Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 48-50

Yakobo Asabira Batabani ba Yusufu Omukisa

48 (A)Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”

Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. (B)N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. (C)N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’

(D)“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. (E)Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”

Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”

(F)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”

N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”

10 (G)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.

11 (H)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”

12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (I)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (J)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.

15 (K)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange
    Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
    okutuusa leero,
16 (L)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
    owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
    era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
    mu maaso g’ensi.”

17 (M)Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”

19 (N)Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 (O)Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,

“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,
    ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”

Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.

21 (P)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 (Q)Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”

Yakobo Asabira Batabani be Omukisa

49 (R)Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.

(S)Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,
    muwulirize Isirayiri kitammwe.

(T)Lewubeeni ggwe mubereberye wange,
    amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,
    ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
(U)Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
    kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,
    mu nnyumba yange, n’okyonoona.

(V)Simyoni ne Leevi baaluganda,
    ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
(W)Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
    Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.
Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,
    olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
(X)Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
    n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.
Ndibaawula mu Yakobo,
    ndibasaasaanya mu Isirayiri.

(Y)Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
    Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.
    Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
(Z)Yuda, mwana w’empologoma.
    Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
    Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 (AA)Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
    okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
    gwe ganaawuliranga.
11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
    n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,
ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,
    n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
12 Amaaso ge galimyuka wayini,
    n’amannyo ge galitukula okusinga amata.

13 (AB)Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
    anaabanga mwalo gw’amaato,
    ensalo ze ziriba ku Sidoni.

14 (AC)Isakaali ndogoyi ya maanyi,
    ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
    nga n’ensi esanyusa;
n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,
    n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.

16 (AD)Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
    ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
17 (AE)Ddaani anaaba musota mu kkubo,
    essalambwa ku kkubo,
eriruma ebisinziiro by’embalaasi,
    omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

18 (AF)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.

19 (AG)Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,
    naye ye, alibafubutukira emabega.

20 (AH)Aseri emmere ye eneebanga ngimu,
    era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.

21 (AI)Nafutaali mpeewo ya ddembe,
    avaamu ebigambo ebirungi.

22 (AJ)Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
    ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;
    abaana be babuna bbugwe.
23 (AK)Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
    baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 (AL)naye omutego gwe ne gunywera,
    n’emikono gye ne gitasagaasagana.
Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,
    olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 (AM)olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
    olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,
omukisa oguva waggulu mu ggulu,
    omukisa ogwa wansi mu buziba,
    omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 (AN)Omukisa gwa kitaawo
    gusinga omukisa gwa bajjajjange,
    gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.
Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
    gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

27 (AO)Benyamini musege ogunyaga,
    mu makya alya omuyiggo,
    mu kawungeezi n’agaba omunyago.

28 Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.

Okufa kwa Yakobo

29 (AP)Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 (AQ)mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 (AR)Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

33 (AS)Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.

50 (AT)Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. (AU)Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; (AV)baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.

Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, (AW)‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”

Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”

Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.

10 (AX)Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.

12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13 (AY)Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.

15 (AZ)Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.” 16 Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti 17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.

18 (BA)Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.” 19 (BB)Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 (BC)Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 21 (BD)Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.

Okufa kwa Yusufu

22 (BE)Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23 (BF)N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.

24 (BG)Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.” 25 (BH)Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”

26 (BI)Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.