Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 5-6

Enteekateeka y’Okuzimba Yeekaalu

(A)Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi. Sulemaani n’atumira Kiramu ng’ayogera nti,

(B)“Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye. (C)Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna. (D)Era, laba, nsuubira okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wange yeekaalu, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe ey’obwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira Erinnya lyange yeekaalu.’

“Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.”

Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”

Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti,

“Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi. (E)Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”

10 Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gy’emivule n’emiti egy’emiberosi nga bwe yayagala, 11 ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka. 12 (F)Mukama n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi.

13 (G)Kabaka Sulemaani n’akuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu. 14 (H)N’abaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni n’emyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga. 15 Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n’emitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi, 16 (I)ate n’abaami be enkumi ssatu mu bisatu abaalabiriranga omulimu n’okulagirira abakozi. 17 (J)Kabaka n’alagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe ky’amayinja ag’omuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu n’amayinja amateme obulungi. 18 (K)Abaweesi ba Sulemaani n’aba Kiramu, wamu n’abasajja ba Gebali ne balongoosa n’okutegeka ne bategeka emiti n’amayinja eby’okuzimba yeekaalu.

Sulemaani Azimba Yeekaalu

(L)Mu mwaka ogw’ebina mu kinaana, abaana ba Isirayiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri, mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Sulemaani, mu mwezi ogwokubiri ogwa Zivu[a], Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama.

(M)Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, n’obugazi mita mwenda, n’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Awayingirirwa mu maaso g’ekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ng’obugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ng’obugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya n’ekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu. (N)N’akola amadirisa amafunda mu kisenge kya yeekaalu. (O)Wakati w’ebisenge eby’ekisenge ekinene, n’ekifo aw’okwogerera, n’azimba obusenge obw’okubbalibbali okwetooloola wo. Ekisenge ekya wansi kyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obugazi, n’ekisenge eky’essa erya wakati kyali mita bbiri ne desimoolo musanvu, n’ekisenge eky’essa eryokusatu kyali mita ssatu ne desimoolo bbiri. N’asalako emiti okwetooloola eyeekaalu gireme okukomererwa mu bisenge bya yeekaalu.

(P)Bwe baali nga bazimba yeekaalu, baakozesanga amayinja agaali galongosereddwa gye bagatemeranga, era tewaawulirwa kuvuga okw’engeri yonna okw’ennyondo newaakubadde embazzi wadde ekyuma eky’engeri yonna mu kifo awaali wazimbirwa yeekaalu.

Omulyango ogw’ekisenge ekya wakati gwali ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu; waabangawo amadaala agaakozesebwanga okugenda mu kisenge ekya wakati, n’okweyongerayo mu kisenge ekyokusatu ekya waggulu. (Q)Awo n’azimba yeekaalu n’agimala, n’agisereka n’emiti n’embaawo ez’emivule. 10 N’azimba n’ebisenge ebitono okwetooloola yeekaalu, n’obugulumivu bwa buli kimu bwali mita emu n’ekitundu, nga byesigamizibbwa ku kisenge kya yeekaalu n’emiti gy’emivule.

11 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nti, 12 (R)“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gy’ozimba; bw’onootambuliranga mu mateeka gange, n’ogondera ebiragiro byange, n’okwatanga n’amateeka gange gonna ng’ogatambuliramu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo. 13 (S)Era nnaabeeranga wamu n’abaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”

14 (T)Sulemaani n’azimba yeekaalu n’agimala. 15 (U)Ku bisenge eby’omunda n’assaako embaawo ez’emivule n’azikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu n’ayaliirirawo embaawo ez’emiberosi. 16 (V)N’ayawuzaamu emabega wa yeekaalu, n’akolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga ky’ekisenge awaayimirirwanga okwogera, eky’awatukuvu ennyo, ng’akozesa embaawo ez’emivule okuva wansi okutuuka ku kasolya. 17 Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso g’ekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana. 18 (W)Ne munda wa yeekaalu mwali mwaliriddwamu emivule egyayolebwako entaabwa n’ebimuli ebyanjulukuse. Byonna byali bya mivule; tewaali jjinja eryalabika.

