M’Cheyne Bible Reading Plan
Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni
9 (A)Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. 2 (B)Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.
3 Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:
4 (C)Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.
5 Ku Basiiro,
Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.
6 Ku bazzukulu ba Zeera,
Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.
7 Ku bazzukulu ba Benyamini,
Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,
8 ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu,
ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli,
ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.
9 Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.
10 Ku bakabona abaakomawo kwaliko
Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;
12 (D)ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.
13 Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
14 Ku baleevi kwaliko:
Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,
15 (E)ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,
16 (F)ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni;
ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.
17 (G)Abaggazi ba wankaaki baali,
Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu; 18 (H)be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.
19 (I)Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.
20 (J)Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.
21 (K)Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
22 (L)Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.
Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali. 23 Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema. 24 Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo, 25 (M)era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu. 26 (N)Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda. 27 (O)Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.
28 Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo. 29 (P)Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa. 30 (Q)Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa. 31 Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo, 32 (R)era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.
33 (S)Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.
34 Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
Enda ya Sawulo
35 (T)Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni,
n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka, 36 ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako, 37 ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo. 38 Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
39 (U)Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
40 (V)Mutabani wa Yonasaani ye yali
Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.
41 Batabani ba Mikka baali
Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
42 Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza. 43 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.
44 Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe:
Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.
Sawulo Yetta
10 Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. 2 Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisiwa ne battibwa. 3 Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa.
4 Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako. 5 Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta. 6 Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa.
7 Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. 8 Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa. 9 Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago. 10 (W)Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate n’omutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni.
11 (X)Awo ab’e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo, 12 abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’eggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu.
13 (Y)Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako, 14 (Z)mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.
Katonda akangavvula abaana be
12 (A)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 (B)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 3 (C)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 4 (D)Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 (E)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
7 (F)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 (G)Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9 (H)Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 (I)Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11 (J)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 12 (K)Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 13 (L)era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
Okulabulwa obutagaana Katonda
14 (M)Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama. 15 (N)Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala. 16 (O)Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olw’olulya olumu. 17 (P)Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi.
18 (Q)Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, n’okukankana n’ekizikiza ekikutte, ne kibuyaga, 19 (R)n’eri eddoboozi ly’akagombe n’eri eddoboozi ery’ebigambo n’abo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira. 20 (S)Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.” 21 Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.”
22 (T)Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye, 23 (U)n’eri ekkanisa ey’abo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo egy’abantu abaatukirizibwa, 24 (V)n’eri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, ey’omusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.
25 (W)Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ng’ali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo n’okusingawo, bwe tulijeemera ekigambo ky’oyo ow’omu ggulu atulabula? 26 (X)Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.” 27 (Y)Kino kitegeeza nti agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo.
28 (Z)Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. 29 (AA)Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”
Mukama anenya abali mu Mirembe
6 (A)Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.
Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,
abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
2 (B)Mugende mulabe e Kalune;
muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
3 (C)Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
ate ne musembeza effugabbi.
4 (D)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
n’ey’ennyana ensava.
5 (E)Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
6 (F)Mwekatankira wayini,
ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,
naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
7 Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
8 (G)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
9 (H)Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 10 (I)Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11 (J)Laba Mukama alagidde,
ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,
n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.
12 (K)Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?
Naye obwenkanya mubufudde obutwa
n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 (L)Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”
14 (M)Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,
“Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;
liribajooga ebbanga lyonna
okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”
Maliyamu Akyalira Erisabesi
39 (A)Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. 40 N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. 41 Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. 42 (B)Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. 43 Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! 44 Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! 45 Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
Oluyimba lwa Maliyamu
46 (C)Maliyamu n’agamba nti,
47 (D)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (E)Kubanga alabye
obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 (F)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
N’erinnya lye ttukuvu.
50 (G)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
eri abo abamutya.
51 (H)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
n’agulumiza abawombeefu.
53 (I)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (J)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
n’ajjukira okusaasira,
55 (K)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
56 Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.
Okuzaalibwa kwa Yokaana
57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59 (L)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (M)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62 (N)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (O)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (P)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (Q)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (R)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67 (S)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 (T)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (U)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (V)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (W)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (X)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (Y)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (Z)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (AA)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (AB)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (AC)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (AD)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
80 (AE)Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.