Chronological
Ebyambalo by’Obwakabona
28 (A)“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona. 2 (B)Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi. 3 (C)Yogera n’abo bonna abasobola, be nawa ekirabo eky’amagezi mu mirimu egyo, bakolere Alooni ebyambalo mw’anaayawulirwa okubeera kabona wange. 4 (D)Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. 5 Abakozi baweebwe ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange.
Ekkanzu eyitibwa Efodi
6 “Abakozi abakugu bakole ekkanzu ey’obwakabona ennyimpi etaliiko mikono n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 7 Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. 8 Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.
9 “Oddire amayinja ga onuku abiri, ogalambeko amannya ga batabani ba Isirayiri, 10 amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana. 11 Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu. 12 Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali Mukama ng’ekijjukizo. 13 Okole fuleemu eza zaabu, 14 n’enjegere bbiri eza zaabu omuka, ozirange ng’emiguwa; olyoke osibire enjegere ez’oku fuleemu.
Ekyomukifuba
15 “Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 16 Kijja kwenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri, okiwetemu wakati. 17 Otungireko ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka osseemu amayinja saasiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 18 ne mu lunyiriri olwokubiri osseemu emalada, ne safiro ne dayamandi; 19 ne mu lunyiriri olwokusatu osseemu jasinta; ne ageti, ne ametisita, 20 ne mu lunyiriri olwokuna osseemu berulo, ne onuku, ne yasipero, ogateeke mu fuleemu ya zaabu. 21 Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
22 “Ekyomukifuba kikolere enjegere ennange ng’emiguwa gya zaabu omuka. 23 Era ekyomukifuba kikolere empeta za zaabu bbiri, oteeke empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 24 Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 25 Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 26 Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27 Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28 Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.
29 (E)“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama. 30 (F)Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu[a], era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama.
Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala
31 “Onookola ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, nga kyonna kya bbululu. 32 Waggulu mu makkati gaakyo munaabaamu ekituli omw’okuyisa omutwe; okwetooloola ekituli ekyo kunaabaako omuge omuyonde obulungi ng’omuleera ku kituli ky’omutwe eky’ekkanzu ey’obwakabona, kireme okuyulika. 33 Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu. 34 Ng’otunga amajjolobera n’ozzaako akade, ate n’oddiriza amajjolobera n’ozzaako akade; bw’otyo okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo. 35 Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali Mukama, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.
36 (G)“Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti,
Mutukuvu wa Mukama.
37 Akapande okasibeko akaguwa aka bbululu, okanywereze ku kitambaala ky’oku mutwe ku ludda olw’omu maaso olw’ekitambaala. 38 (H)Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.
39 “Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. 40 (I)Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo. 41 (J)Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.
42 (K)“Bakolere empale ez’omunda eza linena, nga ziva mu kiwato okukoma mu bisambi, zibikke omubiri gwabwe. 43 (L)Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.
“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”
Okwawula Bakabona
29 “Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. 2 (M)Era onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 3 Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. 4 (N)Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. 5 (O)Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; 6 (P)omusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. 7 (Q)Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. 8 Leeta batabani be obambaze amakooti, 9 (R)obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.
Ekiweebwayo olw’Ebibi
10 “Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11 n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 (S)Onoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 13 (T)Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 14 (U)Naye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi.
Ekiweebwayo Ekyokye
15 “Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16 otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17 Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 18 (V)endiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri Mukama.
Ekiweebwayo ku Kwawulibwa
19 (W)“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20 onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 21 (X)Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.
22 “Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23 Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 24 (Y)ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25 Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro. 26 (Z)Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27 (AA)Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 28 (AB)Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.
29 (AC)“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 30 (AD)Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.
Emmere ku Kwawulibwa
31 “Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 32 (AE)Alooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 33 (AF)Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34 (AG)Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.
35 “Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 36 (AH)era buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 37 (AI)Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa
38 (AJ)“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39 (AK)Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40 Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41 Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
42 (AL)“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 43 (AM)Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.
44 (AN)“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 45 (AO)Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 46 (AP)Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.