M’Cheyne Bible Reading Plan
Amaziya Kabaka wa Yuda
14 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka. 2 Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi. 3 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe. 4 (A)Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo. 5 (B)Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe. 6 (C)Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.” 7 (D)Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera[a] mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero.
8 Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.” 9 (E)Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango. 10 (F)Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?”
11 (G)Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 12 (H)Yuda n’awangulibwa Isirayiri, buli musajja n’addukira ewuwe. 13 (I)Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda. 14 N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era n’abantu n’abatwala nga basibe, n’addayo e Samaliya.
Okufa kwa Yekoyaasi
15 (J)Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola n’ebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 16 Yekoyaasi n’afa n’aziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.
Okufa kwa Amaziya
17 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi n’awangaala emyaka kkumi n’ettaano emirala oluvannyuma lw’okufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri. 18 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
19 (K)Ne bamusalira olukwe olw’okumuttira mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi, naye ne bamuwerekereza abasajja era ne bamuttira e Lakisi. 20 (L)Ne bakomyawo omulambo gwe ku mbalaasi, era n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu Yerusaalemi, mu kibuga kya Dawudi.
21 (M)Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya ow’emyaka ekkumi n’omukaaga kabaka, ng’asikira kitaawe Amaziya. 22 (N)Ye yaddaabiriza Erasi era n’azza Yuda obuggya, nga Amaziya amaze okufa.
Yerobowaamu II Kabaka wa Isirayiri
23 (O)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu. 24 (P)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 25 (Q)Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo.
26 (R)Mukama yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu, nga tewali ayinza ku babeera. 27 (S)Olw’okubanga Mukama yali tagambye nti alisaanyaawo erinnya lya Isirayiri wansi w’eggulu, n’atuma Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi okubalokola.
28 (T)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo n’obuzira, n’engeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 29 Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, bassekabaka ba Isirayiri, Zekkaliya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
4 (A)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, 2 (B)buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. 3 (C)Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. 4 Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. 5 (D)Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.
6 (E)Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. 7 (F)Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. 8 (G)Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
9 Fuba okujja amangu gye ndi. 10 (H)Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. 11 (I)Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza. 12 (J)Tukiko n’amutuma mu Efeso. 13 Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba.
14 (K)Alegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye. 15 Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe. 16 (L)Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. 17 (M)Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. 18 (N)Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
Okulamusa n’Omukisa
19 (O)Nnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo.
20 (P)Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde. 21 Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka.
Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna.
22 (Q)Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
7 (A)na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
bamenya ne bayingira mu mayumba,
era batemu abateega abantu mu makubo.
2 (B)Naye tebalowooza
nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
era mbiraba.
3 (C)“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
4 (D)Bonna benzi;
bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
5 (E)Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
6 (F)Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
mu makya ne bwaka ng’omuliro.
7 (G)Bonna bookya nga oveni,
era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
tewali n’omu ku bo ankowoola.
8 (H)“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
9 (I)Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
naye takiraba.
10 (J)Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
newaakubadde okumunoonya.
11 (K)“Efulayimu ali ng’ejjiba,
alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
era bagenda eri Obwasuli.
12 (L)Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13 (M)Zibasanze,
kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
naye banjogerako eby’obulimba.
14 (N)Tebankaabira n’emitima gyabwe,
wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
naye ne banjeemera.
15 (O)Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
naye bansalira enkwe.
16 (P)Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
mu nsi y’e Misiri.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2 (B)Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
3 Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4 (C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
5 (D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6 Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7 Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
5 (F)Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6 (G)emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
7 (H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 (I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2 Ebigere byaffe biyimiridde
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4 Eyo ebika byonna gye biraga,
ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6 (J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
“Abo abakwagala bafune ebirungi.
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9 (K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.