Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 34

Ensalo za Kanani

34 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:

(B)“ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, (C)n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, (D)awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.

Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.

(E)Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; (F)eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.

10 Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. 11 (G)Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. 12 Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.

“ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”

13 (H)Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, 14 (I)kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. 15 Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”

Abasajja Abaalondebwa Okugabanyaamu Ensi

16 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 17 (J)“Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 18 (K)Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.

19 (L)“Gano ge mannya gaabwe:

“Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.

20 (M)Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.

21 (N)Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.

22 Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.

23 Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.

24 Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.

25 Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.

26 Palutiyeri mutabani wa Azani

nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,

27 (O)ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,

28 ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”

29 Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.

Zabbuli 78:38-72

38 (A)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (B)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
    ng’empewo egenda n’etedda!

40 (C)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (D)Ne baddamu ne bakema Katonda,
    ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
    wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
    n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (E)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
    ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (F)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
    n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (G)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
    ne bulusejjera.
47 (H)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (I)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
    n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (J)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
    n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
    N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
    n’atabasonyiwa kufa,
    n’abasindikira kawumpuli.
51 (K)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
    nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (L)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
    n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (M)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
    ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (N)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
    ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (O)Yagobamu amawanga nga balaba,
    n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
    n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
    ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
    ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (P)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
    ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (Q)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (R)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (S)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (T)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (U)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (V)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 (W)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
    ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (X)N’akuba abalabe be ne badduka;
    n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
    n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (Y)naye n’alonda ekika kya Yuda,
    lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
    ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (Z)Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (AA)Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (AB)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
    n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

Isaaya 26

Oluyimba olw’Okutendereza

26 (A)Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.

Tulina ekibuga eky’amaanyi;
    Katonda assaawo obulokozi
    okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
(B)Ggulawo wankaaki,
    eggwanga ettukuvu liyingire,
    eggwanga erikuuma okukkiriza.
Mukama alikuuma mirembe
    oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
(C)Weesigenga Mukama ennaku zonna,
    kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
(D)Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,
    akkakkanya ekibuga eky’amalala,
akissa wansi ku ttaka,
    n’akisuula mu nfuufu.
(E)Kirinnyirirwa
    ebigere by’abanyigirizibwa,
    n’ebisinde by’abaavu.

(F)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
    Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
(G)Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira
    nga tutambulira mu mateeka go,
era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo
    kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
(H)Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
    omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.
Bw’osalira ensi omusango,
    abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
10 (I)Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,
    tayiga butuukirivu.
Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,
    yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
11 (J)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
    naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
    omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,
    n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
13 (K)Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
14 (L)Baafa, tebakyali balamu;
    egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.
Wababonereza n’obazikiriza,
    wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
15 (M)Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda
    ogaziyizza eggwanga.
Weefunidde ekitiibwa,
    era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.

16 (N)Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe,
    bwe wabakangavvula,
    tebaasobola na kukusaba mu kaama.
17 (O)Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala,
    bw’alumwa n’akaaba mu bulumi,
    bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
18 (P)Twali lubuto, twalumwa,
    naye twazaala mpewo
Tetwaleeta bulokozi ku nsi,
    tetwazaala bantu ba nsi.

19 (Q)Naye abafiira mu ggwe balirama,
    emibiri gyabwe girizuukira.
Mugolokoke,
    muleekaane olw’essanyu.
Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,
    ensi erizaala abafudde.

20 (R)Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe
    muggalewo enzigi zammwe.
Mwekweke okumala akabanga katono,
    okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
21 (S)Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera
    okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.
Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,
    era teriddayo nate kukweka abattibwa.

1 Yokaana 4

Mugezese Emyoyo

(A)Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi. (B)Eno y’engeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ng’ava eri Katonda, oyo y’alina Mwoyo wa Katonda. (C)Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogw’Omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.

(D)Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi. (E)Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu b’ensi kyebava babawuliriza. (F)Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.

(G)Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. (H)Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. (I)Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. 10 (J)Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe. 11 (K)Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. 12 (L)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe. 13 (M)Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde. 14 (N)Era ffe twamulaba n’amaaso gaffe, kyetuva tutegeeza nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.

15 (O)Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda. 16 (P)Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli.

Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 17 (Q)Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ng’ali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olw’okusalirako omusango. 18 (R)Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.

19 (S)Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala. 20 (T)Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako. 21 (U)Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.