Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 5:1-10

Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri

(A)Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. (B)Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” (C)Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[a].

(D)Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. (E)Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.

Dawudi Awamba Yerusaalemi

(F)Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira. (G)Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.” (H)Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe. 10 (I)Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.

1 Ebyomumirembe 11-12

Dawudi Afuuka kabaka wa Isirayiri Yonna

11 (A)Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo. (B)Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”

(C)Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.

(D)Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

(E)Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo. Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi. (F)N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga. (G)Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.

Abasajja Abazira aba Dawudi

10 (H)Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali; 11 (I)Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.

12 Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu. 13 Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti. 14 (J)Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.

15 (K)Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 16 (L)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu. 17 Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.” 18 (M)Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama. 19 N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa.

Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.

20 (N)Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu. 21 Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.

22 (O)Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma. 23 (P)Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa. 24 Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi. 25 Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.

26 (Q)Abasajja abazira ab’eggye baali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,

ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,

27 (R)ne Sammosi Omukalooli,

ne Kerezi Omuperoni;

28 (S)ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

ne Abiyezeeri Omwanasosi,

29 (T)ne Sibbekayi Omukusasi,

ne Irayi Omwakowa,

30 ne Makalayi Omunetofa,

ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,

31 (U)ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini,

ne Benaya Omupirasoni,

32 ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

ne Abyeri Omwalubasi,

33 ne Azumavesi Omubakalumi,

ne Eriyaba Omusaaluboni,

34 batabani ba Kasamu Omugizoni,

ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;

35 ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali,

ne Erifali mutabani wa Uli,

36 ne Keferi Omumekera,

ne Akiya Omuperoni,

37 ne Kezulo Omukalumeeri,

ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,

38 ne Yoweeri muganda wa Nasani,

ne Mibukali mutabani wa Kaguli;

39 ne Zereki Omwamoni,

ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

40 ne Ira Omuyisuli,

ne Galebu Omuyisuli,

41 (V)ne Uliya Omukiiti,

ne Zabadi mutabani wa Akulayi,

42 ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,

43 ne Kanani mutabani wa Maaka,

ne Yosafaati Omumisuni,

44 (W)ne Uzziya Omwasutaloosi,

ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,

45 ne Yediyayeri mutabani wa Simuli,

ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,

46 ne Eryeri Omumakavi,

ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,

47 ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.

Abawagizi ba Dawudi

12 (X)Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo. (Y)Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini.

Akiyezeeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi n’amuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya;

Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi;

Beraka, ne Yeeku Omwanasoni, (Z)ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe;

ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi; ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu;

ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola;

(AA)ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu ow’e Gedoli.

(AB)Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi.

Ezeri ye yali omukulu waabwe,

ne Obadiya n’amuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu,

10 ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano,

11 ne Attayi nga ye w’omukaaga, ne Eryeri nga ye w’omusanvu,

12 ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda,

13 ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi n’omu.

14 (AC)Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi. 15 (AD)Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba.

16 (AE)Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye. 17 Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”

18 (AF)Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti,

“Ffe tuli babo, Dawudi!
    Tuli naawe, Omwana wa Yese!
Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli;
    era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba,
        kubanga Katonda wo ajja kukubeera.”

Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye.

19 (AG)Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.” 20 (AH)Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase. 21 Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye. 22 Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi.

Abasajja Abeegatta ku Dawudi e Kebbulooni

23 (AI)Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali:

24 abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana;

25 abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi;

26 abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga; 27 ng’omwo mwe muli Yekoyaada omukulu w’ennyumba ya Alooni n’abasajja enkumi ssatu mu lusanvu; 28 (AJ)ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, n’abakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri.

29 (AK)Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo;

30 abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana;

31 abasajja ku kitundu eky’ekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana;

32 (AL)abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga;

33 abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano;

34 abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu;

35 abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga;

36 abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena;

37 emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri.

38 (AM)Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe.

Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna. 39 (AN)Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde. 40 (AO)Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.