Chronological
Okuzaalibwa kwa Samwiri
1 (A)Waaliwo omusajja Omwefulayimu eyabeeranga e Lamasayimuzofimu, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’ayitibwa Erukaana, nga mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Eriku, muzzukulu wa Toku, muzzukulu wa Zufu. 2 (B)Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba.
3 (C)Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow’Eggye e Siiro[a]. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba Mukama Katonda. 4 (D)Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama. 5 (E)Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana. 6 (F)Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga. 7 Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya. 8 (G)Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”
9 (H)Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu[b], Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga Mukama Katonda. 10 (I)Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda. 11 (J)Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”
12 Awo Kaana bwe yeeyongera okusaba ennyo eri Mukama Katonda, Eri ne yeekaliriza akamwa ke. 13 Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde. 14 Eri kyeyava amugamba nti, “Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.”
15 (K)Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange. 16 Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi ow’ekyejjo, kubanga mbadde nsindira Mukama ennaku n’obuyinike bwange.”
17 (L)Awo Eri n’amuddamu nti, “Genda mirembe. Katonda wa Isirayiri akuwe ekyo ky’omusabye.” 18 (M)N’ayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu. 19 (N)Awo Erukaana n’ab’ewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza Mukama, n’oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, Mukama Katonda n’amujjukira. 20 (O)Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba Mukama Katonda.”
Kaana Awonga Samwiri
21 (P)Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe. 22 (Q)Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere[c], ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.”
23 (R)Erukaana n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.
24 (S)Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo. 25 Bwe baamala okusala emu ku nte, ne batwala omwana eri Eri. 26 Kaana n’ayogera nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba Mukama Katonda. 27 (T)Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba. 28 (U)Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.” Omwana n’asinzizanga Mukama Katonda eyo.
Okusaba kwa Kaana
2 (V)Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,
“Omutima gwange gusanyukira Mukama;
amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.
Akamwa kange kasekerera abalabe bange,
kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”
2 (W)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
tewali mulala wabula ggwe;
tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
3 (X)Toyogera nate nga weewaanawaana
wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
era y’apima ebikolwa.
4 (Y)Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa
naye abanafu baweereddwa amaanyi.
5 (Z)Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere
naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.
Eyali omugumba azadde abaana musanvu,
n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.
6 (AA)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
atwala emagombe ate n’azuukiza.
7 (AB)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
atoowaza ate n’agulumiza.
8 (AC)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.
9 (AD)Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,
naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;
kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10 (AE)Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;
alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.
Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;
aliwa kabaka we amaanyi,
era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.
11 (AF)Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza Mukama Katonda, ng’alabirirwa Eri.
Batabani ba Eri
12 (AG)Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda. 13 (AH)Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa, 14 n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro. 15 Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka[d].”
16 Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
17 (AI)Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
18 (AJ)Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. 19 (AK)Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 20 (AL)Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka. 21 (AM)Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.
22 (AN)Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 23 N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi. 24 Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi n’akatono. 25 (AO)Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda[e] ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubazikiriza.
26 (AP)Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.
Ebyalangibwa ku Nnyumba ya Eri
27 (AQ)Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? 28 (AR)Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri. 29 (AS)Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’
30 (AT)“Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 31 (AU)Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, 32 (AV)olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. 33 Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’
34 (AW)“ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. 35 (AX)Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. 36 (AY)Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”
Mukama Ayita Samwiri
3 (AZ)Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
2 (BA)Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye. 3 (BB)Ettabaaza[f] ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu[g] ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali. 4 (BC)Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno.” 5 N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”
6 Mukama n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”
7 (BD)Samwiri yali tannategeera nga Mukama y’amuyita, nga n’ekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.
8 Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.”
Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka. 9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.
10 Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
11 (BE)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala. 12 (BF)Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri. 13 (BG)Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza. 14 (BH)Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
15 Samwiri n’addayo n’agalamira okutuusa obudde lwe bwakya, n’aggulawo enzigi ez’ennyumba ya Mukama. N’atya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna, 16 naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
17 (BI)Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.” 18 (BJ)Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”
19 (BK)Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira. 20 (BL)Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. 21 (BM)Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.