Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Balam 5

Oluyimba lwa Debola

(A)Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:

(B)“Mutendereze Mukama
    kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe
    n’abantu ne beewaayo nga baagala.

(C)“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;
    nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;
    nze nnaayimbira Katonda w’Abayisirayiri.

(D)Mukama, bwe wava e Seyiri,
    bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
    Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
(E)Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,
    ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.

(F)“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,
    ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,
    baatambuliranga mu mpenda.
Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo
    okutuusa nze Debola lwe nayimuka,
    nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
(G)Bwe beefunira abakulembeze[a] abalala,
    entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.
Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena
    kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
(H)Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,
    n’eri abantu abeewaayo nga baagala.
    Mutendereze Mukama.

10 (I)“Mukyogereko mmwe,
    abeebagala ku ndogoyi enjeru,
    mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,
nammwe abatambulira mu kkubo. 11 (J)Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,
    nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,
    ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.

“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,
    ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
12 (K)Zuukuka, zuukuka Debola
    zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;
golokoka, Baraki okulembere
    abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.

13 “Awo abakungu abaasigalawo
    ne baserengeta,
abantu ba Mukama,
    ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
14 (L)Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,
    nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.
Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,
    ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15 (M)Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;
    era Isakaali yali wamu ne Baraki.
    Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
    waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16 (N)Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,
    okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
    waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17 (O)Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
    N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?
Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,
    ne babeera awali emyalo gyabwe.
18 (P)Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,
    era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.

19 (Q)“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
    bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
    Naye tebaanyaga bintu.
20 (R)Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
    zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 (S)Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
    omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
    Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
22 Awo embalaasi ne zijja nga zirigita
    era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
23 Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi[b].
    Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;
kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.
    Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’

24 (T)“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
    Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
    okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 (U)Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
    era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 (V)Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
    n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
    mu kyenyi n’eyita namu.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
    yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
    we yagwa we yafiira.

28 (W)“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
    yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
    Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
    ne yeddamu yekka.
30 (X)‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
    omuwala omu oba babiri buli musajja?
    Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
    Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’

31 (Y)“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
    Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
    ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”

Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.

Ebikolwa by’Abatume 9

Okukyuka kwa Sawulo

(A)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, (B)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. (C)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”

Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”

Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! (D)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”

(E)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

10 (F)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

11 (G)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (H)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

13 (I)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (J)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

15 (K)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (L)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.

17 (M)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (N)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

20 (O)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (P)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (Q)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.

23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (R)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (S)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.

26 (T)Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 (U)Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 (V)Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 (W)Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.

31 (X)Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.

Ayineya ne Doluka

32 (Y)Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. 33 Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. 34 (Z)Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. 35 (AA)Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.

36 (AB)Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. 37 (AC)Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 38 (AD)Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.

39 (AE)N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.

40 (AF)Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. 41 Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. 42 Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. 43 (AG)Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.

Yeremiya 18

Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba

18 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, (A)“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. (B)Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, (C)era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. (D)Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 (E)era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

11 (F)“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 (G)Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13 (H)Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.
    Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
    akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
    gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
    gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 (I)Naye ate abantu bange banneerabidde,
    banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
    era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 (J)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 (K)Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
    ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
    so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”

18 (L)Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19 Ompulirize, Ayi Mukama,
    owulirize abampakanya kye bagamba.
20 (M)Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
    Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
    ne nkaaba ku lwabwe,
    nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 (N)Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
    obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
    abasajja baabwe battibwe;
    abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 (O)Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
    bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
    era bateze ebigere byange emitego.
23 (P)Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
    bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
    wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
    era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.

Makko 4

Olugero lw’Omusizi

(A)Ate era n’atandika okuyigiriza ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato n’ayigiriza ng’atudde omwo. (B)Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. N’abayigiriza ng’agamba nti, (C)“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. (D)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi.”

(E)N’abagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”

10 Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abantu abalala, ne bamubuuza amakulu g’engero ezo ze yabagerera. 11 (F)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”

12 (G)“Balaba bulabi naye nga tebeetegereza,
    era n’okuwulira bawulira naye tebategeera,
si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”

13 “Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? 14 (H)Omusizi asiga ekigambo y’asiga. 15 (I)Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako. 16 Ate ensigo ezaagwa ku byaziyazi, gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza n’essanyu. 17 Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako. 18 Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, 19 (J)naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. 20 Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”

21 (K)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 22 (L)Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 23 (M)Alina amatu agawulira awulire. 24 (N)Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 25 (O)Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”

Olugero lw’Ensigo Ekula

26 (P)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27 Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28 Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 29 (Q)Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”

30 (R)Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31 Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32 naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”

33 (S)Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 34 (T)Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.

Yesu Akkakkanya Omuyaga

35 Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.” 36 (U)N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”

39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

40 (V)N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.