Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 7

Ebiweebwayo olw’Omusango

(A)“ ‘Bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’omusango; kinaabanga kitukuvu nnyo. Ekiweebwayo olw’omusango kinattirwanga awo wennyini ekiweebwayo ekyokebwa we kittirwa, era omusaayi gwakyo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. (B)Amasavu gaakyo gonna ganaawebwangayo: omukira ogwa ssava, amasavu agabikka ku byenda, ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. Kabona anaabyokeranga ku kyoto nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekyo kye kiweebwayo olw’omusango. (C)Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo. (D)Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga. Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, y’aneesigalizanga eddiba ly’ekiweebwayo ekyo. (E)Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga. 10 Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.

Ebiweebwayo olw’Emirembe

11 “ ‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama.

12 (F)“ ‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta. 13 (G)Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa. 14 Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo. 15 (H)Ennyama y’ebiweebwayo by’omuntu oyo by’aleese olw’emirembe olw’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olw’ebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gy’asuzaawo.

16 (I)“ ‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera. 17 Ennyama ey’ekiweebwayo eneefikkangawo n’etuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro. 18 (J)Ennyama y’ekiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, n’oyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango.

19 “ ‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako. 20 (K)Naye omuntu atali mulongoofu bw’anaalyanga ku nnyama ey’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 21 (L)Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”

Okulya Amasavu n’Omusaayi kugaanibwa

22 Mukama n’agamba Musa nti, 23 (M)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Temulyanga ku masavu ga nte, oba ag’endiga, oba ag’embuzi. 24 (N)Amasavu g’ensolo efudde obufi yokka, n’amasavu g’eyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna eby’omugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako. 25 Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 26 (O)Era buli kifo kyonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi n’akatono, ne bwe gunaabanga ogw’ebinyonyi oba ogw’ensolo. 27 (P)Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”

Omugabo gwa Bakabona

28 Mukama n’agamba Musa nti, 29 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo. 30 (Q)Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa. 31 (R)Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be. 32 (S)Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe. 33 Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe. 34 (T)Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”

35 Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be. 36 (U)Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogw’enkalakkalira emirembe gyonna.

37 (V)Eryo lye tteeka n’ebiragiro ebifuga ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, n’ebiweebwayo olw’okwawulibwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, 38 (W)Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.

Zabbuli 7-8

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

(A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
    ngobaako bonna abangigganya era omponye,
(B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
    ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

(C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
    era ng’engalo zange ziriko omusango,
obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
    oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
    bankube wansi banninnyirire,
    banzitire mu nfuufu.

(D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
    Golokoka, Ayi Katonda wange,
    onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
    obafuge ng’oli waggulu ennyo.
    (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era n’amazima agali mu nze bwe gali.
(F)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
    alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
    era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
    n’aleega omutego gwe
    ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
    era akozesa obusaale obw’omuliro.

14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
    n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
    ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
    n’obukambwe bwe bumuddire.

17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
    nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

(M)Ayi Mukama, Mukama waffe,
    erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
    okutuuka waggulu mu ggulu.
(N)Abaana abato n’abawere
    wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
    n’oyo ayagala okwesasuza.
(O)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
    omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
    bye watonda;
(P)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
    omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

(Q)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
    n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
(R)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
    byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
    era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

(S)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
    era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Engero 22

Omugaso gw’Erinnya Eddungi

22 (A)Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
    n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.

(B)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
    Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

(C)Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
    naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
    y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

(D)Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
    naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.

(E)Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
    ne bw’alikula talirivaamu.

Omugagga afuga abaavu,
    naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

(F)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
    n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

(G)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
    kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

10 (H)Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
    ennyombo n’okuvumagana binaakoma.

11 (I)Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
    era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.

12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
    era adibya entegeka z’abatali beesigwa.

13 (J)Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
    oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”

14 (K)Malaaya mutego gwa kabi,
    akolimiddwa Mukama mw’afiira.

15 (L)Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
    naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
    n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.

17 (M)Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
    n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18 Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
    n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19 Mbikumanyisa leero ggwe,
    obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20 Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
    era ebikuwa okumanya?
21 (N)Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
    olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?

22 (O)Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
    oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 (P)Kubanga Mukama alibawolereza,
    n’abo ababanyaga alibanyaga.

24 Tokwananga muntu wa busungu,
    oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 (Q)oleme okuyiga amakubo ge
    ne weesuula mu mitawaana.

26 (R)Teweegattanga ku abo abeeyama,
    newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 (S)Bw’oliba nga tolina kya kusasula
    ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.

28 (T)Tojjululanga nsalo
    bajjajjaabo gye bassaawo edda.

29 (U)Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
    Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.

1 Basessaloniika 1

(A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.

Okwebaza olw’okukkiriza kw’Abasessaloniika

(B)Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, (C)nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe, era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda. (D)Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. (E)Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu, ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya. (F)Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera. (G)Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima, 10 (H)era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.