Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 12-13

Bakabaka Abaawangulwa

12 (A)Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.

(B)Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,

(C)ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,

(D)ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

(E)Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.

(F)Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

(G)Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu. (H)Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.

(I)Kabaka w’e Yerikoomu,
ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseriomu,
10 (J)ne kabaka w’e Yerusaalemiomu,
ne kabaka w’e Kebbulooniomu,
11 ne kabaka w’e Yalamusiomu,
ne kabaka w’e Lakisiomu,
12 (K)n’ow’e Egulooniomu,
n’ow’e Gezeriomu,
13 ne kabaka w’e Debiriomu,
n’ow’e Gederiomu,
14 (L)n’ow’e Kolumaomu,
n’ow’e Yaladiomu,
15 n’ow’e Libunaomu,
n’ow’e Adulamuomu,
16 (M)n’ow’e Makkedaomu,
n’ow’e Beseriomu,
17 (N)ne kabaka ow’e Tappuaomu,
n’owe Keferiomu,
18 (O)n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloniomu,
19 n’ow’e Madoniomu,
n’ow’e Kazoliomu,
20 (P)ne kabaka w’e Simuloni Meroniomu,
ne kabaka w’e Akusafuomu,
21 n’ow’e Taanakiomu,
n’ow’e Megiddoomu,
22 (Q)n’ow’e Kedesiomu,
ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeriomu,
23 (R)ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doliomu,
ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali[a]omu,
24 (S)n’ow’e Tiruzaomu.
Bonna awamu bakabaka amakumi asatu mu omu.

Amawanga Agaali Tegannawangulwa

13 (T)Awo Yoswa[b] bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.

“Zino z’ensi ezikyaliwo:

“ensi yonna ey’Abafirisuuti n’Abaseguli (U)okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.

(V)Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,

(W)n’ensi y’Abagebali,

ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.

(X)“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira. (Y)Noolwekyo ojja kugigabanya ng’omugabo eri ebika omwenda era n’ekitundu ky’ekika kya Manase.”

Ensi Ebuvanjuba bwa Yoludaani

(Z)Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.

(AA)Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni; 10 (AB)n’ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo y’abaana ba Amoni.

11 (AC)Era kyatwaliramu Gireyaadi, n’ekitundu ky’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’olusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka. 12 (AD)Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe. 13 (AE)Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli n’Abamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.

14 (AF)Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.

Ensi ya Lewubeeni

15 Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:

16 (AG)Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, 17 (AH)ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; 18 (AI)ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19 (AJ)ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, 20 (AK)ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, 21 (AL)n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi. 22 (AM)Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli. 23 Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.

Ensi y’Abagaadi

24 Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:

25 (AN)Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba, 26 (AO)n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri, 27 (AP)ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.

28 (AQ)Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.

Ensi y’Abamanase

29 Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.

30 (AR)N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga; 31 (AS)n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.

32 Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko. 33 (AT)Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
(B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

(C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
(D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
(E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
(F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
(G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

(H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

(I)Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Yeremiya 6

Abeesigwa Bagambibwa Okudduka

(A)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
    Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
    era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
    okuzikirira okw’entiisa.
Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
    omulungi oyo omubalagavu.
(B)Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
    Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
    buli omu yeezimbire w’ayagala.

(C)“Mwetegeke mumulwanyise!
    Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
    n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
Tugende, tulumbe kiro
    tuzikirize amayumba ge.”

(D)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,

“Muteme emiti mukole entuumo
    muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
    kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
(E)Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
    entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
    bye ndaba buli bbanga.
(F)Nkulabula,
    ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
    si kulwa ng’ofuuka amatongo.”

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
    abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
    ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”

10 (G)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
    Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
    ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
    tebakisanyukira n’akamu.
11 (H)Kyenva nzijula ekiruyi
    sikyasobola kukizibiikiriza.

“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
    ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
    abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (I)Enju zaabwe
    ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
    kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
13 (J)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
    buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
    boogera eby’obulimba.
14 (K)Ekiwundu ky’abantu bange
    bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
    So nga tewali mirembe.
15 (L)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
    Nedda.
    Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
    balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
    bw’ayogera Mukama.

16 (M)Kino Mukama ky’agamba nti,

“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
    Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
    emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
    Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (N)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
    Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
    naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
    mmwe amawanga
    era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (O)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
    by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
    n’etteeka lyange baligaanye.
20 (P)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
    Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
    n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”

21 (Q)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
    bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
    Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”

22 (R)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,

“Laba, eggye lijja
    eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
    liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23 (S)Bakutte omutego n’effumu,
    abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
    nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
    okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”

24 (T)Tuwulidde ettutumu lyabwe;
    era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
    n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25 (U)Togeza kugenda mu nnimiro
    newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
    n’entiisa ejjudde mu bantu.
26 (V)Kale nno mmwe abantu,
    mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
    omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
    ajja kutugwako mavumbavumba.

27 (W)“Nkufudde ekigezesa
    abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
    amakubo gaabwe.
28 (X)Bonna bakyewaggula
    abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
    bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
    omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
    kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 (Y)Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
    kubanga Mukama abalese.”

Matayo 20

Olugero lw’Abalimi mu Nnimiro y’Emizabbibu

20 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu. N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.

“Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola, nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’ Ne bagenda.

“Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu. Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’

“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’

(B)“Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.

“Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu. 10 Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali. 11 (C)Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro 12 (D)nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’

13 (E)“Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? 14 Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. 15 (F)Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’

16 (G)“Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”

17 Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti, 18 (H)“Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa. 19 (I)Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”

Okusaba kwa Nnyina Yakobo ne Yokaana

20 (J)Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.

21 (K)Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”

22 (L)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”

23 (M)N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”

24 (N)Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 25 Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi. 26 (O)Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. 27 Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe. 28 (P)Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

Yesu Azibula Bamuzibe Babiri

29 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. 30 (Q)Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

31 Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”

32 Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?”

33 Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.”

34 Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.