Historical
1 (A)Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda
2 (B)“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
3 (C)“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
bw’ayogera Mukama.
4 (D)Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
5 (E)abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu
ku nnyumba waggulu,
ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,
ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
6 (F)abo abadda emabega obutagoberera Mukama,
wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.
7 (G)Siriikirira awali Mukama Katonda,
kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.
Mukama ategese ssaddaaka,
era atukuzizza abagenyi be.
8 (H)Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,
ndibonereza abakungu
n’abaana ba Kabaka,
n’abo bonna abambadde
ebyambalo ebitasaana.
9 (I)Awo ku lunaku olwo ndibonereza
abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
10 (J)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,
eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,
okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,
n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
11 (K)Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;
abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,
n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
12 (L)Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,
mbonereze abo bonna abalagajjavu
abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,
abalowooza nti Mukama
talibaako ne ky’akolawo.
13 (M)Obugagga bwabwe bulinyagibwa,
n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.
Ne bwe balizimba ennyumba
tebalizituulamu,
era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo
tebalinywa wayini wamu.
Olunaku lwa Mukama Olukulu
14 (N)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 (O)Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 (P)olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
ku bibuga ebiriko ebigo
n’eri eminaala emigulumivu.
17 (Q)Ndireeta, obuyinike ku bantu,
batambule ng’abazibe b’amaaso,
kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,
omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,
n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
18 (R)Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
tebiriyinza kubataasa
ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.
Ensi yonna erizikirizibwa
omuliro gw’obuggya bwe,
era alimalirawo ddala
abo bonna abali mu nsi.
Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango
2 (S)Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
2 (T)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
3 (U)Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
mpozzi mulikwekebwa
ku lunaku olw’obusungu bwe.
Obubaka eri Abafirisuuti
4 (V)Gaza kirirekebwawo,
ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
ne Ekuloni kirisimbulibwa.
5 (W)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
so tewaliba asigalawo.
6 (X)Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
7 (Y)Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
n’akomyawo obugagga bwabwe.
Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni
8 (Z)Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
ne batiisatiisa ensi yaabwe.
9 (AA)Kale nga bwe ndi omulamu,
bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
10 (AB)Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 (AC)Mukama aliba wa ntiisa gye bali
bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
Obubaka eri Abaesiyopiya
12 (AD)Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.
Obubaka eri Obwasuli
13 (AE)Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
era ekikalu ng’eddungu.
14 (AF)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
kafakalimbo ajjudde mu miryango,
n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 (AG)Kino kye kibuga ekya kyetwala,
ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
n’akinyoomoola.
Obujeemu bwa Yerusaalemi
3 (AH)Zikisanze ekibuga ekijooga,
ekijeemu era ekyonoonefu!
2 (AI)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
wadde okusemberera Katonda waakyo.
3 (AJ)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
bakirimululu abatafissaawo kantu.
4 (AK)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
era bamenya amateeka.
5 (AL)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
era buli lukya talemwa;
naye atali mutuukirivu taswala.
6 (AM)“Nsanyizzaawo amawanga,
era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
7 (AN)Nagamba eri ekibuga nti,
‘Ddala onontya,
era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
8 (AO)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
gulisaanyaawo ensi yonna.
Essuubi lya Isirayiri
9 (AP)“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 (AQ)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
balindeetera ssaddaaka.
11 (AR)Ku lunaku olwo toliswala
olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
ku lusozi lwange olutukuvu.
12 (AS)Naye ndireka wakati mu ggwe
abantu abakakkamu era abeetoowaze,
abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 (AT)Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
so tebalyogera bya bulimba
wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
so tewaliba alibatiisa.”
Oluyimba olw’Essanyu
14 (AU)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (AV)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (AW)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
“Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
17 (AX)Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba.”
18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
ndigibaggyako;
kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (AY)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (AZ)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
nga mulaba,”
bw’ayogera Mukama.
Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”
3 (B)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti; 4 (C)“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”
5 (D)Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. 6 (E)Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. 8 (F)Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. 9 (G)“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. 10 (H)Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. 11 (I)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”
12 (J)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
13 (K)Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama. 14 (L)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe, 15 (M)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.
Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya
2 Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 2 “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, 3 (N)‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? 4 (O)Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 5 (P)‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’
6 (Q)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. 7 (R)Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 8 ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye. 9 (S)‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Okubuulirira n’Okusuubiza
10 (T)Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 11 (U)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba. 12 (V)Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ”
Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”
13 (W)Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?”
Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”
14 (X)Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.
15 (Y)“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama. 16 (Z)Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. 17 (AA)Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera Mukama. 18 (AB)Okuva olunaku lwa leero, olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama. Mwebuuze nti, 19 Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala.
“ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”
20 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti, 21 (AC)“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi. 22 (AD)Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.
23 (AE)“ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.