M’Cheyne Bible Reading Plan
Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi
16 (A)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”
2 Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” Mukama n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’ 3 (B)Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”
4 (C)Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” 5 (D)N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka.
6 (E)Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima Mukama ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.” 7 (F)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
8 (G)Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye Mukama si gw’alonze.” 9 Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo Mukama si gw’alonze.” 10 Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu Mukama gw’alonze.” 11 (H)N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.”
12 (I)N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 13 (J)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.
Dawudi Aweereza Sawulo
14 (K)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga.
15 Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. 16 (L)Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bw’anagikubanga n’oddamu endasi, onoowuliranga bulungi n’okkakkana.”
17 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.” 18 (M)Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.” 19 Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.” 20 (N)Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo.
21 (O)Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye. 22 Awo Sawulo n’atumira Yese ng’agamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ng’omu ku baweereza bange, kubanga nsiimye by’ankolera.”
23 (P)Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.
Obutanenyagananga lwa Byakulya
14 (A)Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. 2 Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka. 3 (B)Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza. 4 (C)Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
5 (D)Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu. 6 (E)Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda. 7 (F)Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe. 8 (G)Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.
9 (H)Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu. 10 (I)Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula. 11 (J)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama,
‘buli vviivi lirinfukaamirira
era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”
12 (K)Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
Okwesittaza Abalala
13 (L)Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. 14 (M)Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 15 (N)Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 16 (O)Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 17 (P)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18 (Q)Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.
19 (R)Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka. 20 (S)Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala. 21 (T)Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.
22 (U)Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu. 23 (V)Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.
Yerusaalemi Kifuuse Matongo
1 (A)Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!
Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
afuuse omuddu omukazi.
2 (B)Ekiro akaaba nnyo nnyini,
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
bafuuse balabe be.
3 (C)Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
mu nnaku ye.
4 (D)Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
naye yennyini ali mu nnaku.
5 (E)Abamuyigganya bafuuse bakama be;
abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
bawambiddwa omulabe.
6 (F)Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
badduse ababagoba.
7 (G)Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
8 (H)Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
era akwatibwa ensonyi.
9 (I)Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
kubanga omulabe awangudde.”
10 (J)Omulabe yagololera omukono
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
11 (K)Abantu be bonna basinda
nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
kubanga nnyoomebwa.”
12 (L)“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
13 (M)“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
nga nzirise olunaku lwonna.
14 (N)“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
be siyinza kugumiikiriza.
15 (O)“Mukama anyoomye
abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
16 (P)“Kyenva nkaaba,
amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
kubanga omulabe awangudde.”
17 (Q)Sayuuni agolola emikono gye,
naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
18 (R)“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
19 (S)“Nakoowoola bannange bannyambe,
naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
baddemu amaanyi.
20 (T)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
21 (U)“Abantu bawulidde okusinda kwange,
naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
lubatuukeko, babeere nga nze.
22 (V)“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
n’omutima gwange guzirika.”
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (I)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.