Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 32

Yakobo Yeeteekateeka Okusisinkana Esawu

32 (A)Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. (B)Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu.

(C)Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri[a] mu nsi ya Edomu. N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, (D)alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”

(E)Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” (F)Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”

(G)Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 10 (H)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 11 (I)Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 12 (J)Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”

Ekirabo kya Yakobo eri Esawu

13 (K)N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14 embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15 eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16 N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”

17 N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 18 (L)N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19 Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 20 (M)era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.

Yakobo Amegganira e Penieri

22 (N)Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. 23 N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. 24 (O)Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. 25 (P)Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. 26 (Q)Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”

Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” 27 Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.”

28 (R)Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”

29 (S)Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.

30 (T)Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”

31 Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. 32 Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.

Makko 3

(A)Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. (B)Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona. (C)Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.

Ebibiina Bigoberera Yesu

(D)Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. (E)N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 10 (F)Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 11 (G)Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 12 (H)Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.

Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri

13 (I)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 14 (J)N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 15 (K)N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:

16 (L)Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:

Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne

17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”

18 Andereya,

ne Firipo,

ne Battolomaayo,

ne Matayo,

ne Tomasi,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo

ne Saddayo,

ne Simooni, Omukananaayo,

19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.

Yesu ne Beeruzebuli

20 (M)Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya. 21 (N)Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse. 22 (O)Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”

23 (P)Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24 Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. 25 N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. 26 Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. 27 (Q)Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye. 28 Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola. 29 (R)Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”

30 Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”

Baganda ba Yesu ne Nnyina

31 (S)Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. 32 Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”

33 Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”

34 Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! 35 Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Eseza 8

Kabaka Awa Ekiragiro Obutatta Bayudaaya

(A)Awo ku lunaku olwo Kabaka Akaswero n’awa Nnabagereka Eseza ebintu byonna[a] ebya Kamani omulabe w’Abayudaaya. Eseza n’ategeeza Kabaka nti alina oluganda ku Moluddekaayi, era okuva mu kiseera ekyo Moluddekaayi n’ajjanga mu maaso ga Kabaka. (B)Kabaka n’aggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza n’afuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.

Awo Eseza n’agenda ewa Kabaka nate ng’amwegayirira ng’agwa ku bigere bye n’okukaaba nga bw’akaaba, ng’amusaba akomye enteekateeka embi zonna eza Kamani Omwagaagi, n’enkwe ze yali asalidde Abayudaaya. (C)Kabaka n’agololera Eseza omuggo ogwa zaabu, amangu ago Eseza n’agolokoka n’ayimirira mu maaso ga Kabaka.

Eseza n’ayogera nti, “Kabaka bw’anasiima, era obanga ŋŋaanze mu maaso ga Kabaka, nange obanga musanyusa, bawandiike ekiragiro okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi, ze yayiiya era n’awandiika okuzikiriza Abayudaaya mu bitundu byonna ebya kabaka. (D)Nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba obulabe obulijja ku bantu bange, era n’okulaba okuzikirizibwa okw’ennyumba yange?”

Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Olw’okuba Kamani yali ayagala kuzikiriza Abayudaaya, ebintu bye mbiwadde Eseza, era n’okuwanikibwa awanikibbwa ku Kalabba. (E)Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lw’Abayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero n’empeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero n’empeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”

(F)Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe. 10 Moluddekaayi n’awandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero, ebbaluwa n’azissaako akabonero n’empeta ya Kabaka, n’aziweereza zitwalibwe ababaka abeebagala embalaasi ezidduka ennyo ate nga zaakuzibwa mu bisibo bya Kabaka.

11 (G)Ekiragiro kya Kabaka ky’awa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana n’okwekuuma; okuzikiriza, n’okutta, n’okusaanyaawo eggye lyonna ery’eggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe n’abaana baabwe abato, ate era n’okunyaga ebintu by’abalabe baabwe. 12 (H)Olunaku olwalondebwa Abayudaaya okukola bino mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero lwe lwali olunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, gwe mwezi Adali. 13 (I)Ebyaggyibwa mu kiragiro ekyo byali bya kuba nga tteeka mu buli kitundu, era n’okumanyibwa eri abantu aba buli ggwanga, nti ku lunaku olwo Abayudaaya beeteekereteekere okulwanyisa abalabe baabwe.

14 Awo ababaka abeebagala embalaasi za Kabaka, ne bagenda mbiro, ku kiragiro kya Kabaka, era n’ekiragiro ekiwandiikiddwa ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.

Abayudaaya Bawangula Abalabe Baabwe

15 (J)Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga Kabaka ng’ayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki n’ebyeru, era ng’atikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ng’ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo. 16 (K)Ate n’eri Abayudaaya kyali kiseera kya ssanyu, n’okujaguza n’ekitiibwa. 17 (L)Mu buli kitundu, ne mu buli kibuga, ekiragiro kya Kabaka we kyatuuka, waaliyo essanyu n’okujaguza n’embaga nnene ddala mu Bayudaaya. Era abantu bangi abamawanga amalala ne bafuuka Abayudaaya olw’entiisa ey’Abayudaaya eyali ebakutte.

Abaruumi 3

Obwesigwa bwa Katonda

Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? (A)Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.

(B)Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? (C)Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,
    era osinge bw’osala omusango.”

(D)Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. (E)Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? (F)Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? (G)Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.

Tewali mutuukirivu n’omu

(H)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.
11     Tewali ategeera
    wadde anoonya Katonda.
12 (I)Bonna baakyama,
    bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
    tewali n’omu.”
13 (J)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
    n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14     (K)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16     buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18     (L)“N’okutya tebatya Katonda.”

19 (M)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya. 20 (N)Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

Obutuukirivu buva mu Kukkiriza

21 (O)Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 22 (P)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23 Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 24 (Q)Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 25 (R)Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26 Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.

27 (S)Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 28 (T)Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka. 29 (U)Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 30 (V)Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31 Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.