Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 22

Olugero olw’Embaga ey’Obugole

22 Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. (B)N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.

(C)“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. (D)Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.

“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. (E)Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10 (F)Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.

11 “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12 (G)Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.

13 (H)“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

14 (I)“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Okuwa Kayisaali Omusolo

15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 (J)Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 (K)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[a]

18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

21 (L)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

22 (M)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

Obufumbo mu Kuzuukira

23 (N)Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24 (O)“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25 Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26 Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28 Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”

29 (P)Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30 (Q)Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31 Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32 (R)‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

33 (S)Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.

Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka

34 (T)Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35 (U)Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36 “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”

37 (V)Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38 Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39 (W)N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40 (X)Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42 (Y)“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”

43 Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,

44 (Z)“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:
    “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’

45 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46 (AA)Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Makko 12

Olugero lw’Abalimi Ababi

12 (A)Awo Yesu n’atandika okwogera nabo mu ngero, ng’agamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro y’emizabbibu, n’ateeka olukomera okugyetooloola, n’ateekamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agifuniramu abalimi abaagipangisa, n’agenda olugendo. Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’abatumira omuddu okufuna ebibala okuva mu nnimiro ey’emizabbibu. Naye bwe yatuuka ku nnimiro abalimi ne bamukuba ne bamusindika n’addayo ngalo nsa. Nannyini nnimiro n’atuma omuddu we omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza. Omubaka omulala gwe yatuma baamutta bussi, ate abalala be yazzaako okutuma, abamu baabakuba n’abalala ne babatta.

(B)“Yali asigazzaawo omu yekka ow’okutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bw’atyo n’amutuma gye bali ng’agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’

“Naye abalimi abo ne bateesa bokka na bokka nti, Ono ye musika, mujje tumutte ebyobusika tubyesigalize! Awo ne bamukwata ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu.

“Mulowooza nannyini nnimiro alikola atya? Agenda kujja, abalimi abo bonna abazikirize, ennimiro ye agipangiseemu abalimi abalala. 10 (C)Temusomangako byawandiikibwa nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
11 (D)Ekyo Mukama ye yakikola
    era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”

12 (E)Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo, olwo ne banoonya engeri gye bayinza okumukwata, naye ne batya ekibiina. Ne bamuviira ne bagenda.

Okuwa Kayisaali Omusolo

13 (F)Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo. 14 Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”[a]

15 Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” 16 Ne bagimuleetera, n’ababuuza nti, “Ekifaananyi kino n’ebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno by’ani?”

Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”

17 (G)N’abagamba nti, “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!”

Ne bamwewuunya nnyo.

Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira

18 (H)Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti, 19 (I)“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. 20 Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana. 21 Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala. 22 Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 23 Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”

24 (J)Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda. 25 (K)Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. 26 (L)Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’ 27 Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”

Etteeka Ekkulu

28 (M)Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. 30 (N)Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’ 31 (O)N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”

32 (P)Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala. 33 (Q)Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”

34 (R)Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.

Kristo Mwana wa Ani

35 (S)Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi? 36 (T)Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
    “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe nditeeka abalabe bo
    wansi w’ebigere byo.” ’

37 (U)Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?”

Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.

38 Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. 39 (V)Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. 40 Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”

Ekirabo kya Nnamwandu

41 (W)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[b] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[c]

43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 (X)Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.