Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 14

Abantu Bajeema

14 Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. (A)Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” (B)Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”

(C)Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo. Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a], (D)ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. (E)Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. (F)Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”

10 (G)Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 11 (H)Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo? 12 (I)Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.”

13 (J)Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi. 14 (K)Bajja kubuulirako ku bantu ab’omu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso n’amaaso, era ng’ekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ng’obakulemberera mu mpagi ey’ekire emisana ne mu mpagi ey’omuliro ekiro. 15 Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti, 16 (L)‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ng’agibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’

17 “Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti, 18 (M)Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’ 19 (N)Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.”

Ekibonerezo kya Isirayiri

20 (O)Awo Mukama Katonda n’addamu nti, “Mbasonyiye nga bw’onsabye. 21 (P)Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna, 22 (Q)tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi, 23 (R)tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako. 24 (S)Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya. 25 (T)Kale nno olwokubanga Abamaleki n’Abakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.”

26 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 27 (U)“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza. 28 (V)Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola. 29 (W)Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza. 30 Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 31 (X)Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo. 32 (Y)Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa. 33 Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno. 34 (Z)Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu. 35 (AA)Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”

36 (AB)Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu, 37 (AC)abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli n’abattira awo mu maaso ga Mukama Katonda. 38 (AD)Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu.

Abayisirayiri Bawangulwa mu Lutalo e Koluma

39 (AE)Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo. 40 (AF)Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”

41 (AG)Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra. 42 (AH)Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula. 43 Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”

44 (AI)Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira. 45 (AJ)Awo Abamaleki n’Abakanani abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma.

Zabbuli 50

Zabbuli ya Asafu.

50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
    akoowoola ensi
    okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
(B)Katonda ayakaayakana
    ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
(C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
    omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
    n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
(D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
    azze okusalira abantu be omusango.
(E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
    abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
(F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
    kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

(G)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
    Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
    Nze Katonda, Katonda wo.
(H)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
    oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
(I)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
    wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (J)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
    awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
    n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (K)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
    kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
    wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?

14 (L)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
    era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (M)Bw’obanga mu buzibu,
    nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”

16 (N)Naye omubi Katonda amugamba nti,

“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
    n’endagaano yange togyogerangako.
17 (O)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
    n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (P)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
    era weetaba n’abenzi.
19 (Q)Okolima era olimba;
    olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (R)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
    era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (S)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
    n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
    ebisobyo byonna mbikulage.

22 (T)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
    nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 (U)Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
    era ateekateeka ekkubo
    ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

Isaaya 3-4

Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango

(A)Laba kaakano, Mukama,
    Mukama Katonda ow’Eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda
    ekibeesiguza ne kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
    (B)Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira,
omulamuzi, ne nnabbi,
    n’omulaguzi, n’omukadde.
Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano,
    n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.

“Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe,
    n’abaana obwana balibafuga.”

(C)Era abantu balijooga bannaabwe,
    buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we.
Abato baliyisa mu bakulu amaaso
    n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.

Ekiseera kirituuka
    omusajja agambe muganda we nti,
“Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe,
    n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
(D)Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti,
    “Si nze n’aba ow’okubawonya,
mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo.
    Temumpa kukulembera bantu!”

(E)Kubanga Yerusaalemi kizikiridde
    ne Yuda agudde!
Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,
    bityoboola ekitiibwa kye.
(F)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
    era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[a]
    awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
    Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

10 (G)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
    kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (H)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.

12 (I)Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,
    abakazi kaakano be babafuga.
Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe
    era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.

13 (J)Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,
    ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 (K)Mukama Katonda asala omusango
    gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.
“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.
    Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 (L)Lwaki mulinnyirira abantu bange,
    lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

16 (M)Mukama Katonda agamba nti,
    “Abakazi b’omu Sayuuni[b] beemanyi,
era batambula balalambazza ensingo
    nga batunuza bukaba.
Batambula basiira
    nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni,
    ne gifuuka gya biwalaata.”

18 (N)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (O)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

24 (P)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
    awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
    mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
    n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 (Q)Abasajja bo balittibwa kitala,
    abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 (R)N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga
    era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.
(S)Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,
    Tuyitibwenga erinnya lyo,
otuggyeko ekivume.
    Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

(T)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. (U)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. (V)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. (W)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. (X)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.

Abaebbulaniya 11

Okukkiriza

11 (A)Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika. (B)Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.

(C)Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. (D)Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.

(E)Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa. (F)Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.

(G)Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.

(H)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo. (I)Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu. 10 (J)Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.

11 (K)Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa. 12 (L)Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.

13 (M)Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze. 14 Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala. 15 (N)Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega. 16 (O)Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.

17 (P)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, 18 (Q)gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,” 19 (R)gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.

20 (S)Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.

21 (T)Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.

22 (U)Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.

23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.

24 (V)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (W)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (X)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (Y)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (Z)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.

29 (AA)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.

30 (AB)Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.

31 (AC)Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.

32 (AD)Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, 33 (AE)abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma, 34 (AF)be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga. 35 (AG)Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. 36 (AH)N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. 37 (AI)Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, 38 n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi. 39 (AJ)Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. 40 Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.