Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 7

(A)Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno. (B)Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi, era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi. Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”

(C)Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.

Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi. Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba. Era ensolo ennongoofu, n’ensolo ezitali nnongoofu n’ebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula, ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira. 10 Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.

11 (D)Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. 12 (E)Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro. 13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. 14 Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato. 15 (F)Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu. 16 Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.

17 (G)Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi. 18 Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 19 (H)Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka. 20 Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu. 21 (I)Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. 22 (J)Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa. 23 (K)Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.

24 (L)Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

Matayo 7

Temunoonyanga Bisobyo ku Bannammwe

(A)“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. (B)Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”

“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”

Musabe, munoonye, mweyanjule

(C)“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. (D)Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”

“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba? 12 (E)Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”

Omulyango omufunda n’omugazi

13 (F)“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. 14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Omuti n’Ebibala

15 (G)“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula. 16 (H)Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo. 17 Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. 18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. 19 (I)Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. 20 Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

21 (J)“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 22 (K)Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 23 (L)Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

24 (M)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

28 (N)Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.

Ezera 7

Ezera Akomawo e Yerusaalemi

(A)Awo oluvannyuma lw’ebyo, mu biro eby’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Kirukiya, (B)muzzukulu wa Sallumu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Akitubu, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Zerakiya, muzzukulu wa Uzzi, muzzukulu wa Bukki, muzzukulu wa Abisuwa, muzzukulu wa Finekaasi, muzzukulu wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona asinga obukulu, (C)n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye. (D)Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi.

N’atuuka mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka oyo. (E)Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye. 10 (F)Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.

Ebbaluwa Kabaka Alutagizerugizi gye yawandiikira Ezera

11 Eno ye kopi ey’ebbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omusomesa, omusajja eyali omukugu mu nsonga ez’amateeka n’ebiragiro bya Mukama eri Isirayiri.

12 (G)Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka,

Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu:

Nkulamusizza.

13 Nteeka etteeka nga buli muntu ow’omu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda. 14 (H)Otumiddwa kabaka n’abakungu be omusanvu ab’oku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi. 15 (I)Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka n’abakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi, 16 (J)awamu n’effeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, n’ebiweebwayo eby’obuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi. 17 (K)Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, n’endiga ennume, n’abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto eky’omu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi.

18 Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ng’okusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli. 19 (L)Ebintu byonna ebibaweereddwa okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe mubiwangayo olw’okusinza Katonda wa Yerusaalemi. 20 (M)N’ekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka.

21 Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu, by’anaabasabanga 22 n’okutuusa ku ttani ssatu n’ekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ez’eŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’envinnyo, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’amafuta, oba n’omunnyo gwe baliba baagala gwonna. 23 (N)Ekintu kyonna ekyalagirwa Katonda w’eggulu, kiribaweebwa mu bungi, ku lwa yeekaalu ya Katonda w’eggulu. Kale kiki ekirimuleetera okusunguwalira kabaka ne batabani be? 24 (O)Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza ey’engeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi ab’oku nzigi newaakubadde abaweereza ab’omu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala ab’omu nnyumba ya Katonda eyo.

25 (P)“Naawe, ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami n’abalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize n’abo abatagamanyi. 26 (Q)Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.”

27 (R)Mukama Katonda w’abajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi ekitiibwa, 28 (S)era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.

Ebikolwa by’Abatume 7

Okwogera kwa Suteefano mu Lukiiko

Awo Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”

(A)Suteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani. (B)N’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’

(C)“Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano. (D)Naye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana! (E)Katonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina. (F)Era Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’ (G)Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.

(H)“Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye, 10 (I)n’amuwonya mu kubonaabona kwonna era n’amuwa ekisa n’amagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Falaawo n’amuwa okufuga Misiri yonna era n’amukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.

11 (J)“Awo enjala n’egwa mu Misiri yonna ne mu nsi ya Kanani, n’ereetera bajjajjaffe okubonaabona ennyo kubanga baali tebalina we baggya mmere. 12 (K)Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo eŋŋaano n’atumayo bajjajjaffe, omulundi gwabwe ogwasooka. 13 (L)Ku mulundi ogwokubiri Yusufu ne yeeyanjulira baganda be era n’ayanjulira Falaawo baganda be. 14 (M)Bw’atyo Yusufu n’atumya kitaawe, Yakobo, era n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna be bantu nsanvu mu bataano. 15 (N)Bw’atyo Yakobo n’ajja e Misiri era n’afiira eyo ne bajjajjaffe. 16 (O)Oluvannyuma baaleetebwa e Sekemu mu ntaana Ibulayimu gye yali aguze omuwendo gw’effeeza, ku batabani ba Kamoli mu Sekemu.

17 (P)“Ekiseera ky’ekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri. 18 (Q)Awo kabaka omulala eyali tamanyi Yusufu n’atandika okufuga Misiri. 19 (R)Kabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.

20 (S)“Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu. 21 (T)Bwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo n’amulonda n’amutwala n’amulera nga mutabani we. 22 (U)Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.

23 “Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri. 24 N’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa. 25 Musa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera. 26 Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’

27 “Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe? 28 Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ 29 (V)Musa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.

30 “Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka. 31 (W)Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti, 32 (X)‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.

33 (Y)“Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu. 34 (Z)Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’

35 (AA)“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe. 36 (AB)Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu[a], n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.

37 (AC)“Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’ 38 (AD)Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.

39 (AE)“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri. 40 (AF)Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’ 41 (AG)Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe. 42 (AH)Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti,

“ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana,
    ggw’ennyumba ya Isirayiri?
43 (AI)Muzimbye essabo lya Moloki,
    ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani,
    nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze.
Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.

44 (AJ)“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. 45 (AK)Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. 46 (AL)Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. 47 Naye Sulemaani ye yagizimba.

48 (AM)“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,

49 (AN)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
    N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
    Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
    Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50 (AO)Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’

51 (AP)“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli. 52 (AQ)Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. 53 (AR)Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”

Suteefano Akubwa Amayinja

54 (AS)Awo abakulembeze b’Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji. 55 (AT)Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. 56 (AU)N’abagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga n’Omwana w’Omuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”

57 Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako. 58 (AV)Ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere by’omuvubuka erinnya lye Sawulo.

59 (AW)Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, n’akoowoola Katonda ng’agamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” 60 (AX)N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.