Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 23

Yesu mu Maaso ga Piraato

23 (A)Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato. (B)Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.” Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”

(C)Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.”

(D)Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”

(E)Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?” (F)Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.

(G)Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero. (H)N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu. 10 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza. 11 (I)Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12 (J)Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.

Piraato Asalira Yesu ogw’Okufa

13 Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu, 14 (K)n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde. 15 Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa. 16 (L)Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”

17 Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu. 18 (M)Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.” 19 Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.

20 Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo. 21 Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”

22 (N)Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.” 23 Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.

24 Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala. 25 N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.

Yesu Akomererwa ku Musaalaba

26 (O)Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu. 27 (P)Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe. 28 (Q)Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe. 29 (R)Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.

30 (S)“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”
    n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’

31 (T)Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”

32 (U)Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 (V)Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

35 (W)Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”

36 (X)N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 (Y)nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”

38 (Z)Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,

Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.

39 (AA)Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 (AB)Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”

42 (AC)N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”

43 (AD)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Okufa kwa Yesu

44 (AE)Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda, 45 (AF)kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. 46 (AG)Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.

47 (AH)Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48 (AI)Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi. 49 (AJ)Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.

Okuziikibwa kwa Yesu

50 Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu, 51 (AK)teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda. 52 Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. 53 Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu. 54 (AL)Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.

55 (AM)Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu. 56 (AN)Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.

Yokaana 18-19

Yesu Akwatibwa

18 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.

(B)Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. (C)Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.

(D)Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. (E)Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” (F)Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”

10 Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 11 (G)Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”

12 (H)Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13 (I)Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.[a] 14 (J)Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”

Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka

15 (K)Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16 nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.

17 (L)Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”

Peetero n’addamu nti, “Nedda.”

18 (M)Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.

Kabona Asinga Obukulu Abuuza Yesu Ebibuuzo

19 Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.

20 (N)Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama. 21 Lwaki obuuza Nze? Buuza abo abaawuliranga bye njogera. Bamanyi bye nnaayogera.”

22 (O)Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi n’amugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”

23 (P)Yesu n’amuddamu nti, “Obanga njogedde bubi kinnumirize ekibi, naye obanga kirungi, kale onkubira ki?” 24 (Q)Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.

Peetero Yeeyongera Okwegaana Yesu

25 (R)Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?”

N’abaddamu nti, “Nedda.”

26 (S)Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?” 27 (T)Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.

Yesu mu maaso ga Piraato

28 (U)Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29 Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30 Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

31 Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”

32 (V)Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.

33 (W)Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

34 Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”

35 Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”

36 (X)Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”

37 (Y)Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?”

Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

38 (Z)Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango. 39 Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”

40 (AA)Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.

Yesu Asalirwa ogw’Okufa

19 (AB)Awo Piraato n’atwala Yesu n’amukuba embooko. Abaserikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, (AC)ne bajja w’ali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.

(AD)Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.” (AE)Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”

(AF)Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!”

Piraato n’abagamba nti, “Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango.”

(AG)Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”

Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya. (AH)N’azzaayo Yesu mu lubiri, n’amubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu n’atamuddamu kigambo. 10 Piraato n’amugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?”

11 (AI)Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga.”

12 (AJ)Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.” 13 (AK)Bwe baayogera batyo Piraato n’azza Yesu ebweru gye bali, n’atuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14 (AL)Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.

Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!”

15 Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere!”

Piraato n’ababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?”

Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”

16 (AM)Piraato n’abawa Yesu okumukomerera.

Awo ne batwala Yesu; 17 (AN)n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa. 18 (AO)Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n’abalala babiri, omu eruuyi n’omulala eruuyi, Yesu n’abeera wakati waabwe.

19 (AP)Piraato n’akola ekiwandiiko n’akiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti:

“Yesu Omunnazaaleesi, Kabaka w’Abayudaaya.”

20 (AQ)Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. 21 (AR)Awo bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka w’Abayudaaya.’ ”

22 Piraato n’addamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

23 Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, 24 (AS)abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:

“Baagabana ebyambalo byange,
    n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.”

Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.

25 (AT)Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. 26 (AU)Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.” 27 Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.

Okufa kwa Yesu

28 (AV)Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.” 29 (AW)Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. 30 (AX)Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

31 (AY)Olunaku nga bwe lwali olw’okweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze b’Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo. 32 (AZ)Awo abaserikale ne bajja ne bamenya amagulu g’abasajja abaakomererwa ne Yesu. 33 Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu. 34 (BA)Naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. 35 (BB)Oyo eyakirabira ddala nga kibaawo ye yakyogera, era kye yayogera kya mazima, era oyo amanyi ng’ayogera mazima mulyoke mukkirize. 36 (BC)Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.” 37 (BD)Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”

Okuziikibwa kwa Yesu

38 Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala. 39 (BE)Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo. 40 (BF)Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41 Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 42 (BG)Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.