Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 9-10

Endagaano ya Katonda ne Nuuwa

(A)Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. (B)Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.

(C)“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. (D)Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.

(E)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
    n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
    Katonda mwe yakolera omuntu.

(F)Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”

Endagaano ne Nuuwa

Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali (G)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (H)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

12 (I)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.

14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (J)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (K)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”

17 (L)Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”

Batabani ba Nuuwa

18 (M)Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 19 (N)Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.

Kanani Akolimirwa, Seemu ye Aweebwa Omukisa

20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.

24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 25 (O)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,

“Kanani akolimirwe,
    abeere muddu wa baddu eri baganda be.”

26 Era n’agamba nti,

Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,
    Kanani abeere muddu we.”
27 Katonda yaza Yafeesi,
    abeere mu weema za Seemu,
    Kanani abeere muddu we.

28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.

Bazzukulu ba Nuuwa

10 (P)Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.

Bazzukulu ba Kuusi

(Q)Batabani ba Yafeesi:

Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.

(R)Batabani ba Gomeri be bano:

Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.

(S)Batabani ba Yivani baali:

Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)

Bazzukulu ba Kaamu

(T)Batabani ba Kaamu be bano:

Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,[a] ne Kanani.

Batabani ba Kuusi be bano:

Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.

Batabani ba Laama baali:

Seeba ne Dedani.

Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” 10 (U)Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.[b] 11 (V)Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne 12 Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.

13 Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa

Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14 (W)ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.

15 (X)Kanani ye yazaala

Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, 16 (Y)n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, 17 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, 18 (Z)n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. 19 (AA)Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.

20 Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

Bazzukulu ba Seemu

21 (AB)Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.

22 (AC)Abaana ba Seemu be bano:

Eramu, ne Asuli,[c] ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

23 (AD)Batabani ba Alamu:

Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.

24 (AE)Alupakusaadi ye kitaawe wa[d] Seera.

Seera ye kitaawe wa Eberi.

25 Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,

kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.

26 Yokutaani ye yali kitaawe wa

Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, 27 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, 28 ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, 29 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.

30 Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.

31 Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

32 (AF)Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.

Matayo 9

Yesu Awonya eyali Akoozimbye

(A)Awo Yesu n’asaabala mu lyato n’awunguka n’atuuka mu kibuga ky’ewaabwe, Kaperunawumu. (B)Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!”

(C)Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!”

(D)Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, “Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. (E)Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n’agamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!” N’ayimirira ng’awonye, ne yeddirayo eka. (F)Naye abantu abaali mu bibiina bwe baalaba ekyamagero kino ne beewuunya nnyo! Ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkaniddaawo!

Okuyitibwa kwa Matayo

Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.

10 Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi n’abantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti babi ne bajja ne batuula naye n’abayigirizwa be ku mmere ne balya. 11 (G)Naye Abafalisaayo bwe baakiraba, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki Mukama wammwe alya n’abawooza n’abantu abalina ebibi?”

12 Yesu bwe yawulira n’abaddamu nti, “Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde. 13 (H)Mugende muyige amakulu g’Ekyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe n’ebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti batuukirivu.”

14 (I)Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe n’Abafalisaayo bwe tukola?”

15 (J)Yesu n’ababuuza nti, “Mikwano gy’omugole bayinza okunakuwala ng’omugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.

16 “Tewali muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye lukadde, kubanga, ekiwero bwe kyetugga kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kigaziwa. 17 Era tewali ateeka wayini musu mu nsawo ez’amaliba enkadde. Ensawo[a] enkadde zaabika wayini n’ayiika n’ensawo ne zoonooneka. Wayini omusu bamuteeka mu nsawo z’amaliba maggya, byombi ne bitayonooneka.”

18 (K)Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.” 19 Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, 20 (L)omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. 21 Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”

22 (M)Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo.” Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.

