Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 6

Omutwe gw’Embazzi ogwali gubuze guzuulibwa

(A)Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, “Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo. Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” N’abagamba nti, “Mugende.”

Awo omu ku bo n’amubuuza nti, “Toogende n’abaddu bo?”

N’addamu nti, “Nzija kugenda nammwe.” N’agenda nabo.

Ne baserengeta ne balaga ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti. Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”

(B)Awo omusajja wa Katonda n’amubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa n’atema akati, n’akakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi. Erisa n’amugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja n’agiggyamu.

Erisa Aziba Amaaso g’Abasuuli

Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ng’agamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?” (C)Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda n’aweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.” 10 (D)Awo kabaka wa Isirayiri n’atuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka n’awona si mulundi gumu so si ebiri.

11 Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era n’ayita abaserikale be, n’ababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?” 12 (E)Omu ku bo n’amuddamu nti, “Tewali n’omu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, y’ategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo by’oyogerera mu kisenge kyo.” 13 (F)Kabaka n’alagira nti, “Mugende mulabe w’ali, ndyoke ntume abasajja bamukwate.” Ne bakomyawo obubaka nti, “Ali mu Dosani.” 14 (G)Amangwago n’asindika embalaasi, n’amagaali, n’eggye ery’amaanyi, ne bajja mu kiro ne bazingiza ekibuga.

15 Omuweereza ow’omusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya n’afuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, n’amagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?”

16 (H)Nnabbi n’addamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”

17 (I)Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.

18 (J)Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, n’asaba Mukama, n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso g’abantu bano.” N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba.

19 Erisa n’abagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” N’abakulemberamu n’abatwala e Samaliya. 20 Olwayingira mu kibuga, n’asaba Mukama nti, “Zibula amaaso g’abasajja bano, balabe.” Mukama n’azibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.

21 (K)Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, n’abuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?” 22 (L)N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.” 23 (M)N’abateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya n’okunywa, n’abasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri.

Enjala egwa mu Kibuga ekizingize, Samaliya

24 (N)Bwe waayitawoko ebbanga, Benikadadi kabaka w’e Busuuli, n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’alumba n’azingiza Samaliya. 25 (O)Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olw’okuzingiza okwo, omutwe gw’endogoyi[a] ne gutundibwanga kilo emu eya ffeeza, n’ekimu ekyokuna eky’ekibya eky’obusa bw’enjiibwa ne kitundibwanga gulaamu ataano mu ttaano eza ffeeza.

26 Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!”

27 Kabaka n’amuddamu nti, “Mukama bw’ataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?” 28 Era kwe ku mubuuza nti, “Mutawaana ki?”

Omukazi n’amuddamu nti, “Omukazi ono gw’olaba yateesezza nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye leero, enkya tulye owange.’ 29 (P)Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.”

30 (Q)Kabaka bwe yawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye. Bwe yali ng’atambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ng’ayambadde ebibukutu wansi w’ebyambalo bye. 31 N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”

32 (R)Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga n’abakadde batudde wamu naye, kabaka n’atuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bw’atumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?”

33 (S)Awo Erisa bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka, n’ayogera nti, “Akabi kano kavudde eri Mukama. Lwaki nnindirira Mukama nate?”

1 Timoseewo 3

Abalabirizi b’Ekkanisa

(A)Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. (B)Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. (C)Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. (D)Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. (E)Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? (F)Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. (G)Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.

Abadiikoni

(H)Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, (I)nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. 10 Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 11 (J)N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. 12 (K)Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. 13 Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.

Ekyama Ekikulu

14 Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 15 (L)kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 16 (M)Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:

“Yalabisibwa mu mubiri,
    n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
    n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
    era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”

Danyeri 10

Danyeri Alaba Malayika mu Kwolesebwa

10 (A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.

(B)Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga. Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.

(C)Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga nyimiridde ku mabbali g’omugga omunene Tigiriisi, (D)ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato. (E)Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene.

(F)Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka. (G)Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola. (H)Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.

10 (I)Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange n’amaviivi gange ne bitanula okujugumira. 11 (J)N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.

12 (K)N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo. 13 (L)Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo. 14 (M)Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro eby’omu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”

15 (N)Awo bwe yali ng’akyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika. 16 (O)Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa. 17 (P)Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”

18 (Q)Nate eyafaanana ng’omuntu n’ankomako n’anzizaamu amaanyi. 19 (R)N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.”

Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”

20 (S)N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja. 21 (T)Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.

Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.