)Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 (R)Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 (S)Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 (T)Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 (U)Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo[a] agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 (V)Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 (W)ne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 (X)Omusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30 (Y)Ne bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31 era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 (Z)Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 (AA)Tewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 (AB)eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 (AC)Olwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
13 (A)Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. 2 Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. 3 (B)Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, 4 (C)kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. 5 Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.
6 Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. 7 (D)Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
8 (E)Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka. 9 (F)Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 10 (G)Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11 (H)Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. 12 (I)Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. 13 (J)Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, 14 (K)naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.