M’Cheyne Bible Reading Plan
Amayinja Ekkumi n’Abiri ag’Ekijjukizo
4 (A)Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’agamba Yoswa nti, 2 (B)“Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.” 3 (C)Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”
4 Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti, 5 “Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye. 6 (D)Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza, 7 (E)mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”
8 (F)Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa. 9 (G)Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.
10 Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro. 11 Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya Mukama abantu bonna nga babayeegese amaaso. 12 (H)Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba, 13 bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ng’ena mu maaso ga Mukama Katonda, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lw’e Yeriko. 14 (I)Ku lunaku olwo Mukama n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.
15 Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, 16 (J)“Lagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Obujulirwa baveeyo mu mugga.” 17 Bw’atyo Yoswa n’alagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.” 18 (K)Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo. 19 (L)Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko. 20 (M)Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali. 21 (N)N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano, 22 (O)mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani, 23 (P)Mukama n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’ 24 (Q)Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
129 (A)Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 (B)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 (C)kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 (D)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 (E)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 (F)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (G)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (H)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (I)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (J)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5 (K)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6 (L)Emmeeme yange erindirira Mukama;
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7 (M)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
era y’alina okununula okutuukiridde.
8 (N)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
mu byonoono bye byonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (O)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (P)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (Q)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama
64 (A)Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,
ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 (B)Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,
oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,
ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,
n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3 (C)Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,
wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4 (D)Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde
oba kutu kwali kutegedde,
oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,
alwanirira abo abamulindirira.
5 (E)Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,
abo abajjukira amakubo go.
Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.
Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,
ddala tulirokolebwa?
6 (F)Ffenna twafuuka batali balongoofu
era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu[a].
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7 (G)Tewali n’omu akoowoola linnya lyo
oba eyewaliriza okukukwatako,
kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,
era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
8 (H)Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 (I)Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,
tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.
Weewaawo, tutunuulire, tusaba,
kubanga tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 (J)Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa
bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,
era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 (K)Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?
Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?
Mukama wa Ssabbiiti
12 (A)Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya. 2 (B)Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”
3 (C)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo? 4 (D)Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya. 5 (E)Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango? 6 (F)Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano. 7 (G)Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango. 8 (H)Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
9 N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 10 (I)Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.[a] Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.
11 (J)Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 (K)Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”
13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 14 (L)Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.
Omuweereza wa Katonda
15 (M)Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna, 16 (N)kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza. 17 Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:
18 (O)“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera,
gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange.
Ndimuteekako Omwoyo wange
era Alisalira amawanga gonna emisango.
19 Taliyomba so talireekaana,
era tewaliba n’omu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20 Talimenya lumuli lunafu,
wadde okuzikiriza
olutambi lw’ettaala olunyooka.
21 (P)Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.”
Yesu ne Beeruzebuli
22 (Q)Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 23 (R)Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”
24 (S)Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”
25 (T)Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira. 26 (U)Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya? 27 (V)Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango. 28 Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
29 “Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.
30 (W)“Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 31 (X)Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. 32 (Y)Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.
33 (Z)“Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bw’ogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bw’ogulagajjalira tegubala bibala. 34 (AA)Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima. 35 Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi. 36 Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango. 37 Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”
Akabonero ka Nnabbi Yona
38 (AB)Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”
39 (AC)Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona. 40 (AD)Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro. 41 (AE)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano. 42 (AF)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.
43 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira. 44 Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke. 45 (AG)Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.”
Yesu ne Baganda be ne Nnyina
46 (AH)Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. 47 Omuntu omu n’amutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.”
48 Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?” 49 N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange! 50 (AI)Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.