Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 24

24 (A)Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza. (B)Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali. (C)Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola, (D)ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.

Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? (E)Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka. (F)Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.

Yekoyakini Kabaka wa Yuda

(G)Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.

10 (H)Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa. 11 Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza. 12 (I)Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe. 13 (J)Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. 14 (K)N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.

15 (L)Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi. 16 (M)Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe. 17 (N)Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.

Zeddekiya, Kabaka wa Yuda

18 (O)Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 19 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola. 20 (P)Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge.

Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

Abaebbulaniya 6

(A)Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. (B)Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. (C)Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.

(D)Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, (E)naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. (F)Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.

(G)Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. 10 (H)Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. 11 (I)Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. 12 (J)Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.

Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda

13 (K)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 14 (L)Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 15 (M)Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.

16 (N)Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 17 (O)Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. 18 (P)Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. 19 (Q)Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. 20 (R)Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Yoweeri 3

Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango

(A)“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
    Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
(B)Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
    ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,
ne mbasalira omusango
    olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.
Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,
    ne bagabana ensi yange.
(C)Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
    ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,
n’abawala ne babatundamu omwenge
    ne beenywera.

(D)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. (E)Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.

(F)“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. (G)Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.

Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga

(H)Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
    Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
    buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 (I)Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
    n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
    “Ndi wa maanyi.”
11 (J)Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
    mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 (K)“Amawanga geeteeketeeke
    gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
    ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 (L)Kozesa oluwabyo lwo,
    kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
    okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
    ekibi kyabwe kinene nnyo.”

14 (M)Abantu bukadde na bukadde
    abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
    lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
    n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 (N)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
    alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
    Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
    era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 (O)“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
    abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
    nga ne bannamawanga tebakyakirumba.

18 (P)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
    n’obusozi bulikulukusa amata,
    n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
    n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 (Q)Misiri erifuuka amatongo
    n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
    ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 (R)Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
    ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
21 (S)Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
    era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”

Zabbuli 143

Zabbuli Ya Dawudi.

143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
    era omutuukirivu jjangu ombeere.
(B)Tonsalira musango,
    kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
    anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
(C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
    n’omutima gwange gwennyise.
(D)Nzijukira ennaku ez’edda,
    ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
    ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
(E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
    ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

(F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
    kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
    nneme okufaanana ng’abafu.
(G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
    kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
    kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
(H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
    kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
    antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
    mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (K)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
    ozikirize n’abanjigganya bonna,
    kubanga nze ndi muddu wo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.