Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 27:1-28:19

Ekyoto ku Lusozi Ebali

27 Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga. (A)Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. (B)Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza. (C)Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. (D)Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma. Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo. Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo. Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”

(E)Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. 10 Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”

Ebikolimo Ekkumi n’Ebibiri

11 Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti, 12 (F)Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini. 13 Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali. 14 Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:

15 (G)“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

16 (H)“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

17 (I)“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

18 (J)“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

19 (K)“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

20 (L)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

21 (M)“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

22 (N)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

23 (O)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

24 (P)“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

25 (Q)“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

26 (R)“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Emikisa Eri Abawulize

28 (S)Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. (T)Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:

(U)Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.

(V)Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.

Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.

(W)Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.

(X)Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.

Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.

(Y)Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 10 (Z)Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. 11 (AA)Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.

12 (AB)Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. 13 Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. 14 (AC)Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.

Ebikolimo olw’Obutawulira

15 (AD)Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:

16 Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo.

17 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga.

18 Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.

19 Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma.

Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Isaaya 54

Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma

54 (A)“Yimba ggwe omugumba
    atazaalanga;
tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala
    ggwe atalumwanga kuzaala.
Kubanga ggwe eyalekebwa
    ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”
    bw’ayogera Mukama.
(B)“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,
tokwata mpola;
    nyweza enkondo zo.
(C)Kubanga olisaasaanira
    ku mukono gwo ogwa ddyo
    era n’ogwa kkono,
n’ezzadde lyo lirirya amawanga,
    era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.

(D)“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.
    Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.
Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,
    n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
(E)Kubanga Omutonzi wo ye balo,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,
    Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
(F)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
    ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
    bw’ayogera Katonda wo.
(G)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
    naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
(H)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
    nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
    Omununuzi wo.

(I)“Kubanga gye ndi,
    bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.
Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,
    bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 (J)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
    naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
    teriggyibwawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja

11 (K)Mukama agamba nti,
    “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;
    laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,
    emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,
    n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,
    ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 (L)N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
    n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 (M)Olinywezebwa mu butuukirivu
    era toojoogebwenga,
kubanga tolitya,
    onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 (N)Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi.
    Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 Laba nze natonda omuweesi,
    awujja amanda agaliko omuliro
    n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo.
Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17     (O)Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,
    era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.
Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,
    n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

Matayo 2

Okukyala kw’Abagezigezi

(A)Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, (B)“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. (C)Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

(D)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
    toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
    alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”

Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 (E)Bwe baayingira mu nnyumba[a] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 (F)Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Okuddukira e Misiri

13 (G)Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 (H)Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:

“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”

Okutta Abaana Abato

16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,

18 (I)“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
    okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
    nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
    kubanga bonna baweddewo.”

Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi

19 (J)Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”

21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 (K)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[b] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 (L)n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.