Chronological
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (A)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (B)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (C)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
6 Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7 (D)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8 (E)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
125 (F)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 (G)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (H)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
okukola ebibi.
4 (I)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
bakolere ebirungi.
5 (J)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibe ku Isirayiri.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
era abatambulira mu makubo ge.
2 (B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
3 (C)Mu nnyumba yo,
mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
nga beetoolodde emmeeza yo.
4 Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
omuntu atya Mukama.
5 (D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
6 (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!
Emirembe gibeere mu Isirayiri.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
129 (F)Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 (G)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 (H)kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 (I)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 (J)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 (K)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (L)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (M)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (N)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (O)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.