Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Daily Reading for Personal Growth, 40 Days with God

40 daily Scripture readings that illustrate the character of God and the nature of faith.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 6:19-34

Obugagga obw’Amazima

19 (A)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (B)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”

22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”

24 (D)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[a]

Temweraliikiriranga

25 (E)“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo. 26 (F)Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? 27 (G)Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”

28 “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera, 29 (H)naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 30 (I)Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! 31 Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ 32 (J)Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga. 33 (K)Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. 34 Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.