Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 1

Musa Ayogera nga Katonda bw’Anaakulembera Abayisirayiri

Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. (A)Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu[a] okuva e Kolebu[b] okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri.

(B)Awo ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwaka ogw’amakumi ana, Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira. (C)Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka w’Abamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti:

(D)Mukama Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala; (E)kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati. (F)Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo Mukama Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo n’ezzadde lyabwe eririddawo.’ 

Okulonda Abakulembeze

(G)“Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bw’omu. 10 (H)Mukama Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ng’emmunyeenye ez’oku ggulu mu bungi bwammwe. 11 (I)Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza. 12 Kale, nze obw’omu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, n’okubamalirawo ennyombo zammwe? 13 (J)Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’ 14 Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu ky’otuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’

15 (K)“Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna. 16 (L)Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye. 17 (M)Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ 18 Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.”

Alipoota y’Abakessi

19 (N)Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea. 20 Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwadde. 21 (O)Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”

22 Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”

23 (P)Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu. 24 (Q)Baasitula ne bambuka mu nsi eyo ey’ensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta. 25 (R)Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo.

Okwemulugunya kwa Isirayiri

26 (S)“Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. 27 (T)Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. 28 (U)Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki[c] nabo twabalabayo.’ ” 29 Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. 30 (V)Mukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. 31 (W)Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”

32 (X)Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, 33 (Y)songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.

34 (Z)Mukama bwe yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala nnyo, n’alayira nti, 35 (AA)“Tewalibaawo n’omu ku bantu bano, ab’omulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe, 36 (AB)okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama n’omutima gwe gwonna.”

37 (AC)Nange Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n’aŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo. 38 (AD)Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo. 39 (AE)Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira. 40 (AF)Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olw’omu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.”

Isirayiri Awangulwa mu Lutalo

41 Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.

42 (AG)Mukama n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”

43 Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi. 44 (AH)Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma. 45 Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa. 46 (AI)Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.

Zabbuli 81-82

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
    muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
(B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
    n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
    era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
    lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
(C)Yaliteekera Yusufu,
    Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
    gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.

(D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
    n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
(E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
    nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
    ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
(F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
    Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
(G)Temubeeranga na katonda mulala,
    wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
    Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

11 (I)“Naye abantu bange tebampuliriza;
    Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (J)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
    okugoberera ebyo bye baagala.

13 (K)“Singa abantu bange bampuliriza;
    singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (L)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
    ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
    ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (M)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
    ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”

Zabbuli ya Asafu.

82 (N)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(O)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(P)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(Q)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(R)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(S)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(T)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Isaaya 29

Zikusanze Ekibuga kya Dawudi

29 (A)Zikusanze ggwe Alyeri[a],
    Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,
yongera omwaka ku mwaka,
    n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
(B)Wabula ndizingiza Alyeri,
    alikuba ebiwoobe era alikungubaga,
    era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
(C)Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna,
    era ndikwetoolooza eminaala,
    ne nkusaako ebifunvu.
(D)Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,
    n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.
Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,
    n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.

(E)Naye abalabe bo abangi
    baliba ng’enfuufu eweweddwa,
n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi
    bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
(F)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
    mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
    ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
(G)Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,
    birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;
kiriba ng’ekirooto,
    ng’okwolesebwa mu kiro
(H)ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya
    naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;
oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa
    naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.
Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna
    agalwana n’Olusozi Sayuuni.

(I)Muwuniikirire era mwewuunye
    Muzibirire era muzibe amaaso;
Batamiire, naye si na nvinnyo,
    batagala, naye si lwa mwenge.
10 (J)Mukama akuwadde otulo tungi,
    azibye amaaso gammwe bannabbi,
    era abisse emitwe gyammwe abalabi.

11 (K)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

13 (L)Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
    ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
    naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
    biragiro abantu bye baayigiriza.
14 (M)Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.
    Amagezi g’abagezi galizikirira,
n’okutegeera kw’abategeevu
    kuliggwaawo.”
15 (N)Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola
    okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,
abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,
    “Ani atulaba? Ani alimanya?”
16 (O)Mufuula ebintu
    ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.
Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,
    “Teyankola”?
Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,
    “Talina ky’amanyi”?

17 (P)Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
18 (Q)Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
    n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
19 (R)Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
    n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
20 (S)Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,
    n’omunyoomi alibula,
    n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
21 (T)abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
    abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,
    ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.

22 (U)Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,

Yakobo taliddayo kuswazibwa,
    n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
23 (V)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
    balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
    era baliyimirira
    ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
24 (W)Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,
    n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.

3 Yokaana

(A)Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.

Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. (B)Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. (C)Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

(D)Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. (E)Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.

Diyotuleefe ne Demeteriyo

Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 10 (F)Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.

11 (G)Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 12 (H)Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.

13 Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa, 14 (I)kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.

15 Emirembe gibeerenga naawe.

Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.