Chronological
Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza
22 (A)Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. 2 (B)N’ayogera nti,
“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
3 (C)Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
ggwe ondokola eri abantu ababi.
4 (D)Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
n’andokola eri abalabe bange.
5 (E)“Amayengo ag’okufa ganzingiza;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
6 (F)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
7 (G)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
n’okukaaba kwange kwamutuukako.
8 (H)“Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
9 (I)Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 (J)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 (K)Ne yeebagala kerubi n’abuuka,
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 (L)Okumasamasa okwali mu maaso ge
kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 (M)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 (N)Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 (O)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
17 (P)“Yasinzira waggulu n’antwala
n’ansika mu mazzi amangi.
18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
abo abaali bansinza amaanyi.
19 (Q)Bannumba mu nnaku yange
naye Mukama n’ampanirira.
20 (R)Yandeeta mu kifo ekigazi;
yandokola kubanga yansanyukira.
21 (S)“Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 (T)Ntambulidde mu kkubo lya Mukama,
era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 (U)Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
era ssaava ku biragiro bye.
24 (V)Sizzanga na musango mu maaso ge,
era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 (W)Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 (X)eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 (Y)Olokola abantu abawombeefu,
naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 (Z)Oli ttaala yange, Ayi Mukama
era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30 Ku lulwe mpangula eggye,
era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 (AA)Ekkubo lya Katonda golokofu,
n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
abaddukira gy’ali.
32 (AB)Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33 Katonda kye kiddukiro kyange,
era alongoosa ekkubo lyange.
34 (AC)Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 (AD)Anteekateeka okulwana entalo,
era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 (AE)Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 (AF)Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,
n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 (AG)Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
era bali wansi w’ebigere byange.
40 (AH)Wampa amaanyi okulwana entalo,
n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 (AI)Waleetera abalabe bange okunziruka,
ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 (AJ)Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 (AK)Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
44 (AL)“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
45 (AM)Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 (AN)Bonna baggwaamu omwoyo,
ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
47 (AO)“Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 (AP)Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
era ateeka amawanga wansi wange;
49 (AQ)anziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 (AR)Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 (AS)Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero
23 (AT)Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:
ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
2 (AU)“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
3 (AV)Katonda wa Isirayiri yayogera,
olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
n’afugira mu kutya Katonda,
4 (AW)ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
5 (AX)Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
6 (AY)Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
kizibu okugakwata n’engalo.
7 Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
oba olunyago lw’effumu,
era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi
8 Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
9 (AZ)Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
13 (BA)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (BB)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (BC)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (BD)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.
Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
18 (BE)Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
20 (BF)Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.
24 (BG)Mu makumi asatu mwe mwali:
Asakeri muganda wa Yowaabu,
Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
25 (BH)Samma Omukalodi,
Erika Omukalodi,
26 (BI)Kerezi Omupaluti,
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
27 (BJ)Abiyezeeri Omwanasosi,
Mebunnayi Omukusasi,
28 (BK)Zalumoni Omwakowa,
Makalayi Omunetofa,
29 (BL)Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,
Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
30 (BM)Benaya Omupirasoni,
Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
31 (BN)Abi-Aluboni Omwalubasi,
ne Azumavesi Omubalukumi,
32 ne Eriyaba Omusaaluboni,
batabani ba Yaseni, Yonasaani,
33 ne Samma Omukalali,
Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
34 (BO)Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,
Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
35 (BP)Kezulo Omukalumeeri,
Paalayi Omwalubi,
36 (BQ)Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,
Bani Omugaadi,
37 Zereki Omwamoni,
Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
38 (BR)Ira Omuyisuli,
Galebu Omuyisuli,
39 (BS)ne Uliya Omukiiti.
Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.
57 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
2 (B)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3 (C)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
n’amponya abo abampalana.
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
4 (D)Mbeera wakati mu mpologoma,
nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
5 (E)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 (F)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
ate bo bennyini ne babugwamu.
7 (G)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
omutima gwange munywevu.
Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8 (H)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (I)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
11 (J)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.