23 (N)Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, 24 (O)n’agamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. 25 Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala. 26 (P)Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

27 (Q)Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

28 Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”

29 (R)Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” 30 (S)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.” 31 (T)Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

32 (U)Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. 33 (V)Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

34 (W)Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!” 35 (X)Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna. 36 (Y)Awo bwe yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bajja gy’ali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba, n’abasaasira nnyo. 37 (Z)N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. 38 Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”

Ezera 9

Okusaba kwa Ezera ku Nsonga ey’Okufumbiriganwa mu mawanga

(A)Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa,[a] abakulembeze ne bajja gye ndi ne boogera nti, “Abantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, tebeeyawudde ku mawanga agabaliraanye n’ebikolwa byabwe eby’emizizo. Tebeeyawudde ku Bakanani, ne ku Bakiiti ne ku Baperizi ne ku Bayebusi ne ku Bamoni ne ku Bamowaabu ne ku Bamisiri ne ku Bamoli. (B)Bawasizza abamu ku bawala baabwe, n’abawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula n’amawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze n’abakungu, be basinze okwonoona.”

Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange n’omunagiro gwange,[b] ne nkunyuula enviiri ku mutwe gwange ne mu kirevu kyange ne ntuula wansi nga nnakuwadde. (C)Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olw’obutali bwesigwa obw’abaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi bwe kyatuuka.

(D)Awo mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, n’ekkanzu yange enjulifu n’omunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange, (E)ne nsaba nti:

“Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, era sisobola kuyimusa maaso gange eri gwe Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe busukiridde emitwe gyaffe, n’omusango gwaffe gutuuse mu ggulu. (F)Okuva mu biro bya bajjajjaffe n’okutuusa leero, omusango gugenze gweyongera; era olw’obutali butuukirivu bwaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe baweereddwayo mu mukono gwa bakabaka ab’ensi, n’eri ekitala, n’eri obusibe, n’eri obunyazi, n’eri obuswavu obungi, nga bwe kiri mu nnaku zino.

(G)“Naye kaakano, akaseera katono, Mukama Katonda waffe atulaze ekisa n’atulekawo ffe abatono, n’atuwa ekifo ekisooka era ekinywevu mu watukuvu we, Katonda waffe n’amulisa amaaso gaffe, n’atuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe. (H)Newaakubadde nga tuli baddu,[c] Katonda waffe tatulekulidde mu busibe bwaffe, naye atulaze okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b’e Buperusi. Atuwadde obulamu obuggya okuzimba ennyumba ya Katonda waffe, n’okuddaabiriza ebyo ebyayonooneka, era atutaddeko Bbugwe okutwetooloola okutukuuma mu Yuda ne mu Yerusaalemi.

10 (I)“Kaakano Katonda waffe tunaayogera ki oluvannyuma lw’ebyo? Twaleka amateeka go 11 (J)ge watuwa ng’oyita mu baddu bo bannabbi, bwe wayogera nti, ‘Ensi gye mugenda okulya, nsi ejjudde obutali bulongoofu olw’abantu baamu, era bagijjuzizza ebikolwa eby’obugwagwa enjuuyi zonna. 12 (K)Noolwekyo temuwaayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe newaakubadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe. Temwongeranga ku bulungi bwabwe newaakubadde obugagga bwabwe, mulyoke mube n’amaanyi mulye ebirungi by’ensi, ate era mubirekere n’abaana bammwe okuba omugabo ogw’emirembe n’emirembe.’ 

13 (L)“Bino byonna bitutuuseeko olw’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu n’olw’omusango omunene gwe tulina, ate nga Katonda waffe totubonerezza ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye otuleseewo nga bwe tuli kaakano. 14 (M)Tunaayinza nate okumenya ebiragiro byo ne tuwasa mu mawanga ago agakola ebitasaana? Tolitunyiigira nnyo n’okusingawo n’otuzikiriza obutalekaawo muntu yenna? 15 (N)Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”

Ebikolwa by’Abatume 9

Okukyuka kwa Sawulo

(A)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, (B)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. (C)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”

Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”

Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! (D)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”

(E)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

10 (F)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

11 (G)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (H)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

13 (I)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (J)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

15 (K)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (L)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.

17 (M)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (N)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

20 (O)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (P)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (Q)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.

23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (R)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (S)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.

26 (T)Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 (U)Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 (V)Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 (W)Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.

31 (X)Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.

Ayineya ne Doluka

32 (Y)Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. 33 Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. 34 (Z)Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. 35 (AA)Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.

36 (AB)Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. 37 (AC)Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 38 (AD)Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.

39 (AE)N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.

40 (AF)Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. 41 Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. 42 Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. 43 (AG)Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.