Chronological
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.
56 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
buli lunaku bannumba n’amaanyi.
2 (B)Abalabe bange bannondoola,
bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
3 (C)Buli lwe ntya,
neesiga ggwe.
4 (D)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?
5 (E)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
6 (F)Beekobaana ne bateesa,
banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
nga bannindirira banzite.
7 (G)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
8 (H)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
Wagawandiika.
9 (I)Bwe nkukoowoola,
abalabe bange nga badduka.
Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
Abantu bayinza kunkolako ki?
Oluyimba nga balinnya amadaala.
120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2 (B)Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
3 Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4 (C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
5 (D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6 Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7 Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9 (I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
basuulibwe mu muliro,
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
era w’oli we banaabeeranga.
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (N)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (O)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (P)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (Q)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (R)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
8 (S)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
9 (T)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (U)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (V)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (W)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (X)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (Y)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (Z)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.