M’Cheyne Bible Reading Plan
Ababenyamini bafuna Abakazi
21 (A)Abasajja ba Isirayiri baali beerayiridde e Mizupa nti, “Tewabanga n’omu ku ffe awaayo muwala we okufumbirwa Benyamini.”
2 Awo abantu ne bagenda e Beseri ne batuula eyo okutuusa akawungeezi nga bakaabira Katonda, nga bayimusa eddoboozi lyabwe, nga bakuba ebiwoobe, 3 nga bakaaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, lwaki kino kituuse ku Isirayiri leero, ekika ekimu okubula ku Isirayiri?”
4 (B)Awo ku lunaku olwaddirira, abantu ne bagolokoka ne bazimba ekyoto mu kifo ekyo, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. 5 (C)Abaana ba Isirayiri ne beebuuza nti, “Ani ku bika byonna ebya Isirayiri atazze kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda?” Kubanga baali beerayiridde, ng’omuntu yenna alemwa okukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, ateekwa kuttibwa.
6 Abaana ba Isirayiri ne basaalirwa olwa Benyamini muganda waabwe nga bagamba nti, “Leero ekika ekimu ekya Isirayiri kisaliddwako. 7 (D)Tunaabakolera ki okubafunira abakazi, obanga ffe ffennyini twerayiridde eri Mukama obutabawa bawala baffe okubafumbirwa?” 8 (E)Ne beebuuza nti, “Kika ki ku bika bya Isirayiri ekitaayambuka Mizupa mu maaso ga Mukama Katonda?” Ne bazuula nga mu Yabesugireyaadi tewaavaayo muntu eyajja mu lukuŋŋaana. 9 Bwe baalaba abantu, laba nga tewaliiwo mutuuze w’e Yabesugireyaadi.
10 Awo ekibiina ne kitumayo abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ne babalagira nti, “Mugende muzikirize n’ekitala abo bonna ababeera mu Yabesugireyaadi, obutalekaawo bakazi wadde abaana. 11 (F)Kino kye muba mukola. Mutte buli musajja na buli mukazi atali mbeerera.” 12 (G)Mu bantu abaabeeranga mu Yabesugireyaadi ne basangamu abawala ebikumi bina abaali embeerera, ne babatwala mu nkambi e Siiro mu nsi ya Kanani.
13 (H)Awo ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye ne kiweereza abaana ba Benyamini abaali ku lwazi lwa Limoni obubaka obw’emirembe. 14 Awo Ababenyamini ne bakomawo mu kiseera ekyo, era ne baweebwa abawala abaawonawo ku bawala ab’e Yabesugireyaadi, naye ne batabamala bonna.
15 (I)Abantu ne basaalirwa olwa Benyamini kubanga Mukama Katonda yali abaawudde ku bika bya Isirayiri ebirala. 16 Awo abakadde b’olukuŋŋaana ne bagamba nti, “Abakazi b’Ababenyamini baazikirizibwa, kaakano abasajja abasigaddewo, tunabalabira wa abakazi? 17 Ababenyamini abaasigalawo bateekwa okufuna abasika, ekika kireme okusangulibwawo mu Isirayiri. 18 (J)Ate tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga ffe abaana ba Isirayiri tweyama nga tugamba nti, ‘Akolimirwe aliwa Omubenyamini muwala we okumuwasa.’ 19 (K)Kyokka waliwo embaga ya Mukama Katonda eya buli mwaka e Siiro, ekiri mu bukiikakkono bwa Beseri, n’obuvanjuba bw’oluguudo oluva e Beseri okudda e Sekemu, n’obukiikaddyo bwa Lebona.”
20 Awo ne bagamba abaana ba Benyamini nti, “Mugende mwekweke mu nnimiro z’emizabbibu, 21 (L)muteege. Laba abawala b’e Siiro bwe banaafuluma okwegatta ku mazina, mudduke okuva mu nnimiro z’emizabbibu, mwefunire buli muntu omukazi ku bawala b’e Siiro, muddeyo mu nsi ya Benyamini. 22 (M)Awo bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balyemulugunya gye tuli, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, era olwokubanga temwababawa, temulina musango.’ ”
23 (N)Awo Ababenyamini ne bakola bwe batyo. Ne beewambira abawala ku abo abaali bazina, ne beddirayo mu busika bwabwe, ne baddamu okuzimba ebibuga byabwe ne babeera omwo. 24 Mu kiseera ekyo n’abaana ba Isirayiri buli muntu mu kika kye ne yeddirayo mu busika bwe. 25 (O)Mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri; buli muntu yakolanga nga bw’ayagala.
Pawulo Ajulira ewa Kayisaali
25 (A)Fesuto yamala ennaku ssatu mu Kayisaliya ng’azze okutandika emirimu gye emiggya, n’asitula okugenda e Yerusaalemi. 2 (B)Bwe yali ali eyo, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bamutegeeza bye baali bavunaana Pawulo. 3 Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo. 4 (C)Naye Fesuto n’abaddamu nti, “Nga Pawulo bw’ali mu Kayisaliya, ate nga nange nzija kuddayo mu nnaku ntono, 5 abakulembeze mu nsonga ezo tugende nabo nga nzirayo.” Obanga waliwo omusango Pawulo gw’azizza baguleete mu mbuga z’amateeka awozesebwe.
6 (D)Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka. 7 (E)Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo. 8 (F)Pawulo n’awoza ng’agamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya n’akamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.” 9 (G)Fesuto, olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya, n’abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gy’oba owoleza emisango gino mu maaso gange?”
