M’Cheyne Bible Reading Plan
Okukendeera kw’Amataba
8 (A)Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; 2 (B)ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, 3 n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; 4 ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. 5 Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.
6 Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato 7 n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira. 8 Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; 9 naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; 11 ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi. 12 Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
13 Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde. 14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.
15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti, 16 (C)“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. 17 (D)Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be. 19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
20 (E)Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 21 (F)Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
22 (G)“Ensi ng’ekyaliwo,
okusiga n’amakungula,
obunnyogovu n’ebbugumu,
ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti,
emisana n’ekiro,
tebiggwengawo.”
Yesu Awonya Omugenge
8 Awo Yesu bwe yava ku lusozi ekibiina kinene ne kimugoberera. 2 (A)Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, “Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa.”
3 Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja n’awona ebigenge. 4 (B)Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi
5 Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira, 6 ng’agamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.”
7 Yesu n’amuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.”
8 (C)Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! 9 Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
10 (D)Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! 11 (E)Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 12 (F)Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji.”
13 (G)Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.
Yesu Awonya Nnyina wa muka Peetero
14 Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ng’agalamidde ku kitanda. 15 Yesu n’amukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, n’agolokoka n’amuweereza.
16 (H)Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde. 17 (I)Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti:
“Yatuwonya endwadde zaffe,
era n’atwala obunafu bwaffe.”
Okugoberera Yesu
18 (J)Awo Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ekimwetoolodde kinene n’alagira bawunguke balage ku ludda olulala. 19 Omu ku bawandiisi b’amateeka n’amusemberera n’amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga!”
20 (K)Yesu n’amuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
21 Omuyigirizwa we omu n’amugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” 22 (L)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”
23 Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be. 24 Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. 25 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!”
26 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. 27 Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?” 28 (N)Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. 29 (O)Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”
30 Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi[a] nga zirya, 31 baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi.”
32 Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. 33 Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’eby’abasajja abaaliko baddayimooni. 34 (P)Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.
Amannya g’Abaddayo ne Ezera
8 (A)Bano be bakulu b’ennyumba, n’abo abeewandiisa n’abo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi:
2 okuva mu bazzukulu ba Finekaasi,
Gerusomu;
n’okuva mu bazzukulu ba Isamaali,
Danyeri;
n’okuva mu bazzukulu ba Dawudi,
Kattusi 3 (B)muzzukulu wa Sekaniya,
n’okuva mu bazzukulu ba Palosi,
Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);
4 (C)n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu,
Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200);
5 n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya,
mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300);
6 (D)n’okuva mu bazzukulu ba Adini,
Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50);
7 n’okuva mu bazzukulu ba Eramu,
Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70);
8 n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya,
Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80);
9 n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu,
Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218);
10 n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi,
mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160);
11 n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi,
Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28);
12 n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi,
Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110);
13 (E)n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu,
abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60);
14 n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi,
Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70).
Okuddayo e Yerusaalemi
15 (F)Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi. 16 Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu, 17 (G)ne mbatuma eri Iddo omukulu w’ekifo eky’e Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo eky’e Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe. 18 (H)Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana; 19 ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri. 20 (I)Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.
21 (J)Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. 22 (K)Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” 23 (L)Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe.
24 (M)Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu, 25 (N)ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe. 26 Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, 27 ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu.
28 (O)Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, n’ebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe. 29 Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.” 30 Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.
31 (P)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo. 32 (Q)Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu. 33 (R)Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi. 34 Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.
35 (S)Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 36 (T)Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana[a] n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.
Ekkanisa Eyigganyizibwa
8 (A)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.
Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya. 2 Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi. 3 (B)Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
Firipo Abuulira mu Samaliya
4 (C)Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. 5 (D)Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo. 6 Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. 7 (E)Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa; 8 ekibuga ne kijjula essanyu.
Simooni Omufumu
9 (F)Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa. 10 (G)Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ” 11 Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga. 12 (H)Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa. 13 (I)Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
14 (J)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (K)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (L)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (M)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
18 Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. 19 N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
20 (N)Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. 21 (O)Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22 Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. 23 Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
24 (P)Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
25 (Q)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
Firipo n’Omwesiyopya
26 (R)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (S)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (T)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (U)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (V)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 (W)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (X)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (Y)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.