Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Balam 3-5

(A)Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani; Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo. (B)Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi. (C)Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.

(D)Abayisirayiri ne babeeranga wamu n’Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi n’aba Yebusi. (E)Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.

Okufuga kwa Osunieri

(F)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera. (G)Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana. (H)Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu. 10 (I)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri. 11 Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.

Okufuga kwa Ekudi

12 (J)Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe. 13 (K)Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki[a] ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu. 14 Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.

15 (L)Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu. 16 Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. 17 (M)N’atwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo. 18 Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agobawo abajja bakyetisse. 19 Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.

20 Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye. 21 Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto; 22 ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika. 23 Ekudi n’asibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, n’afulumira mu mulyango ogw’emanju.

24 (N)Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.” 25 (O)Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.

26 Mu kiseera kye baamala nga balindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira n’ayita ku mayinja amoole n’atuuka e Seyiri. 27 (P)Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.

28 (Q)N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka. 29 Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka. 30 (R)Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.

Samugali

31 (S)Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.

Okufuga kwa Debola

(T)Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama. (U)Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga. (V)Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.

Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. (W)Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. (X)N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. (Y)Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”

(Z)Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. 10 (AA)Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.

Baraki awangula Sisera

11 (AB)Keberi Omukeeni[b] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.

12 Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, 13 (AC)n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.

14 (AD)Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. 15 (AE)Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. 16 (AF)Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.

Okuttibwa Kwa Sisera

17 Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. 19 (AG)Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. 20 Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”

21 (AH)Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.

22 Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”

23 (AI)Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani. 24 Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.

Oluyimba lwa Debola

(AJ)Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:

(AK)“Mutendereze Mukama
    kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe
    n’abantu ne beewaayo nga baagala.

(AL)“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;
    nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;
    nze nnaayimbira Katonda w’Abayisirayiri.

(AM)Mukama, bwe wava e Seyiri,
    bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
    Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
(AN)Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,
    ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.

(AO)“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,
    ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,
    baatambuliranga mu mpenda.
Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo
    okutuusa nze Debola lwe nayimuka,
    nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
(AP)Bwe beefunira abakulembeze[c] abalala,
    entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.
Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena
    kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
(AQ)Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,
    n’eri abantu abeewaayo nga baagala.
    Mutendereze Mukama.

10 (AR)“Mukyogereko mmwe,
    abeebagala ku ndogoyi enjeru,
    mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,
nammwe abatambulira mu kkubo. 11 (AS)Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,
    nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,
    ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.

“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,
    ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
12 (AT)Zuukuka, zuukuka Debola
    zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;
golokoka, Baraki okulembere
    abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.

13 “Awo abakungu abaasigalawo
    ne baserengeta,
abantu ba Mukama,
    ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
14 (AU)Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,
    nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.
Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,
    ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15 (AV)Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;
    era Isakaali yali wamu ne Baraki.
    Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
    waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16 (AW)Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,
    okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
    waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17 (AX)Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
    N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?
Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,
    ne babeera awali emyalo gyabwe.
18 (AY)Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,
    era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.

19 (AZ)“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
    bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
    Naye tebaanyaga bintu.
20 (BA)Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
    zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 (BB)Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
    omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
    Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
22 Awo embalaasi ne zijja nga zirigita
    era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
23 Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi[d].
    Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;
kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.
    Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’

24 (BC)“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
    Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
    okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 (BD)Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
    era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 (BE)Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
    n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
    mu kyenyi n’eyita namu.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
    yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
    we yagwa we yafiira.

28 (BF)“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
    yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
    Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
    ne yeddamu yekka.
30 (BG)‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
    omuwala omu oba babiri buli musajja?
    Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
    Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’

31 (BH)“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
    Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
    ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”

Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.