Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 11

11 (A)Awo Yabini kabaka w’e Kazoli bwe yakimanya, n’atumya Yobabu kabaka w’e Madoni n’eri kabaka w’e Simuloni n’eri kabaka w’e Akusafu, (B)ne bakabaka abaali mu bukiikakkono mu nsi ey’ensozi, ne mu Alaba mu bukiikaddyo e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez’e Doli ku luuyi olw’ebugwanjuba. (C)N’atumya Abakanani ebuvanjuba n’ebugwanjuba, n’Abamoli, n’Abakiiti n’Abaperezi, n’Abayebusi mu nsi ey’ensozi, n’Abakiivi wansi wa Kerumooni mu nsi ey’e Mizupa. (D)Ne bajja, n’amaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ng’omusenyu gw’ennyanja, era ne bajja n’embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali mangi nnyo. (E)Awo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ez’e Meromu, balwanyise Isirayiri.

Olutalo lwe Meromu

(F)Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega n’amagaali gookebwe.”

Awo Yoswa n’abalwanyi be bonna ne balumba abalabe ku nzizi ez’e Meromu. (G)Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo n’omu. Yoswa n’abakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.

10 Mu kiseera ekyo Yoswa n’addako emabega n’awamba Kazoli, kabaka waakyo n’amutta n’ekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe ky’obwakabaka obwo bwonna. 11 (H)Era ne batta buli muntu yenna eyakirimu ne watasigalawo n’omu ne Kazoli n’akyokya omuliro.

12 (I)Yoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. 13 Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya. 14 (J)Abaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogw’ebibuga bino n’ente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala n’omu assa omukka. 15 (K)Nga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.

16 (L)Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi yonna, n’ensi ey’ensozi n’ey’obugwanjuba yonna, n’ekitundu kya Goseni kyonna, ensi ey’ensenyi ne Alaba, n’ensi yaayo yonna ey’ensenyi. 17 (M)Okuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, n’okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w’olusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna n’abawamba, n’abafumita, n’abatta. 18 Yoswa n’alumba n’alwana ne bakabaka abo bonna okumala ebbanga. 19 (N)Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe n’abaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula, 20 (O)kubanga Katonda yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.

21 (P)Mu kiseera ekyo Yoswa n’agenda n’azikiriza n’amalawo Abanaki mu nsi ey’ensozi, mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabu, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey’ensozi eya Isirayiri. Yoswa n’abazikiririza ddala, bonna n’ebibuga byabwe. 22 (Q)Tewali Banaki baasigalawo mu nsi y’abaana ba Isirayiri, okuggyako mu Gaza, ne mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigalako abamu. 23 (R)Yoswa bw’atyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, n’agiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi n’ewummula entalo.

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
    atendeka emikono gyange okulwana,
    era ateekerateekera engalo zange olutalo.
(B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
    ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
    Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

(C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
    oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
(D)Omuntu ali nga mukka.
    Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

(E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
    Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
(F)Myansa abalabe basaasaane,
    era lasa obusaale bwo obazikirize.
(G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
    omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
    era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
(H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

(I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
    nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
    amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 (K)Ndokola, omponye onzigye
    mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
    ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
    enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14     Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
    Waleme kubaawo kukaaba
    n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
    Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

Yeremiya 5

Tewali n’Omu mugolokofu

(A)“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
    tunulatunula olabe,
    noonya wonna we bakuŋŋaanira,
bw’onoosanga omuntu omu bw’ati
    omwesimbu ow’amazima,
    nnaasonyiwa ekibuga kino.
(B)Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
    baba balayirira bwereere.”

(C)Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
    Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
    naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
    era bagaanyi okwenenya.
(D)Ne njogera nti,
    “Bano baavu abasirusiru.
Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,
    amateeka ga Katonda waabwe.
(E)Kale ndigenda eri abakulembeze
    njogere nabo;
Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,
    amateeka ga Katonda waabwe.”
Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo
    nga baakutula ebisiba.
(F)Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
    n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.
Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,
    buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;
Kubanga ebibi byabwe bingi,
    okudda ennyuma kunene.

(G)“Mbasonyiwe ntya?
    Abaana bammwe banvuddeko,
    ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.
Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,
    ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
(H)Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
    buli muntu ng’akaayanira muka munne.
(I)Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
    bw’ayogera Mukama,
Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi
    efaanana bw’etyo?”

Ekiragiro ky’Okulumba Yuda

10 (J)“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
    naye togimalirawo ddala.
Giggyeeko amatabi gaagyo,
    kubanga si bantu ba Mukama.
11 (K)Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda
    zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

12 (L)Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,
    “Talina kyajja kukola,
tewali kabi kanaatugwako,
    era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
13 (M)Bannabbi mpewo buwewo
    era ekigambo tekibaliimu;
    noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”

14 (N)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,

“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,
    ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,
    n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
15 (O)Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,
    ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
Ensi eyaguma ey’edda,
    abantu ab’olulimi lwe mutamanyi
    aboogera bye mutategeera
16 omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,
    bonna balwanyi nnamige.
17 (P)Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;
    balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;
balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,
    ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.

18 (Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. 19 (R)Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’

20 “Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,
    kirangirire mu Yuda.
21 (S)Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,
    abalina amaaso naye nga tebalaba,
    abalina amatu naye nga tebawulira.
22 (T)Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
    “temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
    olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
    gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
23 (U)Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.
    Bajeemye banvuddeko.
24 (V)Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,
eya ddumbi n’eya ttoggo,
    mu ntuuko zaayo;
    atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”
25 Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese
    ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.

26 (W)“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
    abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.
    Batega abantu omutego.
27 (X)Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
    enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.
Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,
    ne bagejja era ne banyirira.
28 (Y)Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
    abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,
    era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
29 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”
    bw’ayogera Mukama.
“Nneme okwesasuza ku ggwanga
    eriri nga eryo?

30 (Z)“Ekigambo eky’ekitalo
    era eky’ekivve kigudde mu nsi:
31 (AA)Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,
    bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.
Naye ku nkomerero
    munaakola mutya?”

Matayo 19

Okugattululwa

19 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’ava e Ggaliraaya n’ajja mu bitundu bya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. (B)Ekibiina kinene ne bamugoberera era n’awonya abalwadde baabwe.

(C)Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?”

(D)Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’ (E)era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”

(F)Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?”

Yesu n’abaddamu nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo. (G)Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”

10 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”

11 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa. 12 Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”

Yesu n’Abaana

13 (I)Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.

14 (J)Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.” 15 N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.

Omuvubuka Omugagga

16 (K)Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”

17 (L)Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”

18 (M)N’amuddamu nti, “Ge galuwa?”

Yesu n’amugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, 19 (N)ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ ”

20 Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”

21 (O)Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22 Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.

23 (P)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 24 Era mbategeeza nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”

25 Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, n’okugamba ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

26 (Q)Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”

27 (R)Awo Peetero n’abuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?”

28 (S)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri. 29 (T)Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. 30 (U)Bangi aboolubereberye, abaliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma ne baba aboolubereberye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.