M’Cheyne Bible Reading Plan
Sekemu Asobya ku Dina
34 (A)Awo Dina muwala wa Leeya gwe yazaalira Yakobo, n’agenda okukyalira abakazi ab’omu nsi eyo. 2 Sekemu mutabani wa Kamoli Omukiiti omufuzi w’ensi eyo n’amulaba n’amukwata n’amusobyako. 3 Omwoyo gwa Sekemu ne gutwalibwa Dina muwala wa Yakobo, n’amwagala n’ayogera naye ebigambo ebiweweevu. 4 Sekemu n’alyoka agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala ono abeere mukazi wange.”
5 Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, n’aba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda. 6 (B)Kamoli kitaawe wa Sekemu n’agenda eri Yakobo okwogera naye. 7 (C)Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olw’okukola eky’ekivve era ekitasaana mu Isirayiri.
8 Kyokka ye Kamoli n’ayogera nabo ng’agamba nti, “Omwoyo gwa mutabani wange gwegomba nnyo muwala wo, nkwegayirira mumuwe amuwase. 9 Kkiriza tufumbiriganwenga, otuwe bawala bo, nammwe muwasenga bawala baffe. 10 (D)Munaabeeranga mu ffe, era mukolenga buli kye mwagala mu nsi yaffe. Mubeeremu era musuubuliremu, mugaggawale nnyo.”
11 Sekemu naye n’ayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa. 12 (E)Munsabe ebyobuko ebirabo n’ebigenderako, byonna nzija kubibawa nga bwe binaaba binsabiddwa; kye muba munkolera kwe kumpa omuwala abeere mukazi wange.”
13 Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina. 14 (F)Ne babagamba nti, “Ekyo tetusobola kukikola okuwa mwannyinaffe omuntu atali mukomole, kubanga kya muzizo gye tuli. 15 (G)Kye muteekwa okukola, tulyoke tukkirize, kwe kufuuka nga ffe nga buli musajja mu mmwe akomolebbwa. 16 Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu. 17 Naye bwe mutakkiriza kukomolebwa, kale tunaatwala muwala waffe ne tugenda.”
Okwesasuza Olwa Dina
18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli ne mutabani we Sekemu. 19 (H)Era omuvubuka teyalwa kukomolebwa, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo ye yali asinga okussibwamu ekitiibwa mu baana ba Kamoli bonna. 20 (I)Awo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki[a] w’ekibuga kyabwe ne boogera n’abantu b’ekibuga kyabwe nga bagamba nti, 21 Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe. 22 Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe. 23 Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.
24 (J)Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa.
25 (K)Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja. 26 Battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne beetambulira. 27 Awo batabani ba Yakobo ne bagwa ku munyago ne banyaga ekibuga olwa mwannyinaabwe. 28 Ne batwala ebisibo by’endiga, amagana g’ente, n’endogoyi, na buli ekyali mu kibuga ne ku ttale. 29 N’obugagga bwonna, n’abaana bonna awamu n’abakazi, na buli ekyali mu mayumba, byonna ne babiwamba ne babinyaga.
30 (L)Awo Yakobo n’agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna ab’omu nsi, Abakanani n’Abaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze n’ennyumba yange yonna.”
31 Bo ne bamuddamu nti, “Lwaki yayisa mwannyinaffe ng’omwenzi?”
Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni
5 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka emitala w’ennyanja mu nsi y’Abageresene. 2 (A)Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo. 3 Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. 4 Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. 5 Naye bulijjo yatambulanga emisana n’ekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bw’akaaba era nga bwe yeesalaasala n’amayinja.
6 Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu. 7 (B)N’aleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olw’ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” 8 Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.
9 (C)Awo Yesu n’amubuuza nti, “Erinnya lyo ggw’ani?” N’addamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.” 10 N’amwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.
11 Awo waaliwo eggana ly’embizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. 12 Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.” 13 Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
14 Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo. 15 (D)Ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ng’ayambadde bulungi era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo.
16 Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko ddayimooni n’ebyatuuka ku mbizzi. 17 Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!
18 Yesu bwe yali ng’alinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko baddayimooni n’amwegayirira bagende bonna. 19 (E)Yesu n’atakkiriza, n’amugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama by’akukoledde era nga bw’akusaasidde.” 20 (F)Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli[a] (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.
Omuwala Eyali Afudde, n’Omukazi Omulwadde
21 (G)Awo Yesu n’awunguka mu lyato nate n’atuuka emitala w’ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w’ali ku lubalama lw’ennyanja. 22 (H)Omukulu w’ekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro n’ajja n’agwa w’ali, 23 (I)n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, “Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye.”
24 Awo Yesu n’agenda naye n’ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza. 25 (J)Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi. 26 Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. 27 Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye. 28 (K)Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.” 29 (L)Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.
30 (M)Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?”
31 Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankutteko?’ ”
32 Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko. 33 Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna. 34 (N)Yesu n’agamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”
35 (O)Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.”
36 Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”
37 (P)Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo. 38 (Q)Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. 39 (R)Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, “Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!” 40 Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.
Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. 41 (S)Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!” 42 Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo. 43 (T)Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.
Yobu n’eby’Amaka ge byonna
1 (A)Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi[a] erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. 2 (B)Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. 3 (C)Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.
4 Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. 5 (D)Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;[b] yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.
Setaani Agezesa Yobu
6 (E)Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. 7 (F)Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”
Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”
8 (G)Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”
9 (H)Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 (I)Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 (J)Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12 Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.
Yobu afiirwa Abaana be n’eby’Obugagga bwe
13 Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe, 14 omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo, 15 (K)Abaseba[c] ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”
16 (L)Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”
17 (M)N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya[d] bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”
18 Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19 (N)laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”
20 (O)Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: 21 (P)n’agamba nti,
“Nazaalibwa sirina kantu
era bwe ntyo bwe ndiddayo.
Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo,
erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”
22 (Q)Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.
Emirembe n’essanyu
5 (A)Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, 2 (B)era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. 3 (C)Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. 4 Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. 5 (D)Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.
6 (E)Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. 7 Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. 8 (F)Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.
9 (G)Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. 10 (H)Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe? 11 So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.
Okufa mu Adamu n’Obulamu mu Kristo
12 (I)Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa. 13 (J)Ekibi kyaliwo mu nsi ng’amateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olw’ebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo. 14 (K)Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma. 15 (L)Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi. 16 Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. 17 (M)Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?
18 (N)Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu. 19 (O)Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.
20 (P)Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. 21 (Q)Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.