10 Awo Pawulo n’addamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso g’embuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya. 11 Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ng’emisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kw’osinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.” 12 Fesuto, bwe yamala okuteesaamu n’abamuwa amagezi, n’addamu nti, “Nga bw’ojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”
Fesuto Yeebuuza ku Kabaka Agulipa
13 (H)Awo bwe waayitawo ennaku Kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka mu Kayisaliya okukyalira Fesuto. 14 (I)Ku bugenyi baamalako ennaku nnyingi, era mu bbanga eryo Fesuto n’ategeeza kabaka eby’omusango gwa Pawulo. N’amugamba nti, “Waliwo omusajja wano Ferikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe. 15 (J)Bwe nnali mu Yerusaalemi, bakabona ne bantegeeza emisango gye baali bamuvunaana, ne bansaba musalire omusango gumusinge era abonerezebwe.
16 (K)“Ne mbannyonnyola nti mu mateeka g’Ekiruumi, omuntu tasalirwa musango kumusinga nga tamaze kuwozesebwa n’aweebwa omukisa okuwoza n’abamuwawaabira. 17 (L)Bwe bajja wano okuwoza omusango ogwo, enkeera ne mpita Pawulo n’ajja mu mbuga z’amateeka. 18 Naye emisango gye baamuwawaabira si gye gyo gye nnali nsuubira. 19 (M)Gyali gikwata ku bya ddiini yaabwe, ne ku muntu ayitibwa Yesu eyafa, naye Pawulo gw’ategeeza abantu nti mulamu! 20 (N)Ebyo ne binnemesa. Kwe ku mubuuza obanga yandyagadde emisango egyo okugiwoleza mu Yerusaalemi. 21 (O)Naye Pawulo n’ajulira eri Kayisaali! Bwe ntyo ne mmuzzaayo mu kkomera, nteeketeeke okumuweereza eri Kayisaali.”
22 (P)Agulipa n’agamba nti, “Nange nandiyagadde okuwulira ku musajja ono by’agamba.” Fesuto n’addamu nti, “Enkya onoomuwulira.”
Pawulo mu maaso ga Agulipa
23 (Q)Awo ku lunaku olwaddirira Agulipa ne Berenike ne bayingira n’ekitiibwa kinene nnyo mu kisenge ekinene we batuukira, nga bawerekerwako abaserikale n’abantu abatutumufu mu kibuga. Fesuto n’alagira ne baleeta Pawulo. 24 (R)Fesuto n’alyoka agamba nti, “Kabaka Agulipa, nammwe mwenna abali wano ono ye musajja, Abayudaaya aba kuno n’abo ab’omu Yerusaalemi, gwe bansabye attibwe! 25 (S)Nze nga bwe ndaba, talina ky’akoze kimusaanyiza kufa. Naye bwe yajulira eri Kayisaali, nange kwe kusalawo okumuweereza e Ruumi. 26 Naye bye nnassa mu bbaluwa emutwala eri Kayisaali nange bimbuze, kubanga taliiko musango gwennyini gwe yazza! Kyenvudde muleeta mu maaso gammwe mwenna, n’okusingira ddala gy’oli, Kabaka Agulipa, nga neesiga ng’okuva mu ebyo bye munaamubuuza, naye by’anaddamu, nzija kufunamu bye nnassa mu bbaluwa ya Kayisaali. 27 Kubanga sirowooza nti kirungi okuweereza omusibe eri Kayisaali ng’omusango gw’azizza tegunnyonnyose.”
Abalekabu
35 (A)Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu bufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya nga kigamba nti, 2 (B)“Genda eri ekika eky’Abalekabu obayite bajje mu kimu ku bisenge mu nnyumba ya Mukama obawe envinnyo banywe.”
3 Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya, mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna, ekika kyonna eky’Abalekabu. 4 (C)Ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge kya bakungu, ekyali waggulu w’ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omukuumi w’oluggi. 5 Ne nteeka ebibya ebijjudde envinnyo n’ebikopo ebimu mu maaso g’abasajja ab’ennyumba y’Abalekabu ne mbagamba nti, “Munywe ku nvinnyo.”
6 (D)Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa nvinnyo kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga envinnyo. 7 (E)Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.’ 8 (F)Twagondera ekiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu kye yatulagira. Ffe wadde bakazi baffe wadde batabani baffe wadde bawala baffe tetunywangako ku nvinnyo, 9 (G)oba okuzimba ennyumba okusulamu oba okuba n’ennimiro ez’emizabbibu, oba ebibanja oba ebirime. 10 Tusula mu weema era tugondedde bulambalamba byonna jjajjaffe Yonadabu bye yatulagira. 11 (H)Naye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ery’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.”
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 13 (I)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Genda ogambe abantu ba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi nti, ‘Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange? 14 (J)Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa nvinnyo n’ekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa nvinnyo, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde. 15 (K)Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza. 16 (L)Ab’enda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.’
17 (M)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ”
18 Awo Yeremiya n’agamba ennyumba y’Abalekabu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’ 19 (N)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”
Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.
7 (A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
ngobaako bonna abangigganya era omponye,
2 (B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.
3 (C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
era ng’engalo zange ziriko omusango,
4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5 Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
bankube wansi banninnyirire,
banzitire mu nfuufu.
6 (D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
Golokoka, Ayi Katonda wange,
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
7 Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8 (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9 (F)Ayi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.
10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
n’aleega omutego gwe
ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
era akozesa obusaale obw’omuliro.
14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.
17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (M)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (N)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (O)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (P)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (Q)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (R)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (S)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.