Chronological
Yobu Ayanukula
6 Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,
2 (A)“Singa okweraliikirira kwange,
n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3 (B)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4 (C)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
entiisa ya Katonda erwana nange.
5 Entulege ekaaba awali omuddo,
oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6 Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
7 (D)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
biri ng’emmere etangasa.
8 (E)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
n’ampa kye nsuubira,
9 (F)yandisiimye okumbetenta
ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (G)Kino kyandikkakkanyizza
obulumi obutakoma
kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (H)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (I)Mu mazima sirina maanyi
n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 (J)Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 (K)ate ne kaggwaawo
buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 (L)Abatambuze b’e Teema banoonya,
bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 (M)Baalina essuubi
naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 (N)Kaakano bwe mundabye ne mutya
ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’?
24 (O)“Njigiriza nange n’aba musirise;
ndaga we nsobezza.
25 (P)Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 (Q)Mugezaako okugolola ebigambo byange,
ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 (R)Mukubira ne bamulekwa akalulu
ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.
28 (S)“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
Ndabika ng’omulimba?
29 (T)Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;
Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30 (U)Emimwa gyange girabika ng’egirimba?
Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
7 (V)“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?
Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
2 (W)Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
3 (X)bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
4 (Y)Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
5 (Z)Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.
6 (AA)“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
era zikoma awatali ssuubi.
7 (AB)Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
8 (AC)Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
9 (AD)Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10 (AE)Taliddayo mu nnyumba ye,
amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11 (AF)Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12 (AG)Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
olyoke onkuume?
13 (AH)Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14 (AI)n’olyoka ontiisa n’ebirooto
era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15 (AJ)Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
nfe okusinga okuba omulamu.
16 (AK)Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17 (AL)Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
n’omulowoozaako?
18 (AM)Bw’otyo n’omwekebejja buli makya,
n’omugezesa buli kaseera?
19 (AN)Olituusa ddi nga tonvuddeeko
n’ondeka ne mmira ku malusu?
20 (AO)Nyonoonye;
kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu?
Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli,
ne neefuukira omugugu?
21 (AP)Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”
Birudaadi Ayogera
8 Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,
2 (AQ)“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?
Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
3 (AR)Katonda akyusakyusa mu nsala ye?
Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
4 (AS)Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,
n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
5 (AT)Kyokka bw’onoonoonya Katonda,
ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
6 (AU)bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,
ddala ddala anaakuddiramu
n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
7 (AV)Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,
embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
8 (AW)Buuza ku mirembe egy’edda,
era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
9 (AX)kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,
era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
10 Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe
oba by’okutegeera kwabwe?
11 Ebitoogo biyinza okumera
awatali bitosi?
12 (AY)Biba bikyakula nga tebinnasalibwa,
bikala mangu okusinga omuddo.
13 (AZ)Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,
essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
14 (BA)Ebyo bye yeesiga byatika mangu,
ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
15 (BB)Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka
azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
16 (BC)Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,
nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
17 emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,
nga ginoonya ekifo mu mayinja.
18 (BD)Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,
ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
19 (BE)Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,
ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
20 (BF)Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,
era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
21 (BG)Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,
n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
22 (BH)Abalabe bo balijjula obuswavu,
era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”
Yobu Ayanukula
9 Yobu n’alyoka addamu nti,
2 (BI)“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3 (BJ)Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4 (BK)Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5 (BL)Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6 (BM)Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7 (BN)Ayogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8 (BO)Ye yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9 (BP)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 (BQ)Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 (BR)Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 (BS)Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 (BT)Katonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 (BU)Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 (BV)Yandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 (BW)Teyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
21 (BX)“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22 (BY)Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 (BZ)Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 (CA)Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 (CB)Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 (CC)Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo[a] agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 (CD)Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 (CE)ne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 (CF)Omusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30 (CG)Ne bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31 era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 (CH)Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 (CI)Tewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 (CJ)eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 (CK)Olwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.