Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 32

32 (A)Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
    wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
(B)Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
    n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
    ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
(C)Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
    mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
(D)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
    n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
    omwenkanya era omutereevu mu byonna.
(E)Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,
    baswavu era tebakyali baana be,
    wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
(F)Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,
    mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakutonda,
    n’akussaawo n’akunyweza?
(G)Jjukira ebiseera eby’edda,
    fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
    ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
(H)Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago
    abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,
yategeka ensalo z’amawanga
    ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
(I)Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,
    Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
10 (J)Yamuyisanga mu ddungu,
    mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
    n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 (K)Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
    n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
    n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 (L)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
    so tewabangawo katonda mulala.
13 (M)Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
    n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
    n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 (N)ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
    n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
    awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.

15 (O)Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
    ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
    n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
16 (P)Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
    ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
17 (Q)Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,
    eri bakatonda be batamanyangako,
    bakatonda abaggya abaali baakatuuka
    bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
18 (R)Weerabira Olwazi eyakuzaala,
    weerabira Katonda eyakuzaala.

19 (S)Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako
    kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
20 (T)N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange
    ndabe ebinaabatuukako;
kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,
    abaana abatalinaamu bwesigwa.
21 (U)Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,
    ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.
Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,
    ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
22 (V)Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,
    ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,
gusenkenya ensi n’ebibala byayo,
    ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.

23 (W)Nzija kubatuumangako emitawaana
    ne mbayiwangako obusaale bwange.
24 (X)Nnaabasindikiranga enjala namuzisa,
    n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza;
ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu
    n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.
25 (Y)Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
    ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
    abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
26 (Z)Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya
    wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
27 (AA)Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza,
    kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera,
ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde,
    Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”

28 Lye ggwanga omutali magezi,
    mu bo temuliimu kutegeera.
29 (AB)Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
    ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
30 (AC)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
    oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
    Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
    abalabe baffe bakiriziganya naffe.
32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
    n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
    ebirimba byazo bikaawa;
33 (AD)wayini waazo bwe butwa bw’emisota
    obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.

34 (AE)Ekyo saakyeterekera,
    nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 (AF)Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
    Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
    n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36 (AG)Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
    alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
    omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 (AH)N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
    olwazi mwe beekweka.
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
    ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
    kale babawe obubudamo babakuume!

39 (AI)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
    Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
    nfumita era ne mponya;
    era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,
    ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
41 (AJ)bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
    n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
    ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
42 (AK)Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
    n’ekitala kyange kirirya ennyama,
n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,
    n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
43 (AL)Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,
    kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,
aliwalana abalabe be,
    era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.

44 (AM)Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira. 45 Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri, 46 (AN)n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. 47 (AO)Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”

Okufa kwa Musa Kulangibwa

48 Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti, 49 (AP)“Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 50 (AQ)Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be. 51 (AR)Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri. 52 (AS)Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”

Zabbuli 119:121-144

ע Ayini

121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
    tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (A)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
    oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (B)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
    n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (C)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
    era onjigirize amateeka go.
125 (D)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
    ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
    kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (E)Naye nze njagala amateeka go
    okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (F)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
    nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129 Ebiragiro byo bya kitalo;
    kyenva mbigondera.
130 (G)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
    n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (H)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
    nga njaayaanira amateeka go.
132 (I)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
    nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (J)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
    era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (K)Mponya okujooga kw’abantu,
    bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (L)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
    era onjigirizenga amateeka go.
136 (M)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
    olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137 (N)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
    era amateeka go matuufu.
138 (O)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
    era byesigibwa.
139 (P)Nnyiikadde nnyo munda yange,
    olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (Q)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
    kyenva mbyagala.
141 (R)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (S)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
    n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
    amateeka go ge gansanyusa.
144 (T)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
    onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

Isaaya 59

Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa

59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
    era si muzibe wa matu nti tawulira.
(B)Naye obutali butuukirivu bwammwe
    bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
    n’atawulira.
(C)Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
    n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
    n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
(D)Tewali awaaba bya nsonga
    so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
    ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
(E)Baalula amagi ag’essalambwa
    ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
    n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
(F)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
    ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
    Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
(G)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
    era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
    n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
(H)Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi
    wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
    tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

(I)Amazima gatuli wala,
    n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
    we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (J)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
    ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
    ne tuba ng’abafu.
11 (K)Ffenna tuwuluguma ng’eddubu
    ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
    n’obulokozi butuliwala.
12 (L)Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
    era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
    era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 (M)obujeemu n’enkwe eri Mukama
    era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
    okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 (N)Obwenkanya buddiridde
    n’obutuukirivu ne bubeera wala.
Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
    era oyo ava ku kibi asuulibwa.

Mukama yakiraba n’atasanyuka
    kubanga tewaali bwenkanya.
16 (O)N’alaba nga tewali muntu,
    ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.
Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini
    okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 (P)Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,
    era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;
n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga
    era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri
    bwalisasula ekiruyi ku balabe be,
n’abamukyawa
    alibawa empeera yaabwe,
    n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 (Q)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
    n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
    omukka gwa Mukama gwe gutwala.

20 (R)“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,
    eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (S)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.

Matayo 7

Temunoonyanga Bisobyo ku Bannammwe

(A)“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. (B)Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”

“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”

Musabe, munoonye, mweyanjule

(C)“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. (D)Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”

“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba? 12 (E)Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”

Omulyango omufunda n’omugazi

13 (F)“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. 14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Omuti n’Ebibala

15 (G)“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula. 16 (H)Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo. 17 Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. 18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. 19 (I)Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. 20 Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

21 (J)“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 22 (K)Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 23 (L)Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

24 (M)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

28 (N)Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.