M’Cheyne Bible Reading Plan
Nnamwandu n’Akasumbi ak’Amafuta
4 (A)Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.” 2 (B)Erisa n’amuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” N’amugamba nti, “Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta[a] otutono ennyo.” 3 Erisa n’amugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. 4 Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ng’ekijjula ky’ossa wa bbali.”
5 Bwe yava waali n’addayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye n’abaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bw’attulula. 6 Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.”
Awo amafuta ne gakoma.
7 (C)Amangwago nnamwandu n’addayo ew’omusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”
Mutabani w’Omusunammu Azuukizibwa
8 (D)Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere. 9 Omukazi n’agamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano. 10 (E)Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda n’emmeeza, n’entebe, n’ettabaaza by’anaakozesanga ng’azze okutukyalira.”
11 Lumu, Erisa n’akyalayo, n’agenda mu kisenge kye, n’awummulirako eyo. 12 (F)N’agamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge. 13 Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’ ”
N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”
14 Erisa n’abuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi n’addamu nti, “Laba talina mwana, ate ng’akaddiye.” 15 Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango. 16 (G)Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.”
Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”
17 Naye oluvannyuma omukazi n’aba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, n’azaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.
18 (H)Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi. 19 N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!”
Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”
20 Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa. 21 (I)Nnyina n’asitula omulambo gwe, n’agutwala waggulu n’aguteeka ku kitanda eky’omusajja wa Katonda, n’afuluma, n’aggalawo oluggi.
22 N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”
23 (J)N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.” 24 Ne yeebagala endogoyi, n’agamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.” 25 (K)Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri[b]. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli! 26 Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’ ”
Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”
27 (L)Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.” 28 Omukazi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?” 29 (M)Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.” 30 Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera. 31 Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”
32 (N)Awo Erisa n’atuuka ku nnyumba, n’agenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gw’omwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye. 33 (O)N’ayingira ekisenge, ne yeggalirayo, n’atandika okusaba Mukama. 34 (P)N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira. 35 (Q)Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.
36 (R)Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.” 37 Omukazi n’ayingira, n’avuunama ku bigere bya Erisa, n’asitula omwana we n’afuluma.
Erisa n’Enva Ezirimu Obutwa
38 (S)Oluvannyuma, Erisa ng’azeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. N’agamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.” 39 Omu ku bo n’alaga mu nnimiro n’anoga amaboga, n’alaba n’omuzabbibu ogw’omu nsiko[c], n’anoga ku bibala byagwo ebiwera, n’assa mu lugoye lwe. N’addayo n’abisalirasalira mu ntamu ey’enva. Teyamanya nga bye yanoga birimu akabi. 40 Buli muntu ne bamusenera ku nva; naye bwe baaziryako, ne bayogerera waggulu nti, “Omusajja wa Katonda mu ntamu mulimu okufa.” Ne batazirya.
41 (T)Erisa n’agamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera n’abuteeka mu ntamu y’enva, n’abagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu y’enva.
Erisa Agabula Abantu Ekikumi
42 (U)Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, n’aleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi n’ebiri nga mmere ey’okubibala ebibereberye, ate era n’amuleetera n’ebirimba eby’eŋŋaano embisi. Erisa n’agamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.”
43 (V)Omuweereza we n’amuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?” 44 Naye Erisa n’amuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’ ” N’abibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Okulamusa
1 (A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, 2 (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
Okwerinda Enjigiriza Enkyamu
3 (C)Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. 4 (D)Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. 5 (E)Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. 6 Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. 7 Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. 8 (F)Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. 9 (G)Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, 10 (H)n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, 11 (I)ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
Okwebaza Katonda olw’Ekisa kye
12 (J)Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe. 13 (K)Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza. 14 (L)Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu. 15 (M)Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. 16 (N)Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. 17 (O)Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.
18 (P)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (Q)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (R)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Okwolesebwa kwa Danyeri okw’Endiga Ennume n’Embuzi Ennume
8 Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka. 2 (A)Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi. 3 (B)Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma. 4 (C)Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.
5 Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka. 6 N’erumba n’obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga. 7 (D)Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume. 8 (E)Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ez’omu ggulu.
9 (F)Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’eri ensi ey’ekitalo ennungi. 10 (G)Ne likula ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu, ne lisuula abamu ku b’eggye n’emmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira. 11 (H)Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo. 12 Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.
13 (I)Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”
14 (J)N’aŋŋamba nti, “Okutuusa ng’ennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”
Amakulu g’Okwolesebwa
15 (K)Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja. 16 (L)Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.”
17 (M)Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”
18 (N)Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.
19 (O)N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero. 20 Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi. 21 (P)N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye. 22 N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe.
23 “Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo. 24 (Q)Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 25 (R)Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.
26 (S)“Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”
27 (T)Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.
116 (A)Mukama mmwagala,
kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2 (B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
3 (C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
4 (D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
“Ayi Mukama, ndokola.”
5 (E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6 (F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
7 (G)Wummula ggwe emmeeme yange,
kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
8 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
9 (I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
mu nsi ey’abalamu.
10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
“Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
“Abantu bonna baliraba.”
12 Mukama ndimusasula ntya
olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna.
15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
wakati wo, ggwe Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.