19 (X)N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama. 20 (Y)Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu[b]. Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose[c], era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule. 21 Sulemaani n’asabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, n’ayongerako n’enjegere eza zaabu mu maaso g’omu kisenge eky’omunda ekyali kibikiddwako zaabu. 22 Munda wa yeekaalu mwonna, n’assaamu zaabu, ne ku kyoto eky’omu kisenge awaayimirirwanga okwogera[d] n’asiigako zaabu.

23 (Z)Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’akolawo bakerubi babiri ab’emiti egy’emizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya n’ekitundu. 24 Obuwanvu bw’ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri n’obutundu busatu, n’ekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri n’obutundu busatu, ze mita nnya n’ekitundu okuva ku luuyi olumu olw’ekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olw’ekiwaawaatiro ekyokubiri. 25 Kerubi owookubiri naye yali mita nnya n’ekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu n’endabika yaabwe nga y’emu. 26 Obugulumivu bwa buli kerubi bwali mita nnya n’ekitundu. 27 (AA)N’ateeka bakerubi mu kisenge eky’omunda ddala mu yeekaalu, ng’ebiwaawaatiro byabwe byanjuluzibbwa. Ekiwaawaatiro ekya kerubi omu ne kikwata ku kisenge eruuyi, n’ekiwaawaatiro ekya kerubi omulala ne kikwata ku kisenge ekirala eruuyi, ebiwaawaatiro byabwe ne bikwatagana wakati wa yeekaalu. 28 Bakerubi n’abasiigako zaabu.

29 (AB)Ku bisenge byonna ebya yeekaalu okwetooloola, mu bisenge eby’omunda, ne mu bisenge eby’ebweru, n’akola ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse. 30 Ne wansi mu bisenge eby’omunda n’eby’ebweru ebya yeekaalu n’assaamu zaabu.

31 Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto n’empagi ez’enzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano. 32 Ku nzigi zombi ez’emiti egy’emizeeyituuni n’akubako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse, bakerubi n’enkindu n’abisiiga zaabu. 33 Mu ngeri y’emu n’akola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, n’ateekawo emifuubeeto egy’emizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya. 34 N’akola n’enzigi bbiri za miberosi, buli luggi nga lulina embaawo bbiri ezakyukiranga mu myango. 35 Ku zo n’ayolako ebifaananyi ebya bakerubi, n’enkindu n’ebimuli ebyanjulukuse, n’abisiiga zaabu ensanuuse.

36 (AC)N’azimba oluggya olw’omunda n’embu ssatu ez’amayinja amateme obulungi, n’olubu olw’emiti egy’emivule.

37 Awo mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu omusingi gwa yeekaalu ya Mukama ne gumalirizibwa. 38 (AD)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi Buli[e], gwe mwezi ogw’omunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ng’ebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ng’agizimba.

2 Ebyomumirembe 2-3

Enteekateeka z’Okuzimba Yeekaalu

(A)Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka. (B)N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.

(C)Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti,

“Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu. (D)Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.

(E)“Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. (F)Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?

(G)“Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.

“Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa. 10 (H)Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”

11 (I)Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti,

“Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”

12 (J)N’ayongerako na kino nti,

Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.

13 (K)“Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi, 14 (L)ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.

15 (M)“Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza, 16 (N)tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”

17 (O)Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. 18 (P)N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.

Sulemaani Azimba Yeekaalu

(Q)Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. (R)Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.

(S)Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda. Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu. (T)Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu. N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu. (U)Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.

(V)N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu. (W)Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.

10 (X)Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu. 11 Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala. 12 N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala. 13 (Y)Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye. 14 (Z)N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.

15 (AA)Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu. 16 (AB)N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo. 17 N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini[a], n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi[b].

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.