Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 30

Batabani ba Biira ne Zirupa

30 (A)Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”

(B)Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”

(C)Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.[a] (D)N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye. Biira n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi.

(E)Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani. Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. (F)Laakeeri n’alyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okw’amaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.

(G)Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Yakobo abe mukazi we. 10 Zirupa omuweereza wa Leeya n’alyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi; 11 (H)Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.

12 Ate Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 13 (I)Leeya n’agamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.

14 (J)Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu,[b] n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.” 15 (K)Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”

16 Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.

17 (L)Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano. 18 (M)Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.

19 Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga. 20 (N)Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.

21 Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina. 22 (O)Ate Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira n’aggula olubuto lwe. 23 (P)N’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri n’agamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;” 24 (Q)n’amutuuma Yusufu, ng’agamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”

Yakobo Ateesa ne Labbaani

25 (R)Laakeeri bwe yazaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Nsiibula, ŋŋende ewaffe mu nsi yaffe. 26 (S)Mpa bakazi bange n’abaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”

27 (T)Labbaani kwe kumuddamu nti, “Nga bwe nfunye omukisa mu ggwe, nkusaba oleme kuva wano, kubanga ndabye nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. 28 (U)Ntegeeza empeera yo nange ngikuwe.” 29 (V)Yakobo n’amuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti nkuweerezza era n’ensolo zo nga nzaazizza. 30 (W)Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?”

31 Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo: 32 (X)nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo n’eza bitanga, n’endiga ento enzirugavu, n’embuzi eza bugondogondo n’ezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange. 33 Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”

34 Labbaani n’amuddamu nti, “Ekyo kirungi. Kale kibeere bwe kityo nga bw’ogambye.” 35 (Y)Naye ekiro ekyo Labbaani n’aggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bitanga, n’embuzi enkazi zonna eza bugondogondo n’eza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu n’aziwa abaana be bazirunde; 36 nga beesudde ebbanga eritambulirwa ennaku ssatu okuva ku ye okutuuka ku Yakobo. Yakobo ye n’alunda ezo ezaasigalawo ku kisibo kya Labbaani.

37 Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo. 38 N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku by’esero ensolo we zanyweranga. 39 Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso g’obuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, n’eza bugondogondo n’eza bitanga. 40 Yakobo n’ayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala n’azitunuza okwolekera eza biwuuga n’enzirugavu eza Labbaani. Bw’atyo ne yeekolera ebisibo eby’enjawulo, n’atagatta zize na za Labbaani. 41 Buli nsolo enkazi ez’amaanyi bwe zaabanga zigenda okuwaka nga Yakobo ateeka ku by’esero obuti bwe buli okwolekera ensolo ezigenda okuwaka, ziwakire okumpi nabwo. 42 Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ez’amaanyi ne zibanga za Yakobo. 43 (Z)Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi.

Makko 1

Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo

(A)Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

(B)Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti,

“Laba ntuma omubaka wange akukulembere,
    ateeketeeke ekkubo lyo;
(C)eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,
‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,
    mutereeze amakubo ge.’ ”

(D)Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. (E)Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. (F)Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. (G)Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”

Okubatizibwa kwa Yesu n’Okukemebwa kwe

(H)Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani. 10 (I)Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako. 11 (J)Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.” 12 Amangwago Mwoyo n’amutwala mu ddungu. 13 (K)N’amalayo ennaku amakumi ana ng’ali n’ensolo ez’omu nsiko, ng’akemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.

Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka

14 (L)Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 (M)ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.

Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni

21 (N)Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 (O)Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23 Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 24 (P)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 25 (Q)Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 26 (R)Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 27 (S)Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” 28 (T)Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.

Yesu Awonya Nnyina wa Muka Simooni

29 (U)Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana. 30 Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. 31 (V)Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!

Yesu Awonya Abalwadde Abangi

32 (W)Awo obudde bwe bwali buwungeera, ng’enjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, n’abaaliko dayimooni. 33 Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. 34 (X)Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.

Yesu Asaba yekka mu Kifo eteri Bantu

35 (Y)Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba. 36 Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya, 37 bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.” 38 (Z)Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.” 39 (AA)Awo n’abuulira mu makuŋŋaaniro ag’omu kitundu kyonna eky’e Ggaliraaya, era n’agoba ne baddayimooni.

Yesu Awonya Omugenge

40 (AB)Awo omugenge[a] n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” 41 Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!” 42 Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu. 43 Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula, 44 (AC)ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.” 45 (AD)Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.

Eseza 6

Moluddekaayi Aweebwa Ekitiibwa

(A)Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge. Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.

(B)Kabaka n’abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?”

Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”

Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.

Amangwago abaweereza ne baddamu nti, “Kamani wuuno waali ayimiridde mu luggya.” Kabaka n’ayogera nti, “Mumukkirize ayingire.”

Awo Kamani n’ayingira, Kabaka n’amubuuza nti, “Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gw’asanyukira era gw’ayagala okuwa ekitiibwa?” Kamani n’alowooza mu mutima gwe nti, “Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?” Kamani n’addamu Kabaka nti, “Omusajja Kabaka gw’asanyukira okumuwa ekitiibwa, (C)bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, n’embalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule ey’obwakabaka ku mutwe. (D)Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’ ”

10 Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde.”

11 (E)Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, “Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa.”

12 (F)Oluvannyuma Moluddekaayi n’akomawo ku wankaaki wa Kabaka, naye Kamani n’ayanguwa n’addayo ewuwe, ng’anakuwadde era ng’abisse ku mutwe gwe, 13 (G)n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.

Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.” 14 (H)Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba Kabaka ne batuuka, ne banguwa okutwala Kamani ku mbaga Eseza gye yali afumbye.

Abaruumi 1

(A)Nze Pawulo, omuddu[a] wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, (B)gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, (C)ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe. (D)Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye. (E)Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.

(F)Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.[b]

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.

Pawulo Ayagala Okukyala mu Ruumi

(G)Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna. (H)Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo, 10 (I)nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala.

11 (J)Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, 12 kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina. 13 (K)Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.

14 (L)Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru, 15 (M)era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.

16 (N)Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. 17 (O)Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”

Obusungu bwa Katonda eri abantu

18 (P)Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. 19 (Q)Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. 20 (R)Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.

21 (S)Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 22 (T)Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 23 (U)ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.

24 (V)Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 25 (W)Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

26 (X)Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. 27 (Y)Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.

28 (Z)Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. 29 (AA)Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, 30 (AB)era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. 31 (AC)Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. 32 (AD)Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.