Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 1-2

Ebyafaayo by’Okuzaalibwa kwa Adamu Okutuuka ku Ibulayimu

(A)Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;

(B)Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;

(C)Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka,

Lameka n’azaala Nuuwa.

(D)Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.

Batabani ba Yafeesi baali:

Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.

Batabani ba Gomeri baali:

Asukenaazi, ne Difasi[a] ne Togaluma.

Batabani ba Yavani baali:

Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.

Batabani ba Kaamu baali:

Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti[b], ne Kanani.

Batabani ba Kuusi baali:

Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka.

Ne batabani ba Laama baali:

Seeba ne Dedani.

10 Kuusi n’azaala

Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.

11 Mizulayimu n’azaala

Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu; 12 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.

13 Kanani n’azaala

Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi; 14 n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi; 15 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini; 16 n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.

17 Batabani ba Seemu baali:

Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

Ate batabani ba Alamu baali:

Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.[c]

18 Alupakusaadi n’azaala Seera,

Seera n’azaala Eberi.

19 Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi,

erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.

20 Yokutaani n’azaala

Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; 21 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 22 ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 23 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.

24 (E)Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,

25 Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.

26 Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,

27 Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.

28 Batabani ba Ibulayimu baali

Isaaka ne Isimayiri.

29 Luno lwe lulyo lwabwe:

Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 30 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema, 31 ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.

Ezadde lya Ketula

32 (F)Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali

Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.

Ate batabani ba Yokusaani baali

Seeba ne Dedani.

33 Batabani ba Midiyaani baali

Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda.

Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.

Ezadde lya Sala

34 (G)Ibulayimu n’azaala Isaaka;

batabani ba Isaaka baali

Esawu ne Isirayiri.

35 (H)Batabani ba Esawu baali

Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.

36 (I)Batabani ba Erifaazi baali

Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi,

ne Timuna ne Amaleki.

37 (J)Batabani ba Leweri baali

Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.

38 Batabani ba Seyiri baali

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

39 Batabani ba Lotani baali

Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.

40 (K)Batabani ba Sobali baali

Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu.

Ne batabani ba Zibyoni baali

Aya ne Ana.

41 Mutabani wa Ana yali

Disoni,

batabani ba Disoni nga be ba

Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.

42 Batabani ba Ezeri baali

Birukani, ne Zaavani ne Yaakani;

batabani ba Disani baali

Uzi ne Alani.

Bakabaka ba Edomu

43 Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga:

Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.

44 Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.

45 (L)Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.

46 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.

47 Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

48 Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.

49 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

50 Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu. 51 Kadadi naye n’afa.

Abakungu ba Edomu baali

Timuna, ne Aliya, Yesesi, 52 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, 53 ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali, 54 ne Magudyeri, ne Iramu.

Abo be baali abakungu ba Edomu.

Abaana ba Isirayiri

Bano be baali batabani ba Isirayiri:

Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.

(M)Batabani ba Yuda baali

Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani.

Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.

(N)Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.

Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.

(O)Batabani ba Perezi baali

Kezulooni ne Kamuli.

Batabani ba Zeera baali

Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.

(P)Mutabani wa Kalumi ye yali

Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.

Mutabani wa Esani ye yali

Azaliya.

(Q)Batabani ba Kezulooni baali

Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.

10 (R)Laamu n’azaala Amminadaabu,

Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.

11 Nakusoni n’azaala Saluma,

ne Saluma n’azaala Bowaazi,

12 (S)Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.

13 (T)Yese n’azaala

Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri,

Simeeyi nga ye wookusatu, 14 Nesaneeri nga ye wookuna,

Laddayi nga ye wookutaano, 15 Ozemu n’aba ow’omukaaga,

Dawudi nga ye wa musanvu.

16 (U)Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.

Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.

17 (V)Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.

18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.

Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.

19 (W)Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.

20 (X)Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.

21 (Y)Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.

22 Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.

23 (Z)Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.

Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.

24 (AA)Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.

25 Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba

Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya. 26 Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.

27 Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali

Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.

28 Batabani ba Onamu be baali

Sammayi ne Yada,

ate batabani ba Sammayi nga be ba

Nadabu ne Abisuli.

29 Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.

30 Batabani ba Nadabu be baali

Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.

31 Mutabani wa Appayimu yali

Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.

32 Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali

Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.

33 Batabani ba Yonasaani be baali

Peresi ne Zaza.

Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.

34 Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,

ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. 35 Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.

36 (AB)Attayi n’azaala Nasani,

ne Nasani n’azaala Zabadi.

37 Zabadi n’azaala Efulali,

ne Efulali n’azaala Obedi.

38 Obedi n’azaala Yeeku,

ne Yeeku n’azaala Azaliya.

39 Azaliya n’azaala Kerezi,

ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.

40 Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,

ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.

41 Sallumu n’azaala Yekamiya,

ne Yekamiya n’azaala Erisaama.

42 (AC)Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,

ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu.

Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.

43 Batabani ba Kebbulooni baali

Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.

44 Sema n’azaala Lakamu,

ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu.

Lekemu n’azaala Sammayi.

45 (AD)Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,

ne Mawoni n’azaala Besuzuli.

46 Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira

Kalani, ne Moza ne Gazezi.

Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.

47 Batabani ba Yadayi baali

Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.

48 Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira

Seberi ne Tirukaana.

49 (AE)Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.

Seva n’azaala Makubena ne Gibea.

Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.

50 (AF)Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.

Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,

Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu, 51 Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.

52 Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba

Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi, 53 (AG)n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.

54 (AH)Batabani ba Saluma baali

Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli, 55 (AI)n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.