M’Cheyne Bible Reading Plan
Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi
11 (A)Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni[a] n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” 2 (B)Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” 3 Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.”
4 (C)Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. 5 Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese.
6 (D)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. 7 (E)N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. 8 (F)Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu.
9 Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. 10 (G)Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” 11 (H)Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne.
Sawulo Akakasibwa Okuba Kabaka
12 (I)Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
13 (J)Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero Mukama alokodde Isirayiri.” 14 (K)Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” 15 (L)Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.
Okulonda kwa Katonda
9 (A)Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu, 2 nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima. 3 (B)Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri, 4 (C)be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa. 5 (D)Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.
6 (E)Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala. 7 (F)Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.” 8 (G)Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu. 9 (H)Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
10 (I)Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto. 11 (J)Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli, 12 (K)si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.” 13 (L)Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”
14 (M)Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe. 15 (N)Agamba Musa nti,
“Ndisaasira oyo gwe ndisaasira,
era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”
16 (O)Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 17 (P)Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” 18 (Q)Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.
19 (R)Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 20 (S)Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 21 (T)Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
22 (U)Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 23 (V)Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 24 (W)Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 25 (X)Ne mu Koseya agamba nti,
“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
26 (Y)Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,
“Temuli bantu bange,
mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27 (Z)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 (AA)Kubanga Mukama alisalawo
era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
29 (AB)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,
“Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
era twandifaananye nga Ggomola.”
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
30 (AC)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (AD)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 32 (AE)Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 33 (AF)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
n’olwazi olulibasuula.
Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
Obubaka Obukwata ku Mowaabu
48 (A)Ebikwata ku Mowaabu:
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
2 (B)Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
n’ekitala kirikugoberera.
3 (C)Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
4 Mowaabu alimenyebwa;
abawere ne bakaaba.
5 (D)Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
6 (E)Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
7 (F)Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
awamu ne bakabona be n’abakungu be.
8 Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
n’olusenyu luzikirizibwe
kubanga Mukama ayogedde.
9 Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
nga tewali abibeeramu.
10 (G)“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.
11 (H)“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
n’akawoowo ke tekakyukanga.
12 Naye ennaku zijja,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
baase n’ebibya bye.
13 (I)Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
bwe yeesiga Beseri.
14 (J)“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
abasajja abazira mu ntalo?’
15 (K)Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
abavubuka be abato bagende battibwe,”
bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
16 (L)“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
akabi katuuse.
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’
18 (M)“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
mutuule ku ttaka,
mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
19 (N)Muyimirire ku luguudo mulabe,
mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20 (O)Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
nti Mowaabu kizikiridde.
21 (P)Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
22 (Q)ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
23 (R)ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
24 (S)ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
25 (T)Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
n’omukono gwe gumenyese,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
26 (U)“Mumutamiize;
kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
era asekererwe.
27 (V)Isirayiri tewagisekereranga?
Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
buli lw’omwogerako?
28 (W)Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
ku mumwa gw’empuku.
29 (X)“Tuwulidde amalala ga Mowaabu
amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
31 (Y)Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
olwa Mowaabu yenna nkaaba,
nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
32 (Z)Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
ebyengedde era n’emizabbibu.
33 (AA)Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
okuleekaana okwo si kwa ssanyu.
34 (AB)“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
35 (AC)Ndiggyawo
abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
36 (AD)“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
Obugagga bwe baafuna buweddewo.
37 (AE)Buli mutwe mumwe
na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
38 (AF)Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
kubanga njasizzayasizza Mowaabu
ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
40 (AG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
41 (AH)Ebibuga birikwatibwa
n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
42 (AI)Mowaabu alizikirizibwa,
kubanga yajeemera Mukama.
43 (AJ)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu ba Mowaabu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
44 (AK)“Buli alidduka entiisa
aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
omwaka gw’okubonaabona kwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
45 (AL)“Mu kisiikirize kya Kesuboni,
abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
46 (AM)Zikusanze ggwe, Mowaabu.
Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
ne bawala bammwe mu busibe.
47 (AN)“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
mu nnaku ezijja,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8 (G)Mukama mulungi, era wa mazima,
noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9 (H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
n’okunkyawa kwe bankyawamu!
20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
tondekanga mu buswavu,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
essubi lyange liri mu ggwe.
22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
omuwonye emitawaana gye gyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.