Daily Reading for Personal Growth, 40 Days with God
Okubeera mu Musana
5 Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. 2 (A)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
3 (B)Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. 4 Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. 5 (C)Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.