Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 14-15

Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani

14 (A)Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali[a] kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira. (B)Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu, (C)kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira; (D)kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu[b], bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe. (E)Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.

Kalebu Afuna Kebbulooni

(F)Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange. (G)Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. (H)Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna. (I)Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’

10 (J)“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana! 11 (K)Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira. 12 (L)Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”

13 (M)Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe. 14 Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri. 15 (N)Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.

Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.

Ensalo za Yuda

15 (O)Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.

N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo; (P)n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka; (Q)n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.

(R)N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo.

N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu. (S)N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni. (T)Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono. (U)Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono; (V)ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu, 10 (W)n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna, 11 (X)n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.

12 (Y)Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo.

Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Kalebu

13 (Z)Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki. 14 (AA)Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. 15 N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi. 16 (AB)Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.” 17 (AC)Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.

18 Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?” 19 N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.

Omugabo gwa Yuda

20 Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.

21 (AD)Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali,

Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli, 22 n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada, 23 n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani, 24 (AE)n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi, 25 n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli, 26 (AF)n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada, 27 n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti 28 (AG)n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia 29 n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu, 30 (AH)n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma, 31 (AI)n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna, 32 (AJ)n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.

33 (AK)Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna, 34 (AL)n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu, 35 (AM)n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka 36 (AN)n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

37 Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi, 38 (AO)n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri, 39 (AP)n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni, 40 n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi, 41 (AQ)n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

42 (AR)Libuna n’e Eseri, n’e Asani, 43 n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu, 44 (AS)n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

45 Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo, 46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo; 47 (AT)Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.

48 (AU)Ne mu nsi ey’ensozi,

Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko, 49 (AV)ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri, 50 (AW)ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu, 51 (AX)n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.

52 (AY)Alabu, n’e Duma, n’e Esani, 53 n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka, 54 n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

55 (AZ)Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta, 56 (BA)n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa, 57 (BB)Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.

58 (BC)Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli; 59 n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

60 (BD)Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.

61 Mu ddungu:

Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka, 62 (BE)n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

63 (BF)Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

Zabbuli 146-147

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(L)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(O)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

Yeremiya 7

Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu

Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. (A)Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.

Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. (C)Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ (D)Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, (E)ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, (F)kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.

(G)“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; 10 (H)ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? 11 (I)Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.

12 (J)“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. 13 (K)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. 14 (L)Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. 15 (M)Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.

16 (N)“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 (O)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. 19 (P)Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”

20 (Q)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”

Okugaana Okuwulira Bannabbi

21 (R)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 22 (S)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 23 (T)Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 24 (U)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 25 (V)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 26 (W)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.

27 (X)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (Y)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”

Ekiwonvu eky’Okufiiramu

30 (Z)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (AA)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (AB)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (AC)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (AD)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Matayo 21

Yesu ayingira n’Ekitiibwa mu Yerusaalemi

21 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

(B)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”

Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. (C)Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. (D)Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

“Ozaana Omwana wa Dawudi!”

“Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ozaana waggulu ennyo!”

10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”

11 (E)Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”

Yesu mu Yeekaalu

12 (F)Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 (G)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’[a]

14 (H)Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya. 15 (I)Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

16 (J)Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?”

Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti,

“ ‘Abaana abato n’abawere abayonka
    balimutendereza!’ ”

17 (K)N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.

Omuti Ogwawotoka

18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 (L)n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.

20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”

21 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 (N)Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

Yesu Abuuzibwa gy’aggya Obuyinza

23 (O)Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”

24 Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’  26 (P)Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”

27 Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”

Olugero olw’Abaana Ababiri

28 (Q)“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’

29 “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.

30 “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.

31 (R)“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?”

Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.”

Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32 (S)Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”

Olugero olw’Abalimi

33 (T)“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo. 34 (U)Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.

35 (V)“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36 (W)Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka. 37 Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’

38 (X)“Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ 39 Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta. 40 Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”

41 (Y)Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”

42 (Z)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino kyava eri Mukama
    era kya kyewuunyo.’

43 (AA)“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 (AB)Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

45 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako. 46 (AC)Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.