Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 11

Abakazi ba Sulemaani

11 (A)Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, (B)nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. (C)Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. (D)N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.

(E)Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi[a] akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. (F)Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 10 (G)Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 11 (H)Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12 Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 13 (I)Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”

Abalabe ba Sulemaani

14 Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu. 15 (J)Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu. 16 Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu. 17 Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe. 18 (K)Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.

19 Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa. 20 Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.

21 Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”

22 Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”

23 (L)Katonda n’ayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka w’e Zoba. 24 (M)Dawudi bwe yatta eggye ly’e Zoba, Lezoni n’akuŋŋaanya abasajja abajeemu n’afuuka mukulu waabwe, n’addukira e Ddamasiko, n’akiwamba, n’abeera eyo nga gy’afugira. 25 (N)Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.

Yerobowaamu Ajeemera Sulemaani

26 (O)Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. 27 (P)Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe. 28 (Q)Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu. 29 (R)Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale. 30 (S)Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 31 (T)N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi. 32 Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu. 33 (U)Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.

34 “ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange. 35 Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi. 36 (V)Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange. 37 (W)Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri. 38 (X)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri. 39 Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”

40 (Y)Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki[b] kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.

Okufa kwa Sulemaani

41 Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani. 42 Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 43 (Z)N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.

Abafiripi 2

Mulabire ku Kristo

(A)Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, (B)mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, (C)nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

(D)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(E)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(F)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(G)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(H)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (I)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (J)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwakira Ensi

12 (K)Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. 13 (L)Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

14 (M)Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, 15 (N)mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, 16 (O)nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa. 17 (P)Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna. 18 Era nammwe musanyukire wamu nange.

Timoseewo ne Epafuladito

19 (Q)Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. 20 (R)Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, 21 (S)kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. 22 (T)Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. 23 (U)Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 24 (V)Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.

25 (W)Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 (X)ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 (Y)Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 (Z)kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.

Ezeekyeri 41

41 (A)Awo omusajja n’antwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu n’apima empagi ez’awayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi. (B)Awayingirirwa waali obugazi mita ttaano, n’obugazi bw’empagi ez’oku luuyi olw’omunda zaali mita bbiri n’ekitundu eruuyi n’eruuyi. N’apima ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nga wali mita amakumi abiri obuwanvu, n’obugazi mita kkumi.

Oluvannyuma n’ayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu w’Awatukuvu, n’apima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, n’ebisenge ebyayitangamu eruuyi n’eruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu w’Awatukuvu byali mita ssatu n’ekitundu obugazi. (C)N’apima Awatukuvu w’Awatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.”

N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri. (D)Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu. (E)Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.

Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogw’ebisenge eby’ebbali. Obuwanvu kyali ng’obuwanvu obw’oluti, z’emita empanvu ssatu. Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali. Omubiri gw’ekisenge ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati w’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. Waaliwo n’ekibangirizi wakati wa bbugwe n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. 10 Ekibangirizi ekyo kyali mita kkumi obugazi. 11 Waaliwo emiryango egyayingiranga mu bisenge eby’ebbali okuva mu kibangirizi ekiri wakati w’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali n’ebisenge ebyo. Emiryango egyo gyali ku luuyi olw’Obukiikakkono, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo kyali mita bbiri n’ekitundu obugazi.

12 Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.

13 Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano. 14 (F)Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.

15 (G)N’apima obuwanvu obw’ekizimbe ekyali mu maaso g’oluggya emanju wa yeekaalu, okwo nga kw’ogasse embalaza oluuyi n’oluuyi nga wali mita amakumi ataano.

Ekifo Awatukuvu ebweru, n’ekifo Awatukuvu munda n’ekisasi mu maaso g’oluggya 16 (H)n’awayingirirwa, n’amadirisa amafunda n’embalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, n’ekisenge okutuuka ku madirisa, n’amadirisa byabikkibwako. 17 Mu bbanga eryali waggulu w’omulyango okutuuka mu wakuŋŋaanirwa munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda n’ebweru, 18 (I)yakolebwa ne bakerubi n’enkindu, ng’olukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri 19 (J)ekyenyi ky’omusajja nga kyolekedde olukindu ku luuyi olumu n’ekyenyi ky’empologoma ento nga kyolekedde olukindu oluuyi olulala. Ebyo byakolebwa okwetooloola eyeekaalu yonna. 20 Okuva wansi okutuuka mu kibangirizi ekiri waggulu w’omulyango waaliwo bakerubi n’enkindu ebyawoolebwa ebweru ku kisenge ky’Awatukuvu.

21 (K)Omulyango ogw’Awatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era n’ogwo ogwali mu maaso g’Ekifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana 22 (L)Ekyoto kyabajjibwa mu muti ng’obugulumivu kiri mita emu n’ekitundu, obuwanvu n’obugazi mita emu, eruuyi n’eruuyi. Ensonda zaakyo n’obuwanvu bwakyo n’ebisenge byakyo byali bya miti. Omusajja n’aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso ga Mukama.” 23 (M)Awatukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu byalina enzigi za mpayi bbiri bbiri. 24 (N)Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri. 25 Era ku nzigi ezo ez’Awatukuvu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu nga biri ebyayolebwa ku bisenge. Waaliwo n’akasasi akaakolebwa mu muti akali ku kisasi. 26 (O)Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.

Zabbuli 92-93

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.

92 (A)Kirungi okwebazanga Mukama,
    n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
(B)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
    n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
(C)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
    n’endere awamu n’entongooli.

(D)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
    kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
(E)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
    ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
(F)Omuntu atalina magezi tamanyi;
    n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
    n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!

Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.

(G)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
    abalabe bo balizikirira,
    abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (H)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
    n’onfukako amafuta amalungi.
11 (I)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
    n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.

12 (J)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
    ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (K)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
    Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (L)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
    baliba balamu era abagimu,
15 (M)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
    lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
93 (N)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(O)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(P)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(Q)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(R)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.